translation
dict
id
stringlengths
1
4
{ "en": "The refugees received land for their cattle.", "lg": "Abanoonyiboobubudamu baafunye ettaka aw'okulundira ente zaabwe." }
2600
{ "en": "Refugees should occupy land provided by the government.", "lg": "Abanoonyiboobubudamu balina okusenga ku ttaka eribaweereddwa gavumenti." }
2601
{ "en": "The refugees looked for other food alternatives.", "lg": "Abanoonyiboobubudamu baanoonyezza ebika by'emmere ebirala." }
2602
{ "en": "The animals given to refugees were stolen by the neighbors.", "lg": "Ebisolo ebyaweebwa Abanoonyiboobubudamu byabbibwa baliraanwa." }
2603
{ "en": "The area requires more security.", "lg": "Ekifo kyetaaga obukuumi obulala." }
2604
{ "en": "The settlers have only three months to find new settlement.", "lg": "Abatuuze balina emyezi esatu gyokka okunoonya aw'okubeera ewapya." }
2605
{ "en": "The students requested for a new teacher.", "lg": "Abayizi baasabye omusomesa omupya." }
2606
{ "en": "The students complained about the expensive laboratory fees.", "lg": "Abayizi beemulugunyizza ku bisale ebyobuwanana ku kkeberero lya ssaayansi." }
2607
{ "en": "They complained of the expired chemicals during their practical classes.", "lg": "Beemulugunyizza ku ddagala eriyiseeko mu kaseera k'amasomo ag'okukwatako." }
2608
{ "en": "The students had a peaceful demonstration.", "lg": "Abayizi beekalaakasirizza mu mirembe." }
2609
{ "en": "The girls suffered minor injuries.", "lg": "Abawala baafunye obuvune butonotono." }
2610
{ "en": "Students will be dealt with accordingly.", "lg": "Abayizi bajja kukolebwako nga bwekyalagirwa." }
2611
{ "en": "Freedom of expression should not come with pain and suffering.", "lg": "Eddembe ly'okwogwera teririna kujja na bulumi na kubonaabona." }
2612
{ "en": "The school is under renovation.", "lg": "Essomero liri mu kuddaabirizibwa." }
2613
{ "en": "The teacher accused ferlow teachers of misunderstandings.", "lg": "Omusomesa yanenyezza basomesa banne olw'obutakkaanya." }
2614
{ "en": "The student complained that some of the teachers donÕt like him.", "lg": "Omuyizi yeemulugunyizza nti abasomesa abamu tebamwagala." }
2615
{ "en": "He said he will leave the school soon.", "lg": "Yagambye nti ajja kuva ku ssomero mu bwangu ddaala." }
2616
{ "en": "The teachers complained about some of the students who donÕt attend classes.", "lg": "Abasomesa beemulugunyizza ku bayizi abamu abatabeera mu bibiina." }
2617
{ "en": "The students in that institution resorted to strikes as a means of having their problems addressed.", "lg": "Abayizi mu ttendekero eryo baasazeewo kuyita mu kwekalakaasa basobole okugonjoola ebizibu byabwe." }
2618
{ "en": "Teachers do not want to share toilets with the students.", "lg": "Abasomesa tebaagala kugabana kaabuyonjo na bayizi." }
2619
{ "en": "The school has a single latrine for both teachers and students.", "lg": "Essomero likozesa kaabuyonjo emu ku basomesa n'abayizi." }
2620
{ "en": "The teacher said it was awkward to share toilets with students.", "lg": "Abasomesa baagambye nti kiswaza okugabana kaabuyonjo n'abayizi." }
2621
{ "en": "The pupils were trained, once they find a teacher in class, they should always knock before entering.", "lg": "Abaana baatendekebwa nti singa basanga omusomesa mu kibiina, balina okukonkona nga tebannayingira." }
2622
{ "en": "The teachers feared to meet pupils in the toilets.", "lg": "Abasomesa baatidde okusisinkana abaana mu kaabuyonjo." }
2623
{ "en": "The school should build a new block for student classes.", "lg": "Essomero liteekeddwa okuzimba ekizimbe ky'ebibiina by'abayizi ekipya." }
2624
{ "en": "The pupils in this primary school have a shared toilet for both girls and boys.", "lg": "Abayizi mu ssomero lya pulayimale lino ab'obuwala n'abalenzi bakozesezawamu kabuyonjo." }
2625
