translation
dict
id
stringlengths
1
4
{ "en": "We admit, they made an error in that project.", "lg": "Tukkiriza, baakola ensobi mu pulojekiti eyo." }
2300
{ "en": "Break ups among employees often leads to general inefficiency.", "lg": "Enjawukana mu bakozi emirundi egisinga zireetera obuweereza obtatuukiridde." }
2301
{ "en": "Can teachers use social media to improve learning?", "lg": "Abasomesa basobola okweyambisa emikutu migattabantu okulongoosa ebyensoma?" }
2302
{ "en": "The teacher started a general conversation with her students.", "lg": "Omusomesa yatandise okunyumya okw'awamu n'abayizi be." }
2303
{ "en": "Students performed poorly due to the persistent absenteeism of their teachers.", "lg": "Abayizi baasomye bubi olw'okwosa kw'abasomesa baabwe okuyitiridde." }
2304
{ "en": "Briefly explain the benefits of what we are doing here.", "lg": "Mu bufunze nnyonnyola emigaso egiri mu kye tukola wano." }
2305
{ "en": "The ministry has organized a meeting for all primary head teachers.", "lg": "Ekitongole kitegese olukiiko lw'abakulu b'amasomero ga pulayimale gonna." }
2306
{ "en": "All staff members of the school will attend the meeting.", "lg": "Abasomesa bonna bajja kubaawo mu lukiiko." }
2307
{ "en": "The head teacher complained about the late coming of teachers.", "lg": "Omukulu w'essomero yeemulugunyizza ku ky'abasomesa okutuuka ekikeerezi." }
2308
{ "en": "In the next financial year, teachers' salaries are to be increased.", "lg": "Mu mwaka gw'ebyensimbi ogujja, emisaala gy'abasomesa gyakwongerezebwa." }
2309
{ "en": "The government should make funding schools a priority.", "lg": "Gavumenti okuwa amasomero obuyambi erina okukiteeka ku mwanjo.." }
2310
{ "en": "The leader said, Improve the quality of education throughout public schools for better outcomes.", "lg": "Omukulembeze yagambye,\"mulongoose omutindo gw'ebyenjigiriza nga muyita mu masomero g'olukale okusobola okufunamu ebirungi." }
2311
{ "en": "My son started primary school at the age of six years.", "lg": "Mutabani wange yatandika pulayimale nga wa myaka mukaaga." }
2312
{ "en": "Our education system has a structure of seven years for primary education.", "lg": "Enkola yaffe ey'ebyenjigiriza erina obuzimbe bwa myaka musanvu egy'ensoma eya pulayimale." }
2313
{ "en": "Teachers working together contributes to student success.", "lg": "Okukolera awamu okw'abasomesa kulina kye kwongera ku buwanguzi bw'abayizi." }
2314
{ "en": "I am directly involved in the education of my children.", "lg": "Neenyigira butereevu mu kusoma kw'abaana bange." }
2315
{ "en": "Kindly improve your child's sanitation.", "lg": "N'obuwombeefu longoosa obuyonjo bw'omwana wo." }
2316
{ "en": "The doctor encouraged us to feed babies with nothing but breast milk alone.", "lg": "Omusawo yatukubiriza obutaliisa baana baffe kintu kyonna okuggyako amabeere." }
2317
{ "en": "My sister doesn't have time to breastfeed her one month old baby.", "lg": "Muganda wange talina budde buyonsa mwana we ow'omwezi ogumu." }
2318
{ "en": "A variety of baby formulas are sold now days.", "lg": "Emmere y'abaana abawere etundibwa nnaku zino yabika bingi." }
2319
{ "en": "Babies need breast milk for the first six months.", "lg": "Abaana abawere beetaaga amabeere okumala emyezi omukaaga egisooka." }
2320
{ "en": "There is a breast feeding corner at my place of work.", "lg": "Waliwo akasonda we bayonseza mu kifo gye nkolera." }
2321
{ "en": "Is breastfeeding good for brain development ?", "lg": "Okuyonsa kulungi ku nkulaakulana y'obwongo?" }
2322
{ "en": "With breast feeding, you reduce the risks of infections.", "lg": "Mu kuyonsa, okendeeza ku mikisa gy'okulwala." }
