translation
dict
id
stringlengths
1
4
{ "en": "How do you inspire the youth in todayÕs society?", "lg": "Osikiriza otya abavubuka okubaako kye bakola leero mu bitundu?" }
2900
{ "en": "She entered her first ever beauty contest when she was five years.", "lg": "Yayingira mu mpaka z'obwannalulungi omulundi gwe ogusooka ng'alina emyaka etaano." }
2901
{ "en": "The position paper shows the current situation of refugees.", "lg": "Ekiwandiiko kiraga embeera y'abanoonyiboobubudamu gye balimu." }
2902
{ "en": "The village leader presented the paper to the district task force.", "lg": "Omukulembeze w'ekyalo yayanjudde ekiwandiiko eri akakiiko ka disitulikiti akadduukirize." }
2903
{ "en": "The locals demanded compensation for refugee land.", "lg": "Abatuuze baasaba okuliyirirwa ettaka ly'abanoonyiboobubudamu." }
2904
{ "en": "We agreed on a number of conditions with the landlord.", "lg": "twakkaanyizza ku bukwakkulizo bungi ne nannyini mayumba g'abapangisa." }
2905
{ "en": "Peaceful coexistence promotes harmonious rerations.", "lg": "Okubeerawo kw'emirembe kutumbula enkolagana ennungi." }
2906
{ "en": "There are many historical sites in Uganda.", "lg": "Waliwo ebifo by'ebyafaayo bingi mu Uganda." }
2907
{ "en": "There is need to fulfill the right to education for refugees.", "lg": "Waliwo obwetaavu bw'okutuukiriza eddembe ly'ebyenjigiriza ery'abanoonyiboobubudamu." }
2908
{ "en": "There are land wrangles between refugees and host communities in Northern Uganda.", "lg": "Waliwo enkaayana z'ettaka wakati w'Abanoonyiboobubudamu n'ebitundu ebibabudamya mu bukiikakkono bwa Uganda." }
2909
{ "en": "Some refugee camps are turning into permanent cities.", "lg": "Enkambi z'Abanoonyiboobubudamu ezimu ziri mu kufuuka bibuga eby'obuwangaazi." }
2910
{ "en": "Uganda is the largest refugee hosting country in Africa.", "lg": "Uganda ly'eggwanga erikyasinze okubudamya Abanoonyiboobubudamu ku ssemazinga wa Africa." }
2911
{ "en": "Some health workers are accused of sexual harassment.", "lg": "Abasawo abamu bavunaanibwa gwa kukabasanya." }
2912
{ "en": "The organization staffs are responsible for distributing food to the refugees.", "lg": "Abakozi b'ekitongole be bavunaanyizibwa ku kugaba emmere eri Abanoonyiboobubudamu." }
2913
{ "en": "The organization leader visited the refugee camp earlier today.", "lg": "Ssenkulu w'ekitongole yakyalidde enkambi y'Abanoonyiboobubudamu enkya ya leero." }
2914
{ "en": "Are refugee camps safe for children?", "lg": "Enkambi z'Abanoonyiboobubudamu nnungi eri abaana?" }
2915
{ "en": "Because of insufficient funds some refugees lack food.", "lg": "Olw'ensimbi obutamala, abanoonyiboobubudamu abamu tebalina mmere." }
2916
{ "en": "If you mistreat the poor, you insult the creator.", "lg": "Bw'oyisa obubi abaavu, oba osoomooza Mutonzi." }
2917
{ "en": "Refugees are taking up creative ways of earning an income.", "lg": "Abanoonyiboobubudamu bakozesa obuyiiya nga engeri y'okufunamu ensimbi." }
2918
{ "en": "More refugees arrive in Uganda every day.", "lg": "Buli lukya abanoonyiboobubudamu batuuka mu Uganda." }
2919
{ "en": "The organization temporarily suspended its staff because of fraud allegations.", "lg": "Ekitongole kyawummuzaamu abakozi baakyo olw'okubateebereza okuba abakumpanya." }
2920
{ "en": "There are suggestion boxes at food distribution centers.", "lg": "Waliwo obusanduuko obuteekebwamu ebirowoozo by'abantu mu bifo awagabirwa emmere." }
2921
{ "en": "The police will carry out further investigations.", "lg": "Poliisi ejja kukola okunoonyereza okulala." }
2922
{ "en": "You should have experience on how to investigate those allegations.", "lg": "Oteekeddwa okuba n'obumanyirivu butya bw'okunoonyereza ku biteeberezebwa ebyo." }
2923
{ "en": "The organization started a communication systems for refugees.", "lg": "Ekitongole kyatandikawo empuliziganya z'abanoonyiboobubudamu." }
2924