{ "en": "Some teachers are willing to share toilets with the pupils.", "lg": "Abasomesa abamu beetegefu okugabana kaabuyonjo n'abayizi." }
2626
{ "en": "Parents should contribute towards constructing the pupilsÕ toilets.", "lg": "Abazadde bateekeddwa okuyamba mu mu kuzimba kaabuyonjo z'abayizi." }
2627
{ "en": "The teachers begged for the school to construct toilets for the pupils.", "lg": "Abasomesa baasabye essomero lizimbire abayizi kaabuyonjo." }
2628
{ "en": "The headteacher advised teachers to be patient until the school receives funds for construction.", "lg": "Omukulu w'essomero yakubirizza abasomesa okubeera abagumiikiriza okutuusa essomero lwe lifuna ensimbi z'okuzimba." }
2629
{ "en": "Parents should help with teaching their children good and acceptable etiquette in the society.", "lg": "Abazadde balina okuyamba mu kusomesa abaana baabwe enneeyisa ennungi era ekirizibwa mu kitundu." }
2630
{ "en": "The teacher reported the students who are fond of standing on their desks while making noise.", "lg": "Omusomesa yaloopye abayizi abalina omuze gw'okuyimirira ku mmeeza zaabwe nga bwe bawoggana." }
2631
{ "en": "The funds collected were still inadequate.", "lg": "Ensimbi ezaakungaanyiziddwa zikyali ntono." }
2632
{ "en": "All households should have toilets.", "lg": "Amaka gonna gateekeddwa okuba ne kaabuyonjo." }
2633
{ "en": "The community should continuously fight against gender based violence.", "lg": "Ekitundu kiteekeddwa okugenda mu maaso n'okulwanisa obutabanguko obwesigamiziddwa ku kikula." }
2634
{ "en": "There are high cases of child to child sexual intercourse in schools.", "lg": "Emize gy'abaana okwegadangira mu masomero gyeyongedde." }
2635
{ "en": "The government should set permanent solutions to some of the refugee problems in the country.", "lg": "Gavumenti eteekeddwa okumalirawo ddaala ebimu ku bizibu by'Abanoonyiboobubudamu mu ggwanga." }
2636
{ "en": "The children in the district are physically abused by men in community.", "lg": "Abayizi mu disitulikiti batulugunyizibwa abasajja mu kitundu." }
2637
{ "en": "The gender based violence is as a result of excessive alcohol consumption.", "lg": "Obutabanguko obwesigamizibwa ku kikula buva ku kunywa nnyo mwenge." }
2638
{ "en": "There are high cases of sexually transmitted diseases.", "lg": "Waliyo abalwadde b'endwadde z'obukaba bangi nnyo." }
2639
{ "en": "Men are advised to remain in bars after high alcohol consumption.", "lg": "Abasajja bawabuddwa okusigala mu mabbaala oluvannyuma lw'okunywa ennyo omwenge." }
2640
{ "en": "twenty rape cases were reported by the refugees.", "lg": "Emisango gy'obulisamaanyi abiri gya loopebwa Abanoonyiboobubudamu." }
2641
{ "en": "It should be illegal to beat up your spouse.", "lg": "Kiteekeddwa okuba nga kimenya mateeka okukuba omwagalwa wo." }
2642
{ "en": "The local government should ensure proper management of the allocated resources.", "lg": "Gavumenti z'ebitundu ziteekeddwa okukakasa enkwata ennungi ey'ebyobugagga ebibaweereddwa." }
2643
{ "en": "Women should be protected at all costs.", "lg": "Abakyala balina okukuumibwa mu buli ngeri yonna." }
2644
{ "en": "Women should report gender based violence to the police.", "lg": "Abakyala balina okuloopa obutabanguko obwesigamizibwa ku kikula ku poliisi." }
2645
{ "en": "The leaders should be united for a better community.", "lg": "Abakulembeze balina okwegatta ku lw'ekitundu ekirungi." }
2646
{ "en": "They agreed to unite during the swearing in event.", "lg": "Bakkaanyizza okwegatta ku mukolo gw'okulayizibwa." }
2647
{ "en": "The district leaders should forgive one another and work together.", "lg": "Abakulembeze ba disitulikiti balina okusonyiwagana bakolere wamu." }
2648
{ "en": "The government should listen to concerns of all community voices represented.", "lg": "Gavumenti eteekeddwa okuwuliriza ensonga eziri mu maloboozi agakiikiriddwa mu kitundu." }
