translation
dict
id
stringlengths
1
4
{ "en": "Books can be bought in book shops.", "lg": "Ebitabo bisobola okugulwa mu maduuka agatuunda ebitabo." }
4600
{ "en": "Money was spent on paying bills.", "lg": "Ssente zaasaasaanyiziddwa ku kusasula bisale." }
4601
{ "en": "Are you ready to take a business risk?", "lg": "Oli mwetegefu okutunda omutima otandike bizinensi?" }
4602
{ "en": "Farmers are being affected by price fluctuation of their products in the market.", "lg": "Abalimi bakosebwa enkyukakyuka mu bbeeyi y'ebirime byabwe mu katale." }
4603
{ "en": "Farmers should be sensitized about the best handling of seeds right from planting to harvesting for best results.", "lg": "Abalimi balina okumanyisibwa ku nkwata y'ensigo ennungi okuviira ddaala mu kusimba okutuuka mu makungula okufunamu obulungi." }
4604
{ "en": "The menstrual cycle is usually twenty-eight days long.", "lg": "Omwetooloolo gw'okugenda mu nsonga gutera kumala nnaku abiri mu munaana." }
4605
{ "en": "Investigations will be closery followed for timery completion of the exercise.", "lg": "Okunoonyereza kujja kulondoolwa nnyo okumaliriza omulimu bu budde." }
4606
{ "en": "With the project in place, poverty will be eradicated in the communities.", "lg": "Pulojekiti nga weeri, obwavu bujja kumalibwawo mu bitundu." }
4607
{ "en": "Money should have been spent rightly for the project to succeed.", "lg": "Ssente zandisaasaanyiziddwa mu butuufu pulojekiti okuwangula." }
4608
{ "en": "Accountability and right documentation should be paid attention to in any project going forward.", "lg": "Okulaga ensaasaanya n'ebiwandiiko ebituufu birina okufiibwako ku pulojekiti yonna egenda mu maaso." }
4609
{ "en": "Security to protect peopleÕs lives and property should be involved.", "lg": "Obukuumi ku bantu n'ebyabwe birina okwongerwako." }
4610
{ "en": "This matter should be handled sensitivery such that the families are compensated.", "lg": "Ensonga eno erina kukwatibwa na bwegendereza okulaba nga amaka galiyirirwa." }
4611
{ "en": "Any payment made should be documented with signatures to avoid back and forth unknown allegations.", "lg": "Buli kusasula okukolebwa kulina okuwandiikibwa kussibweko n'emikono okwewala ebiyinza okuvaamu ebitamanyiddwa." }
4612
{ "en": "Money should be spent for the right purpose with accountability.", "lg": "Ssente zirina okusaasaanyizibwa ku kintu ekituufu era n'ensaasaanya eragibwe." }
4613
{ "en": "Joking rerieves stress in people.", "lg": "Okusaagasaaga kukkakkanya okweraliikirira mu bantu." }
4614
{ "en": "Which garden tools are most commonly used?", "lg": "Bikozesebwa mu nnimiro ki ebisinga okukozesebwa?" }
4615
{ "en": "There are very many unresolved land cases in the courts.", "lg": "Waliwo emisango gy'ettaka mingi nnyo mu kkooti egitannagonjoolwa." }
4616
{ "en": "The police have gazetted the crime scene for investigations.", "lg": "Poliisi ezinzeeko ekifo awazziddwa omusango okusobola okunoonyereza." }
4617
{ "en": "The courts of law settle disputes among people.", "lg": "Embuga z'amateeka zigonjoola enkaayana mu bantu." }
4618
{ "en": "There are claims by the political candidates that there was fraud in elections.", "lg": "Waliwo okwemulugunya kwa bannabyabufuzi abeezimbawo nti waaliwo ebitaali bituufu mu kalulu." }
4619
{ "en": "election petition has been filed in the high court.", "lg": "Okujulira ku kulonda kuteekeddwayo mu kkooti enkulu." }
4620
{ "en": "Political Candidates on the national level are nominated individually by the electoral commissions.", "lg": "Bannabyabufuzi abeesimbyewo mu ggwanga lyonna basunsulibwa obukiiko bw'ebyokulonda kinnoomu." }