{ "en": "You can address your issue through the suggestion box.", "lg": "Osobola okuwa endowooza yo ng'oyita mu kasanduuko akatekebwamu ebirowoozo." }
2925
{ "en": "Any staff found guilty of committing the crime will be terminated.", "lg": "Omukozi yenna akakaksibwa okuzza omusango ajja kusazibwamu." }
2926
{ "en": "The meeting will take place at the council hall.", "lg": "Olukiiko lujja kubeera mu kizimbe omutuuzibwa enkiiko." }
2927
{ "en": "We conducted a meeting under the tree, but the rain disorganized it.", "lg": "Twatuuza olukungaana wansi w'omuti naye enkuba yalutaataaganya." }
2928
{ "en": "Some districts in Uganda don't have council halls.", "lg": "Disitulikiti ezimu mu Uganda tezirina bizimbe mutuuzibwa nkiiko." }
2929
{ "en": "Once meetings are held outside, members don't concentrate.", "lg": "Enkiiko bwe zitegekebwa waabweru, abantu tebassaayo birowoozo.." }
2930
{ "en": "I advise you to conduct that meeting in the town hall.", "lg": "Nkuwa amagezi olukiiko olutuuze mu kizimbe ky'ekibuga enkiiko we zituula." }
2931
{ "en": "A big council hall is under construction.", "lg": "Ekisenge ky'akakiiko ekinene kizimbibwa." }
2932
{ "en": "The government has funded the construction of council halls in the country.", "lg": "Gvumenti evujjiridde okuzimba ebisenge omutuula enkiiko mu ggwanga." }
2933
{ "en": "In villages meetings are held under trees.", "lg": "Mu byalo enkiiko zitegekebwa wansi wa miti." }
2934
{ "en": "Why didn't they design it right in the first place?", "lg": "Lwaki tebakitegekerawo mu butuufu okuviira ddaala mu ntandikwa?" }
2935
{ "en": "The funds allocated are enough to complete that building.", "lg": "Ssente ezaweebwayo zimala okumaliriza ekizimbe ekyo." }
2936
{ "en": "The minister donated twenty bags of cement in renovation of the council building.", "lg": "Minisita yawaddeyo obusawo bwa sementi makumi abiri mu kuddaabiriza ekizimbe omutuuzibwa enkiiko." }
2937
{ "en": "Community halls are closed for all bookings until further notice.", "lg": "Ebizimbe by'ekyalo omutuuzibwa enkiiko byonna biggale eri abo ababyekwata okutuusa nga waliwo ekirangiriddwa mu maaso eyo." }
2938
{ "en": "The opposition leader has pledged to help in planting more trees.", "lg": "Omukulembeze w'oludda oluvuganya yeeyamye okuyambako mu kusimba emiti egiwera." }
2939
{ "en": "They had the permission from authorities allowing them to cut the trees.", "lg": "Baalina olukusa okuva mu b'obuyinza olubakkiriza okusala emiti." }
2940
{ "en": "The youths were angry about the cutting down of trees in their area.", "lg": "Abavubuka baali banyiivu olw'okusala emiti mu kitundu kyabwe." }
2941
{ "en": "The youths took the cut timber as evidence of the illegal act.", "lg": "Abavubuka baatwala olubaawo olwali lusaliddwa ng'ekizibiti ky'ekikolwa ekitali mu mateeka." }
2942
{ "en": "It was a decision made by the district leaders.", "lg": "Kwali kusalawo kw'abakulembeze ba disitulikiti." }
2943
{ "en": "The council issued a public notice.", "lg": "Akakiiko kaayisa obubaka bw'abantu." }
2944
{ "en": "Are the products legally produced?", "lg": "Ebikolebwa bikolebwa mu mateeka?" }
2945
{ "en": "He bribed the village leader to allow him cut down the trees.", "lg": "Yawa omukulembeze w'ekyalo enguzi okusobola okumukkiriza okusala emiti." }
2946
{ "en": "Police officers protect people and their properties.", "lg": "Abakungu ba poliisi bakuuma abantu n'ebintu byabwe." }
2947
{ "en": "The village chairperson sold off that land illegally.", "lg": "Ssentebe w'ekyalo yatunda ettaka eryo mu bumenyi bw'amateeka." }
2948
{ "en": "Residents blamed the council development committee for the bad roads.", "lg": "Abatuuze baanenya akakiiko akakola ku by'enkulaakulana olw'enguudo embi." }
2949
{ "en": "Some people in the government offices are corrupt.", "lg": "Abantu abamu mu woofiisi za gavumenti bakenenuzi." }
2950
{ "en": "Our town has developed very fast because of transparent leadership.", "lg": "Ekibuga kyaffe kikulaakulanye mangu olw'obukulembeze obwerufu." }
2951