2649
{ "en": "Women and the erderly are considered vulnerable groups in society.", "lg": "Abakyala n'abakadde batwalibwa nga bakateeyamba mu kitundu." }
2650
{ "en": "The communities should work together to strengthen unity.", "lg": "Abantu mu kitundu bateekeddwa okukolera awamu okusobola okunyweza obumu." }
2651
{ "en": "Women should also benefit from the government entrepreneurship programs.", "lg": "Abakyala nabo bateekeddwa okuganyulwa mu nteekateeka za gavumenti ez'ebyobusuubuzi." }
2652
{ "en": "Leaders should be responsible and hardworking.", "lg": "Abakulembeze bateekeddwa okuba ab'obuvunaanyizibwa era nga bakozi." }
2653
{ "en": "Ladies should be well represented at the leadership committee.", "lg": "Abakazi bateekeddwa okukiikirirwa obulungi ku kakiiko k'obulembeze." }
2654
{ "en": "Women should be empowered in income generating activities.", "lg": "Abakyala bateekeddwa okuddizibwamu amaanyi mu mirimu egireeta ensimbi." }
2655
{ "en": "The community addressed its issues during the swearing in ceremony.", "lg": "Abantu mu kitundu baayanjizza ensonga zaabwe ku mukolo gw'okulayiza." }
2656
{ "en": "Leaders should fulfil their roles and responsibilities.", "lg": "Abakulembeze bateekeddwa okutuukiriza emirimu n'obuvunaanyizibwa bwabwe." }
2657
{ "en": "There minimal cases of leprosy in the region.", "lg": "Waliwo obulwadde bw'ebigenge butono mu kitundu." }
2658
{ "en": "New leprosy cases are reported every new month.", "lg": "Abalwadde b'ebigenge abapya baloopebwa buli mwezi." }
2659
{ "en": "The region reported seventy eight leprosy cases.", "lg": "Ekitundu kyalooopye abantu abalina ebigenge nsanvu mu munaana." }
2660
{ "en": "West Nile region reported the highest cases of leprosy.", "lg": "Ekitundu ky'obugwanjuba bw'omugga Nile kyaloopye abalwadde b'ebigenge abasinga obungi." }
2661
{ "en": "The refugees introduced leprosy to the region.", "lg": "Abanoonyiboobubudamu baaleeta obulwadde bw'ebigenge mu kitundu." }
2662
{ "en": "Leprosy is an airborne disease.", "lg": "Obulwadde bw'ebigenge bukwatira mu bbanga." }
2663
{ "en": "Government should provide free funding for diseases like leprosy.", "lg": "Gavumenti eteekeddwa eteekeddwa okuvujjirira okw'obwereere okw'endwadde ng'ebigenge." }
2664
{ "en": "The drugs used for leprosy are imported from Europe.", "lg": "Eddagala erikozesebwa ku bigenge liva mu Europe." }
2665
{ "en": "Leprosy disease damages the skin.", "lg": "Obulwadde bw'ebigenge bwonoona olususu." }
2666
{ "en": "Leprosy has a three weeks incubation period.", "lg": "Ebigenge birina ebbanga lya ssabbiiti ssatu okulabika nga biri mu mubiri." }
2667
{ "en": "The disease causes permanent skin lesions.", "lg": "Obulwadde buleeta enkovu ku mubiri ez'olubeerera." }
2668
{ "en": "Tuberculosis produces inflammatory nodes in the skin.", "lg": "Akafuba kaleetera omubiri ensanjabavu." }
2669
{ "en": "The refugees should be educated about leprosy.", "lg": "Abanoonyiboobubudamu bateekeddwa okusomesebwa ku bigenge." }
2670
{ "en": "Teachers are blamed for studentsÕ bad performance in schools.", "lg": "Abasomesa banenyezebwa ng'abayizi basomye bubi mu masomero." }
2671
{ "en": "Teachers are supposed to guide students in schools.", "lg": "Abasomesa balina okulungamya abayizi mu masomero." }
2672
{ "en": "Pupils performance in the final examinations was very poor.", "lg": "Enkola y'abaana mu bibuuzo by'akamalirizo yali mbi nnyo." }
2673
{ "en": "The head teacher attributed the poor performance to studentsÕ going back home for a long time because of lack of fees.", "lg": "Omukulembeze w'essomero yagambye nti abayizi okusoma obubi kiva ku kudda waka ekiseera ekiwanvu olw'obutaba na bisale bya ssomero." }
2674
{ "en": "Headteachers need to work hard to improve student's performance.", "lg": "Abakulembeze b'amasomero balina okukola ennyo basobole okulongoosa ensoma y'abayizi." }