4621
{ "en": "What is the minimum level of education one needs to contest for any political position?", "lg": "Obuyigirize bwa ddaala ki omuntu bwe yeetaaga okutandikirako okwesimba ku kifo kyonna?" }
4622
{ "en": "The electoral Commission has nullified the candidate since he does not the required qualification.", "lg": "Akakiiko k'ebyokulonda kasazizzaamu eyeesimbyewo kuba talina bisaanyizo byetaagisa." }
4623
{ "en": "Lawyers interpret the law to the people.", "lg": "Bannamateeka bataputira abantu amateeka." }
4624
{ "en": "Uganda organizes elections every after five years.", "lg": "Uganda etegeka okulonda buli luvannyuma lwa myaka etaano." }
4625
{ "en": "The electoral commission issues the campaign program to the candidates.", "lg": "Akakiiko k'ebyokulonda kagabira abeesimbyewo pulogulaamu z'okukolerako kakuyege." }
4626
{ "en": "The judgment creditor is the person who is owed money under a court judgment.", "lg": "Omwewozi w'ennamula ye muntu abangibwa ssente kkooti z'egerese." }
4627
{ "en": "You can always appeal in the high court.", "lg": "Bulijjo osobola okujulira mu kkooti enkulu." }
4628
{ "en": "The police fired tear gas and rubber bullets at people protesting over land grabbing.", "lg": "Poliisi yakubye omukka ogubalagala n'amasasi ag'ebipiira mu bantu abeegugunze olw'ekibba ttaka." }
4629
{ "en": "Civil servants are people employed by the government to work in the public sector.", "lg": "Abakozi ba gavumenti be bantu abaaweebwa gavumenti emirimu okuweereza abantu." }
4630
{ "en": "Some politicians don't cooperate with civil servants and this affects the service delivery.", "lg": "Bannabyabufuzi abamu tebakolagana na bakonzi bakonzi ba gavumenti era kino kikosa obuweereza." }
4631
{ "en": "Capacity building is the process of developing an organization's strength and sustainability..", "lg": "Okuzimba obukozi gwe mitendera ogw'okulaakulanya amaanyi g'ekitongole n'obuwangaazi." }
4632
{ "en": "They were arrested for making false accusations.", "lg": "Baakwatibwa lwa kuwaayiriza." }
4633
{ "en": "In the organization, we work together as a team.", "lg": "Mu kitongole tukolera wamu nga ttiimu." }
4634
{ "en": "Students need to work hard to improve their grades.", "lg": "Abayizi balina okusoma ennyo okufuna obubonero obulungi." }
4635
{ "en": "Stop blaming each other.", "lg": "Mukomye okunenyagana." }
4636
{ "en": "Some school have beginning term exams.", "lg": "Amasomero agamu galina ebibuuzo ebiggulawo olusoma." }
4637
{ "en": "Boys in their adolescents normally have wet dreams.", "lg": "Abalenzi abali mu myaka egivubuka batera okwerootolera." }
4638
{ "en": "Straight talk clubs in schools have educated students about the adolescent stage.", "lg": "Ebibiina bya twogere akaati mu masomero biyambye okusomesa abayizi ku biseera byabwe eby'okuvubuka." }
4639
{ "en": "Everyone deserves a chance to redeem themselves", "lg": "Buli muntu yeetaaga omukisa okwenunula." }
4640
{ "en": "Some schools don't have qualified teachers.", "lg": "Amasomero agamu tegalina basomesa batendeke." }
4641
{ "en": "Most students are very stubborn in the adolescent stage.", "lg": "Abayizi abasinga baba n'effujjo nga bali mu myaka egivubuka." }
4642
{ "en": "Sometimes schools don't provide lunch to students.", "lg": "Ebiseera ebimu amasomero tegawa bayizi kyamisana." }
4643
{ "en": "Children need both father and mother's love.", "lg": "Abaana beetaaga omukwano gwamaama ne taata." }
4644
{ "en": "Since there are no abortion laws in Uganda, women, and girls continue to seek unsafe abortions.", "lg": "Engeri gye watali mateeka gakugira kuggyamu mbuto mu Uganda, abakyala n'abawala bongera okugyamu embuto okutali kulungi." }