{ "en": "All decisions made by leaders affect people positivery and negativery.", "lg": "Okusalawo kwonna okukolebwa abakulembeze kukosa abantu mu bulungi ne mu bubi." }
2952
{ "en": "Health services increased ever since our area was upgraded to a district status.", "lg": "Empeereza y'ebyobulamu yeyongera okuva ekitundu kyaffe lwe kyateekebwa ku mutendera gwa disitulikiti." }
2953
{ "en": "The government gave farmers good cow breeds to improve their home earnings.", "lg": "Gavumenti yawa abalimi olulyo lw'ente olulungi okusobola okwongera ku nnyingiza yaabwe ey'ewaka." }
2954
{ "en": "Only organized groups get government support for development .", "lg": "Ebibiina ebyeteeseteese obulungi byokka bye bifuna obuyambi mu gavumenti okusobola okwekulaakulanya." }
2955
{ "en": "Farmers got resistant seeds for commercial farming from the government.", "lg": "Abalimi baafuna ensigo ezitalumbibwa bulwadde okuva mu gavumenti okulima ebintu eby'okutunda." }
2956
{ "en": "Animals need a good veterinary doctor to produce good yields.", "lg": "Ebisolo byetaaga omusawo w'ebisolo omulungi okuvaamu ebibala ebirungi," }
2957
{ "en": "The leader is ready to uplift people's standards of living.", "lg": "Omukulembeze mwetegefu okututumula omutindo gw'obulamu bw'abantu." }
2958
{ "en": "It takes a farmer a lot to raise a cow to maturity.", "lg": "Omuluzi kimweetaagisa ebintu bingi okukuza ente." }
2959
{ "en": "Milk selling is a very profitable business in urban areas.", "lg": "Okutunda amata ye bizinensi efuna ennyo mu bitundu by'ekibuga." }
2960
{ "en": "Many cows die due to dangerous pests and diseases.", "lg": "Ente nnyingi zifa olw'ebiwuka n'endwadde enkambwe." }
2961
{ "en": "Cows are used as bride price in several Ugandan cultures.", "lg": "Ente zikozesebwa mu kusasula omugole mu mawanga g'omu Uganda ag'enjawulo." }
2962
{ "en": "Farmers need to take care of their animals daily.", "lg": "Abalimi n'abalunzi beetaaga okulabirira ebisolo byabwe buli lunaku." }
2963
{ "en": "Farmers educate their children about milk sales.", "lg": "Abalimi basomesa abaana baabwe ku bbeeyi y'amata." }
2964
{ "en": "Cattle raiding causes deadly conflicts among people.", "lg": "Okubba ente kuleeta obukuubagano obw'obulabe mu bantu." }
2965
{ "en": "Those who steal other people's animals should be punished.", "lg": "Abo ababba ebisolo by'abantu abalala balina okubonerezebwa." }
2966
{ "en": "Nationals who stay at the border face challenges from those in the neighboring country.", "lg": "Bannansi ababeera ku nsalo basanga okusoomooza okuva eri abo abali mu nsi eziriraanyewo." }
2967
{ "en": "The national army does a great job in safeguarding all citizens.", "lg": "Amaggye g'eggwanga gakola omulimu munene mu kukuuma bannansi." }
2968
{ "en": "A group of boys from the neighboring town attacked and beat up our chairman.", "lg": "Akabinja k'abalenzi okuva mu kabuga akaliraanyewo kaalumba ne kakuba ssentebe waffe." }
2969
{ "en": "Leaders appealed to nationals to inform police of any suspected criminals among them.", "lg": "Abakulembeze baasaba bannansi okutegeeza poliisi ku bateeberezebwa okuba abazzi b'emisango mu bo." }
2970
{ "en": "Government needs to increase the number of border patrol police.", "lg": "Gavumenti yeetaaga okwongera ku muwendo gw'abakuumaddembe abalawuna ku nsalo." }
2971
{ "en": "It is very dangerous for citizens to possess guns in their hands.", "lg": "Kyabulabe nnyo bannansi okuba n'emmundu mu mikono gyabwe." }
2972
{ "en": "A peaceful country attracts various foreign Investors.", "lg": "Ensi erimu emirembe esikiriza bamusiga nsimbi ab'enjawulo abava ebweru." }
2973
{ "en": "Local leaders find a hard time in setting conflicts among residents.", "lg": "Abakulembeze b'ebitundu basanga akaseera akazibu mu kugonjoola enkaayana mu batuuze." }
2974
{ "en": "Conflicts among people of different countries can cause a serious war between them.", "lg": "Obukuubagano mu bantu b'ensi ez'enjawulo bussobola okuviirako olutalo olw'amaanyi wakati waazo." }