2323
{ "en": "Only fifty percent of babies are still breastfeeding at the age of six months.", "lg": "Ebitundu ataano ku kikumi bye eby'abaana abakyayonka okutuusa ku myezi omukaaga." }
2324
{ "en": "Your body needs time to heal after birth.", "lg": "Omubiri gwo gweetaaga obudde okuwona ng'omaze okuzaala." }
2325
{ "en": "She should not wait for too long to start breastfeeding.", "lg": "Talina kulinda bbanga ddene okutandika okuyonsa." }
2326
{ "en": "Breastfeeding enhances bonding between baby and the mother.", "lg": "Okuyonsa kuleeta obukwatane wakati w'omwana ne nnlina." }
2327
{ "en": "Improper sanitation contributes to diseases.", "lg": "Obugyama buleeta endwadde." }
2328
{ "en": "Wash your hands with soap after going to the toilet.", "lg": "Naaba engalo zo ne sabbuuni ng'ovudde mu kaabuyonjo." }
2329
{ "en": "We don't have access to clean water.", "lg": "Tetulina we tujja mazzi mayonjo." }
2330
{ "en": "Some people in Uganda don't have toilet facilities.", "lg": "Abantu abamu mu Uganda tebalina kaabuyonjo." }
2331
{ "en": "Children in our area defecate in open rather than into a toilet.", "lg": "Abaana mu bitundu byaffe beeyambira mu bibangirizi mu kifo kya kaabuyonjo." }
2332
{ "en": "A meeting was held at the town hall to discuss the district health issues.", "lg": "Olukiiko lwatuuziddwa mu kizimbe ky'ekibuga okukubaganya ebirowoozo ku nsonga za disituliki z'ebyobulamu" }
2333
{ "en": "Some children fear using pit latrines.", "lg": "Abaana bamu batya okweyambisa kaabuyonjo." }
2334
{ "en": "New pit latrines were constructed in our village.", "lg": "Kaabuyonjo empya zaazimbibwa mu kyalo kyaffe." }
2335
{ "en": "Today, people routinery continue to practice open defecation.", "lg": "Leero abantu bakyagenda mu maaso nga beeyambira mu bibangirizi." }
2336
{ "en": "The village leader is working together with the community to clean up the village.", "lg": "Omukulembeze w'ekyalo akolera wamu n'abantu okuyonja ekyalo." }
2337
{ "en": "The leader is working with health workers and schools to improve hygiene and sanitation.", "lg": "Omukulembeze akola n'abebyobulamu wamu n'amasomero okulongoosa eby'obuyonjo." }
2338
{ "en": "Most Ugandans don't wash hands with soap after visiting the toilet.", "lg": "Bannayuganda abasinga tebanaaba mu ngalo na sabbuuni nga bavudde mu kaabuyonjo." }
2339
{ "en": "Due to floods and heavy rains yesterday some pit latrines collapsed.", "lg": "Kaabuyonjo zaaguddemu ku lw'amataba n'enkuba eyatonnye ennyingi eggulo." }
2340
{ "en": "There is an increase of drug theft in Ugandan hospitals.", "lg": "Obubbi bw'eddagala bweyongedde mu malwaliro ga Uganda." }
2341
{ "en": "Those health centers don't have drugs.", "lg": "Amalwaliro ago tegalina ddagala." }
2342
{ "en": "Communities in the neighboring towns are also affected.", "lg": "Abantu mu bubuga obutwetoolodde nabo bakoseddwa." }
2343
{ "en": "The health committee met with the health minister to discuss about the polio vaccine.", "lg": "Akakiiko k'ebyobulamu kaasisinkanye Minisita w'ebyobulamu okukubaganya ebirowoozo ku ddagala erigema pooliyo." }
2344
{ "en": "The medical stores buys, stores and distributes drugs to health centers.", "lg": "Ekitongole ekivunaanyizibwa ku ddagaa kigula, kitereka kisaasaanya eddagala mu malwaliro." }
2345
{ "en": "The organization helps to improve health.", "lg": "Ekitongole kiyamba okulongoosa ebyobulamu." }
2346
{ "en": "The medicine is delivered up to the facility's door step.", "lg": "Eddagala lituusibwa ku mulyango gw'eddwaliro." }
2347
{ "en": "A life without money is difficult.", "lg": "Obulamu omutali ssente buzibu." }