4645
{ "en": "People in rural areas fear that government officials will steal their land.", "lg": "Abantu mu byalo batya nti abakungu ba gavumenti bajja kuba ettaka lyabwe." }
4646
{ "en": "Some farmers sell their produces on the roadsides.", "lg": "Abalimi abamu batundira bye bakungudde ku mabbali g'ekkubo." }
4647
{ "en": "Farmers determine the prices for their produces.", "lg": "Abalimi be beesalirawo ebbeeyi y'ebyo bye bakungudde." }
4648
{ "en": "The project is expected to last for five years.", "lg": "Pulojekiti esuubirwa okumala emyaka etaano." }
4649
{ "en": "The man was caught cheating on his wife.", "lg": "Omusajja yasangiddwa ng'ayenda ku mukazi we." }
4650
{ "en": "Farmers are encouraged to grow cash crops.", "lg": "Abalimi bakubiribwa okulima ebirime ebivaamu ensimbi." }
4651
{ "en": "Subsistence farming is where farmers grow food crops to meet their need.", "lg": "Okulima ebintu by'okuliibwa ewaka we wano ng'abalimi balima emmere ey'okuliibwa ewaka okutuukiriza ebyetaago byabwe." }
4652
{ "en": "Uganda is an agricultural country.", "lg": "Uganda nsi nnimi." }
4653
{ "en": "What food is mainly eaten by natives?", "lg": "Bannansi basinga kulya mmere ki?" }
4654
{ "en": "At what age do girls start to get their menstrual period.", "lg": "Abawala batandikira ku myaka emeka okugenda mu nsonga z'ekikyala?" }
4655
{ "en": "There are few male parents who talks to their daughter about menstruation periods.", "lg": "Abazadde abasajja batono aboogera ne bawala baabwe ku nsonga z'ekikyala." }
4656
{ "en": "There are few male parents who talk to their daughter about menstruation periods.", "lg": "Abazadde abasajja batono aboogera ne bawala baabwe ku nsonga z'ekikyala." }
4657
{ "en": "Girls need to maintain hygiene during the menstruation period.", "lg": "Abawala beetaaga okukuuma obuyonjo nga bali mu nsonga z'ekikyala." }
4658
{ "en": "Most girls don't like their bodies.", "lg": "Abawala abasinga tebaagala mibiri gyabwe." }
4659
{ "en": "Menstruation periods happen monthly in women.", "lg": "Ensonga z'ekikyala zibaawo buli mwezi mu bakyala." }
4660
{ "en": "Most girls worry about what to do if they get their monthly period at school.", "lg": "Abawala bangi beeraliikirira ku ki eky'okukola singa bagenda mu nsonga z'ekikyala nga bali ku ssomero." }
4661
{ "en": "Some girls don't have sanitary towers to use during their menstruation", "lg": "Abawala abamu tebalina ppamba wa kikyala ow'okukozesa nga bali mu nsonga z'ekikyala." }
4662
{ "en": "Girls should be educated about the menstruation period.", "lg": "Abawala balina okusomesebwa ku nsonga z'ekikyala." }
4663
{ "en": "Everyone has secrets they keep to themselves.", "lg": "Buli muntu alina ebyama bye yeekuumira." }
4664
{ "en": "Girls should be open to their mothers during the menstruation.", "lg": "Abawala balina okweyabiza bamaama baabwe nga bali mu nsonga z'ekikyala." }
4665
{ "en": "Educated girls and women are aware of their rights.", "lg": "Abawala n'abalala abasomyeko bamanyi eddembe lyabwe." }
4666
{ "en": "Most people keep domestic animals.", "lg": "Abantu abasinga balunda ebisolo ebirundibwa awaka." }
4667
{ "en": "What is your annual salary?", "lg": "Omwaka ofuna omusaala gwenkana ki?" }
4668
{ "en": "Before it becomes law the president has to sign on it.", "lg": "Nga terinnafuuka tteeka, pulezidenti alina okulissaako omukono." }
4669
{ "en": "Council is a group of people who come together to consult, deriberate, or make decisions.", "lg": "Akakiiko kye kibinja ky'abantu abajja awamu okwebuuza, okwekenneenya oba okukola okusalawo." }