2975
{ "en": "Border districts should always prepare attacks from neighbors.", "lg": "Disitulikiti eziri ku nsalo zirina buli kaseera okwetegekera obulumbaganyi okuva ku baliraanyewo." }
2976
{ "en": "Most cattle keepers in the north use traditional weapons in protecting animals.", "lg": "Abalunzi b'ente abasinga mu bukiikakkono bakozesa eby'okulwanyisa ebyobuwangwa mu kukuuma ensolo." }
2977
{ "en": "Cattle keepers need enough space for grazing their cattle.", "lg": "Abalunzi b'ente beetaaga ekifo ekimala okulundirawo ente zaabwe." }
2978
{ "en": "Some cattle keepers move from place to place looking for grass and water.", "lg": "Abalunzi b'ente abamu batambula kifo ku kifo nga banoonya omuddo n'amazzi." }
2979
{ "en": "Northern Uganda has a big number of refugees.", "lg": "Obukiikakkono bwa Uganda bulina omuwendo gw'Abanoonyiboobubudamu omungi." }
2980
{ "en": "It's quite hard to mix with people of different cultural beriefs.", "lg": "Kizibu mu okwetaba n'abantu abakkiririza mu byobuwangwa eby'enjawulo." }
2981
{ "en": "Youths are encouraged to form small development groups.", "lg": "Abavubuka bakubirizibwa okukola obubiina bw'okwekulaakulanya obutonotono." }
2982
{ "en": "These days, the youths have been trained in various money making skills.", "lg": "Ennaku zino abavubuka bayigiriziddwa obukodyo obwenjawulo obw'okukolamu ssente." }
2983
{ "en": "Some youths, especially in the rural areas are ignorant about government development groups.", "lg": "Abavuka abamu naddaala mu byalo tebamanyi ku bibiina bya gavumenti eby'enkulaakulana." }
2984
{ "en": "The amount of money dispersed to each youth group is dependent on its project proposal.", "lg": "Omuwendo gwa ssente ogusaasaanyizibwa ku buli kibiina ky'abavuka gusinziira ku bbago lya pulojekiti yaakyo." }
2985
{ "en": "Youth groups that invest their money properly greatly benefit from them.", "lg": "Ebibiina by'abavuka ebisiga obulungi ensimbi zaabyo biziganyulwamu nnyo." }
2986
{ "en": "A youth leader was arrested for misusing group members' saving.", "lg": "Omukulembeze w'abavubuka yakwatiddwa lwa kukozesa bubi ssente z'ekibiina eziterekebwa." }
2987
{ "en": "The district will include youth development projects in the next year's budget.", "lg": "Disitulikiti ejja kussa pulojekiti z'abavuka ez'okwekulaakulanya mu mbalirira y'omwaka ogujja." }
2988
{ "en": "The district financial year has ended this month.", "lg": "Omwaka gwa disitulikiti ogw'ebyensimbi gwaweddeko omwezi guno." }
2989
{ "en": "The team should understand everyone's interests.", "lg": "Ttiimu erina okutegeera ebyetaago bya buli omu." }
2990
{ "en": "There will be a salary increment for teachers in the next financial year.", "lg": "Wajja kubaawo okwongeza abasomesa omusaala mu mwaka gw'ebyenfuna ogujja." }
2991
{ "en": "He was arrested and taken to prison until the debt was paid.", "lg": "Yakwatibwa n'atwalibwa mu kkomera okutuusa ebbanja lwe lyasasulwa." }
2992
{ "en": "The headteacher refused to approve the school budget.", "lg": "Omukulu w'essomero yagaanye okuyisa embalirira y'essomero." }
2993
{ "en": "My friend threatened to quit if she doesn't get promoted.", "lg": "Mukwano gwange yatiisizzatiisizza okugenda singa takuzibwa." }
2994
{ "en": "The manager ignored our complains.", "lg": "Omukulu teyafuddeyo ku kwemulugunya kwaffe." }
2995
{ "en": "People who earn a lot of money still can't pay their bills.", "lg": "Abantu abafuna ssente ennyingi era tebasobola kusasula bisale byabwe." }
2996
{ "en": "Some companies offer health insurance to employees and others don't.", "lg": "Ebitongole ebimu biwa abakozi baabyo obujjanjabi ate ebirala tebibawa." }
2997
{ "en": "Every day we are given free transport at work.", "lg": "Buli lunaku tuweebwa entambula ey'obwereere ku mulimu." }
2998
{ "en": "You should be serious with your education.", "lg": "Olina okufaayo ennyo ku kusoma kwo." }
2999