2348
{ "en": "It requires a lot of money to smoothly run the health sector.", "lg": "Kyetaagisa ssente nnyingi okuddukanya obulungi ebyobulamu." }
2349
{ "en": "Village leaders are empowering the community to choose healthy behaviors.", "lg": "Abakulembeze b'ebyalo bateekamu abantu amaanyi okulondawo embera z'ebyobulamu." }
2350
{ "en": "The government has increased funding of the health sector.", "lg": "Gavumenti eyongedde ensimbi zewa ekitongole ky'ebyobulamu." }
2351
{ "en": "The health facility in our village is very far, you cannot move at night.", "lg": "Eddwaliro mu kyalo kyaffe liri wala nnyo, tosobola kutambula kiro." }
2352
{ "en": "This year the money budgeted for the main hospital is very little.", "lg": "Omwaka guno embalirira ya ssente ey'eddwaliro ekkulu ntono nnyo." }
2353
{ "en": "The board members did not show up at the meeting.", "lg": "Akakiiko akokuntikko tekaalabiseeko mu lukiiko." }
2354
{ "en": "He was suspended from work for three weeks.", "lg": "Yawummuziddwa ku mulimu okumala sabbiiti ssatu." }
2355
{ "en": "It's now five times, she is avoiding to meet me.", "lg": "Kati emirundi etaano, yeewala okunsisinkana." }
2356
{ "en": "Today I am the secretary for this meeting.", "lg": "Leero nze muwandiisi w'olukiiko luno." }
2357
{ "en": "He failed to complete all his duties at work.", "lg": "Yalemeddwa okumaliriza emirimu gye ku mulimu." }
2358
{ "en": "The accountant will show us how the district funds have been used.", "lg": "Omubalirizi w'ebitabo ajja kutulaga engeri ensimbi za disitulikiti gye zikozeseddwamu." }
2359
{ "en": "The manager should deregate some work to other employees.", "lg": "Omuddukanya alina okusigira emirimu gye egimu ku bakozi abalala." }
2360
{ "en": "The committee will audit the revenue and expenditure of the government.", "lg": "Akakiiko kajja kwekenneenya ennyingiza n'enfulumya ya gavumenti." }
2361
{ "en": "All other activities on that day have been suspended.", "lg": "Ebikolwa ebirala byonna ebibaddewo ku lunaku olwo bigobeddwa." }
2362
{ "en": "I was given a three weeksÕ notice about the birthday party.", "lg": "Nategeezebwako wiiki ssatu emabega ku kabaga k'amazaalibwa." }
2363
{ "en": "Some officials are fond of misusing public funds meant for public services.", "lg": "Abakungu abamu balina omuze gw'okweyambisa obubi ensimbi z'olukale ezirina okuweereza abantu." }
2364
{ "en": "Farmers in our village have received two hundred young cows.", "lg": "Abalimi n'abalunzi mu kyalo kyaffe bafunye obuyana ebikumi bibiri." }
2365
{ "en": "The handover ceremony took place at the district headquarters.", "lg": "Omukolo gw'okuwaayo obuyinza gwabadde ku kitebe kya disitulikiti." }
2366
{ "en": "Locals are happy to reap from the restocking program.", "lg": "Abatuuze basanyufu okufuna okuva mu pulogulaamu eza obuggya ebyamaguzi" }
2367
{ "en": "Millions of people rery on animals for food.", "lg": "Obukadde bw'abantu bulya bisolo nga mmere." }
2368
{ "en": "Gift giving is an opportunity to think about the people we love.", "lg": "Okugaba ebirabo guba mukisa okulowooza ku bantu betwagala." }
2369
{ "en": "The gift was delivered by the manager.", "lg": "Ekirabo kyaleeteddwa maneja." }
2370
{ "en": "We have begun the fight against poverty.", "lg": "Tutandise okulwanyisa obwavu." }
2371
{ "en": "They should closery monitor the cows to reduce diseases.", "lg": "Balina okulondoola ente okukendeeza ku ndwadde." }
2372
{ "en": "The local security killed four cattle rustlers.", "lg": "Abakuumi ba wansi basse ababbi b'ente bana." }
2373