2675
{ "en": "The headteacher was also elected as the village chairperson.", "lg": "Omukulembeze w'essomero era yalondeddwa nga ssentebe w'ekyalo." }
2676
{ "en": "Teachers should give their students divelse and rich content.", "lg": "Abasomesa bateekeddwa okuwa abayizi baabwe ebisomesebwa eby'enjawulo ate mu bungi." }
2677
{ "en": "Teachers are advised to work towards better student performance.", "lg": "Abasomesa baweereddwa amagezi okukolerera okusoma kw'omuyizi okulungi." }
2678
{ "en": "The teachers blamed poor performance on lack of student drive.", "lg": "Abasomesa baanenyezza enkola y'abayizi embi lw'abayizi butaba na kibavuga." }
2679
{ "en": "Students are advised to carryout personal research.", "lg": "Abayizi bakubirizibwa okukola okunoonyereza okwa ssekinnoomu." }
2680
{ "en": "Teachers are responsible for a percentage of the student's performance.", "lg": "Abasomesa bavunaanyizbwako ekitundutundu ku kusoma kw'abayizi." }
2681
{ "en": "Refugee schools lack textbooks for students to use.", "lg": "Amasomero g'Abanoonyiboobubudamu tegalina butabo bw'abayizi kusoma." }
2682
{ "en": "Both parents and teachers play an important role in a child's academic life.", "lg": "Abazadde n'abasomesa bombi bakola omulimu gwa mugaso mu bulamu bw'okusoma kw'omwana." }
2683
{ "en": "The district leaders need their roads to be worked upon.", "lg": "Abakulembeze ba disitulikiti beetaaga enguudo zaabwe zikolebweko." }
2684
{ "en": "Poor roads make businesses activities difficult.", "lg": "Enguudo embi zireetera emirimu okuba emizibu." }
2685
{ "en": "Stakeholders require accountability for the roads.", "lg": "Be kikwatako basaba embalirira y'enguudo." }
2686
{ "en": "The authority in charge of the roads should upgrade the roads in the major districts", "lg": "Ab'obuyinza ku nguudo bateekeddwa okwongera ku mutindo gw'enguudo mu disitulikiti enkulu." }
2687
{ "en": "Poor roads lead to increased road accidents.", "lg": "Enguudo embi zireeta okweyongera kw'obubenje bw'enguudo." }
2688
{ "en": "Road construction should be taken over by the ministry of transport and works.", "lg": "Okuzimba enguudo kuteekeddwa okutwalibwa ekitongole ky'ebyentambula." }
2689
{ "en": "The roads should be worked on as soon as possible.", "lg": "Enguudo zirina okukolebwako mu bwangu ddaala nga bwe kisoboka." }
2690
{ "en": "The ministry asked for new equipment to work on the roads.", "lg": "Ekitongole kyasabye ebikola epibya kikole ku nguudo." }
2691
{ "en": "The Uganda National Roads Authority has already received contractors to work on the roads.", "lg": "Ekitongole kya Uganda National Roads Authority kyafunye dda ba kontulakita okukola ku nguudo." }
2692
{ "en": "The roads in the central district might require up to eight billion Uganda shillings.", "lg": "Enguudo mu disitulikiti eyo masekati zeetaaga obuwumbi munaana obw'ensimbi za Uganda." }
2693
{ "en": "The roads will be worked on as soon as funds come in.", "lg": "Enguudo zijja kukolebwako mu bwangu ddaala ng'ensimbi zizze." }
2694
{ "en": "The construction started after the joint meeting by the officials.", "lg": "Okuzimba kwatandika oluvannyuma lw'olukiiko olw'awamu n'abakungu." }
2695
{ "en": "The roads were in a very poor state and need to be worked on soon.", "lg": "Enguudo zaali mu mbeera mbi era nga zeetaaga okukolebwako mu bwangu." }
2696
{ "en": "The United nations will also help to upgrade the roads.", "lg": "Ekitongole ky'amawanga amagatte kijja kuyamba mu kusitula omutindo gw'enguudo." }
2697
{ "en": "The district officials should put their differences aside and work on the roads.", "lg": "Abakungu ba disitulikiti bateekeddwa okuteeka enkaayana zaabwe ku bbali bakole ku nguudo." }
2698
{ "en": "The government should increase security on its borders.", "lg": "Gavumenti erina okwongeza obukuumi ku nsalo zaayo." }
2699