4670
{ "en": "You can use mobile money to pay your bills.", "lg": "Osobola okukozesa mobayiro mmane okusasula ebisale byo." }
4671
{ "en": "The law has been taken to parliament for amended.", "lg": "Etteeka litwaliddwa mu paliyamenti okukolwamu ennongoosereza." }
4672
{ "en": "Town council is responsible for planning for their towns.", "lg": "Akakiiko k'ekibuga kalina obuvunaanyizibwa okuteekerateekera ebibuga byabwe." }
4673
{ "en": "She is an independent lady.", "lg": "Mukyala eyeetengeredde." }
4674
{ "en": "Some people like complaining.", "lg": "Abantu abamu baagala okwemulugunya." }
4675
{ "en": "Am writing my academic research proposal.", "lg": "Mpandiika bbago lyange ery'okunoonyereza." }
4676
{ "en": "Will your retirement money be enough?", "lg": "Ssente zo ez'akasiimo ng'owummudde zinaakumala?" }
4677
{ "en": "The company is operating in losses.", "lg": "Kkampuni ekolera mu kufiirizibwa." }
4678
{ "en": "The government has increased taxes on some goods.", "lg": "Gavumenti eyongezza emisolo ku byamaguzi ebimu." }
4679
{ "en": "Most businessmen own assets.", "lg": "Abasuubuzi abasinga balina ebyobugagga." }
4680
{ "en": "What are the duties of the chief finance office?", "lg": "Akulira ebyensimbi alina buvunaanyizibwa?" }
4681
{ "en": "The organization won't have enough revenue to pay all employee at once.", "lg": "Ebitongole tekijja kuba na nsimbi zimala kusasula bakonzi bonna mulundi gumu." }
4682
{ "en": "How is tea harvested?", "lg": "Amajaani gakungulwa gatya?" }
4683
{ "en": "Tea plants grow well during the rainy season.", "lg": "Amajaani gamera bulungi mu sizoni y'enkuba." }
4684
{ "en": "It was a tough time for farmers across the country during the lockdown.", "lg": "Kaali kaseera kazibu eri abalimi okwetooloora eggwanga lyonna mu biseera by'omuggalo." }
4685
{ "en": "All seed needs water, oxygen, and warmth to grow.", "lg": "Ensigo zonna zeetaaga amazzi, omukka n'ebbugumu okukula." }
4686
{ "en": "The case files are missing from the court.", "lg": "Ffayiro z'emisango gibula mu kkooti." }
4687
{ "en": "They didn't give us reasons as to why the project failed.", "lg": "Tebaatuwa nsonga lwaki pulojekiti yagaana." }
4688
{ "en": "Most farmers have benefited from operation wealth creation.", "lg": "Abalimi abasinga baganyuddwa mu bonnabagaggawale." }
4689
{ "en": "Farmers have to sign the document to acknowledge the receipt of seeds.", "lg": "Abalimi balina okussa emikono ku kiwandiiko ekikakasa nti bafunye ensigo." }
4690
{ "en": "Send your academic documents to human resource.", "lg": "Sindika empapulazo ez'obuyigirize eri akulira abakozi." }
4691
{ "en": "Kingdoms have the right to demand what belongs to them from the government.", "lg": "Obwakabaka bwa ddembe okubanja ebintu byabwo okuva mu gavumenti." }
4692
{ "en": "What are the basic needs of the family?", "lg": "Byetaago ki eby'amaka ebisookerwako?" }
4693
{ "en": "The company is carrying out a fraud investigation", "lg": "Kkampuni eri mu kunoonyereza ku bufere." }
4694
{ "en": "I need some advice from the pastor.", "lg": "Neetaaga amagezi okuva ew'omusumba." }
4695
{ "en": "What is the punishment for defilement?", "lg": "Kibonerezo ki eky'okusobya ku muntu atanneetuuka?" }
4696
{ "en": "Single mothers have a hard time raising their children.", "lg": "Bannakyeyombekedde basanga akaseera akazibu okukuza abaana." }
4697
{ "en": "Some projects are intended at skilling women.", "lg": "Pulojekiti ezimu zigenderera kwogiwaza bakyala." }
4698
{ "en": "Police follows up on criminal cases.", "lg": "Poliisi erondoola emisango." }
4699