{ "en": "I witnessed the signing of the agreement.", "lg": "Nabaddewo ng'omujulizi nga bateeka omukono ku ndagaano." }
2374
{ "en": "The locals will greatly benefit from this program.", "lg": "Abatuuze bajja kuganyulwa kinene mu nteekateeka eno." }
2375
{ "en": "The cows will improve the liverihoods of the people in the society.", "lg": "Ente zijja kulongoosa obulamu bw'abantu mu kitundu." }
2376
{ "en": "The team will have a training from a foreign country.", "lg": "Tiimu ejja kuba n'okutendekebwa okuva mu nsi engwira." }
2377
{ "en": "All the district and village leaders will take part in this meeting.", "lg": "Abakulembeze ba disituliki n'ebyalo bajja kwetaba mu lukiiko luno." }
2378
{ "en": "Our town council is lagging behind in cleanliness.", "lg": "Akakiiko kaffe akafuga ekibuga kasigalira mabega mu by'obuyonjo." }
2379
{ "en": "It's important to learn from others.", "lg": "Kya mugaso okuyigira ku balala." }
2380
{ "en": "The leaders will get knowledge and skills for proper planning of the district.", "lg": "Abakulembeze bajja kufuna amagezi n'obukodyo obw'okutegeka obulungi disitulikiti." }
2381
{ "en": "The member of parliament funded the tour.", "lg": "Omukiise w'olukiiko lw'eggwanga yavujjiridde okulambula." }
2382
{ "en": "The purpose of the tour is to study the culture of the new place.", "lg": "Omugaso gw'okulambula gwa kusoma bya buwangwa by'ekifo ekipya." }
2383
{ "en": "We were happily welcomed by the hosts.", "lg": "Abategesi baatwaniriza n'essanyu." }
2384
{ "en": "Rural-urban migration has contributed to the growth of the city.", "lg": "Abantu okuva mu byalo okudda mu kibuga kyongedde ku nkulaakulana y'ekibuga." }
2385
{ "en": "A woman in our village forged age to get funds for erderly.", "lg": "Omukazi mu kyalo kyaffe yalimbye emyaka afune ensimbi z'abakadde." }
2386
{ "en": "The organization helps the erderly to improve their liverihoods.", "lg": "Ekitongole kiyamba okulongoosa obulamu bw'abakadde." }
2387
{ "en": "At least four hundred erderly persons have been shortlisted to benefit from the project.", "lg": "Ekitono ennyo abakadde ebikumi bina balondeddwa okuganyulwa mu pulojekiti." }
2388
{ "en": "The erderly between the age of sixty to seventy nine are not happy.", "lg": "Abakadde abali wakati w'emyaka enkaaga ku nsanvu mu mwenda si basanyufu." }
2389
{ "en": "Some elders die before reaching eighty years.", "lg": "Abakadde abamu bafa nga tebannaba kuweza myaka kinaana." }
2390
{ "en": "Others will not benefit because of their age.", "lg": "Abamu tebajja kuganyulwa olw'emyaka gyabwe." }
2391
{ "en": "You should always think before you act.", "lg": "Olina bulijjo okulowooza nga tonnabaako ky'okola." }
2392
{ "en": "The erderly are still healing the wounds in their hearts cause by the rebers.", "lg": "Abakadde bakyanyiga biwundu ku mitima gyabwe ebyava ku ntalo." }
2393
{ "en": "Some elders have not benefited from the program.", "lg": "Abakadde abamu tabaganyuddwa mu nteekateeka." }
2394
{ "en": "The district leader strengthened the erderly in the district.", "lg": "Omukulembeze wa disitulikiti yazizzaamu abakadde amaanyi mu disitulikiti." }
2395
{ "en": "They signed a request against the age limit proposal.", "lg": "Baatadde omukono ku kusaba okugaana ekkomo ly'emyaka." }
2396
{ "en": "The erderly all over Uganda will benefit from the project.", "lg": "Abakadde okwetooloola Uganda bajja kuganyulwa mu pulojekiti." }
2397
{ "en": "A least number of people in Uganda live about up to eighty years.", "lg": "Abantu batono mu Uganda abawangaala okutuuka ku myaka kinaana." }
2398
{ "en": "How many stadiums are in Uganda?", "lg": "Ebisaawe bimeka ebiri mu Uganda?" }
2399