translation
dict
id
stringlengths
1
4
{ "en": "The government should increase security at the border.", "lg": "Gavumenti erina okwongera obukuumi ku nsalo." }
3200
{ "en": "There is cattle rustling at the district.", "lg": "Waliwo obubbi bw'ente mu disitulikiti." }
3201
{ "en": "The district lacks funds to transport humanitarian workers.", "lg": "Disitulikiti terina nsimbi kutambuza bakola ku nsonga z'obuntu." }
3202
{ "en": "There is no transparency among the district leaders.", "lg": "Tewali bwerufu mu bakulembeze ba disitulikiti." }
3203
{ "en": "There is corruption at the district.", "lg": "Waliwo obuli bw'enguzi ku disitulikiti." }
3204
{ "en": "People will provide land for establishment of refugee camps.", "lg": "Abantu bajja kuwaayo ettaka ery'okuteekako enkambi z'abanoonyiboobubudamu." }
3205
{ "en": "District leaders are not united.", "lg": "Abakulembeze ba disitulikiti tebali bumu." }
3206
{ "en": "District leaders are conflicting over the allocation of funds.", "lg": "Abakulembeze ba disitulikiti bakuubagana ku ngabanya ya ssente." }
3207
{ "en": "Some people have not benefited from the government programs.", "lg": "Abantu abamu tebaganyuddwa mu pulogulaamu za gavumenti." }
3208
{ "en": "Candidates performed poorly in last yearÕs Primary Leaving Examinations.", "lg": "Abayizi abaali mu bibiina by'akamalirirzo baakola bubi mu bibuuzo bya pulayimale ebyakamalirizo." }
3209
{ "en": "People lack skills to participate in business activities.", "lg": "Abantu tebalina bukugu kwetaba mu mirimu gya bizinensi." }
3210
{ "en": "Obongi district is politically dependent on Moyo.", "lg": "Disitulikiti y'e Obongi yeesigama ku Moyo mu byobufuzi." }
3211
{ "en": "Obongi district headquarters were established in Moyo.", "lg": "Ekitebe ekikulu ekya disitulikiti y'e Obongi kyateekebwa Moyo." }
3212
{ "en": "The people oof West Nile engage in agricultural activities.", "lg": "Abantu ba West Nile beenyigira mu byobulimi n'obulunzi." }
3213
{ "en": "People have been able to access loans from their cooperatives.", "lg": "Abantu basobodde okwewola ssente okuva mu bibiina byabwe eby'obwegassi." }
3214
{ "en": "People have been charged interest rates on the loans.", "lg": "Abantu babadde baggyibwako amagoba ku ssente ze beewola." }
3215
{ "en": "The cost of investment in agricultural activities is high.", "lg": "Okuteeka ssente mu byobulimi kya bbeeyi." }
3216
{ "en": "People lack funds to cultivate and till their land.", "lg": "Abantu tebalina ssente za kulima n'okukabala ettaka lyabwe." }
3217
{ "en": "The high interest rates charged on loans discourage business activities.", "lg": "Amagoba amangi agasabibwa ku ssente eziwolebwa galemesezza emirimu gya bizinensi." }
3218
{ "en": "People lack financial stability.", "lg": "Abantu babulamu obutebenkevu mu byensimbi." }
3219
{ "en": "Farmers lack market for their agricultural produce.", "lg": "Abalimi tebalina katale k'ebyamaguzi byabwe." }
3220
{ "en": "People fear accessing loans because of the conditions involved in paying them.", "lg": "Abantu batya okwewola ssente olw'obukwakkulizo obubeerawo mu kuzisasula." }
3221
{ "en": "The reduction in interest rates excited the farmers.", "lg": "Okukendeeza ku magoba ku ssente ezeewolebwa kyasanyusizza abalimi." }
3222
{ "en": "Some farmers donÕt use the loans for business purposes.", "lg": "Abalimi abamu ssente ze beewola tebazikozesa mu bizinensi." }
3223
{ "en": "There are land conflicts in Moyo district.", "lg": "Waliwo obukuubagano ku ttaka mu disitulikiti y'e Moyo." }
3224
{ "en": "People have accused politicians in conniving to grab their land.", "lg": "Abantu baalumirizza bannabyabufuzi okwekobaana okubba ettaka lyabwe." }
3225
{ "en": "The only way to survive eviction is by having a land tittle.", "lg": "Engeri yokka ey'okuwona okusengulwa ya kubeera na kyapa." }
3226
{ "en": "People were injured in the fight over land.", "lg": "Abantu baakoseddwa mu kulwanagana olw'ettaka." }
3227
{ "en": "Politicians are the architects of land wrangles.", "lg": "Bannabyabufuzi be baviirako enkaayana z'ettaka." }
3228
{ "en": "People should register their land.", "lg": "Abantu balina okuwandiisa ettaka lyabwe." }
3229
{ "en": "People should use their land for productive purposes.", "lg": "Abantu balina okukozesa ettaka lyabwe ebintu eby'omugaso." }
3230
{ "en": "The district officials should register the rightful owners of land.", "lg": "Abakungu ku disitulikiti balina okuwandiisa bannannyini ttaka abatuufu." }
3231
{ "en": "People are selling their land to get money.", "lg": "Abantu batunda ettaka lyabwe okufuna ssente." }
3232
{ "en": "The district officials have held various meetings to discuss land conflicts.", "lg": "Abakungu ba disitulikiti batuuzizza enkiiko ez'enjawulo okukubaganya ebirowoozo ku bukuubagano ku ttaka." }
3233
{ "en": "People should be sensitized on the lawful means of acquiring land.", "lg": "Abantu balina okusomesebwa ku ngeri eziri mu mateeka ez'okufunamu ettaka." }
3234
{ "en": "People should seek legal guidance to solve land conflicts.", "lg": "Abantu balina okunoonya okulambikibwa ku mateeka okugonjoola enkaayana ku ttaka." }
3235
{ "en": "There is insecurity in the area because of land conflicts.", "lg": "Waliwo obutali butebenkevu mu kitundo olw'obukuubagano ku ttaka." }
3236
{ "en": "People should work together and resolve their differences.", "lg": "Abantu balina okukolera awamu okugonjoola enjawukana zaabwe." }
3237
{ "en": "Teachers are not committed to providing knowledge to the pupils.", "lg": "Abasomesa si bamalirirvu kuwa baana baabwe magezi." }
3238
{ "en": "Teachers werenÕt able to complete the syllabus because of the lockdown.", "lg": "Abasomesa tebaasobola kumalayo birina kusomesebwa olw'omuggalo." }
3239
{ "en": "Teachers are poorly paid.", "lg": "Abasomesa basasulwa bubi." }
3240
{ "en": "Teachers have side business.", "lg": "Abasomesa balinayo bizinensi endala." }
3241
{ "en": "Teachers are always out of class during school hours.", "lg": "Abasomesa tebatera kubeera mu bibiina mu budde bw'okusomesa." }
3242
{ "en": "The district education officer organized a conference aimed at improving the performance of pupils.", "lg": "Omukungu w'ebyenjigiriza mu disitulikiti yategeka olusirika olwali luluubirira okutumbula ensoma y'abayizi." }
3243
{ "en": "Teachers are incompetent.", "lg": "Abasomesa tebalina bukugu bweetaagisa." }
3244
{ "en": "Teachers are good at theory work.", "lg": "Abasomesa balungi ku mirimu gy'ebikwate." }
3245
{ "en": "Pupils have a poor foundation.", "lg": "Abayizi balina omusingi omubi." }
3246
{ "en": "Teachers donÕt emphasize reading, writing, speaking and listening at school.", "lg": "Abasomesa ku ssomero essira tebaliteeka ku kusoma, kuwandiika, kwogera n'okuwuliriza." }
3247
{ "en": "Some schools in Moyo district arenÕt well facilitated.", "lg": "Amasomero agamu mu disitulikiti y'e Moyo tegaweebwa bulungi bikozesebwa." }
3248
{ "en": "Teachers arenÕt well motivated.", "lg": "Abasomesa tebazzibwamu bulungi maanyi." }
3249
{ "en": "The district should recruit competent and experienced teachers.", "lg": "Disitulikiti erina okuwandiisa abasomesa abalina obukugu n'obumanyirivu." }
3250
{ "en": "Parents should advise their children about the importance of education.", "lg": "Abazadde balina okubuulirira abaana baabwe ku bukulu bw'okusoma." }
3251
{ "en": "Cattle rustling is rampant in Moyo district.", "lg": "Obubbi bw'ente buli waggulu mu disitulikiti y'e Moyo." }
3252
{ "en": "The government will deploy army officers to deal with cattle rustlers.", "lg": "Gavumenti ejja kuteekawo ab'amagye okulwanyisa ababbi b'ente." }
3253
{ "en": "People have lost not less than one thousand helds of cattle", "lg": "Abantu bafiiriddwa amagana g'ente agatakka wansi wa lukumi." }
3254
{ "en": "People have lost their property in the area.", "lg": "Abantu bafiiriddwa ebintu byabwe mu kitundu." }
3255
{ "en": "The police has carried out community policing to keep law and order in the district.", "lg": "Poliisi etaddewo enkola y'okulawuna ekitundu okukuuma amateeka n'obutebenkevu mu disitulikiti." }
3256
{ "en": "The government was able to recover the stolen cattle.", "lg": "Gavumenti yasobodde okununula ente ezabbibwa." }
3257
{ "en": "The army has ensured security at the border.", "lg": "Amagye gatadde obukuumi ku nsalo." }
3258
{ "en": "The government will compensate the people who lost their cattle.", "lg": "Gavumenti ejja kuliyirira abantu abaabulwako ente zaabwe." }
3259
{ "en": "The government will reconstruct the bridge in Moyo district.", "lg": "Gavumenti ejja kuddamu okuzimba olutindo mu disitulikiti y'e Moyo." }
3260
{ "en": "Roads in Moyo district are in a poor shape.", "lg": "Enguudo mu disitulikiti y'e Moyo ziri mu mbeera mbi." }
3261
{ "en": "Refugees were repatriated to their motherland.", "lg": "Abanoonyiboobubudamu bazziddwayo mu nsi yaabwe." }
3262
{ "en": "The poor status of the bridge has hindered the movement of goods .", "lg": "Embeera y'olutindo embi esannyalazza entambuza y'ebyamaguzi." }
3263
{ "en": "Some places have remained inaccessible because of the poor status of the bridge.", "lg": "Ebifo ebimu bisigadde nga tebituukikamu olw'embeera y'olutindo embi." }
3264
{ "en": "There are floods in Moyo district.", "lg": "Mu disitulikiti y'e Moyo waliyo amataba." }
3265
{ "en": "The government has financed the construction of the bridge.", "lg": "Gavumenti etadde ssente mu kuzimba olutindo." }
3266
{ "en": "Ugandan national roads authority will be in charge of bridge construction.", "lg": "Ekitongole ky'ebyenguudo kijja kuvunaanyizibwa ku kuzimba olutindo." }
3267
{ "en": "Construction of the bridge will commence after two years.", "lg": "Okuzimba olutindo kujja kutandika oluvannyuma lw'emyaka ebiri." }
3268
{ "en": "The bridge was damaged during the repatriation of refugees.", "lg": "Olutindo lwayonoonebwa mu kuzzaayo abanoonyiboobubudamu." }
3269
{ "en": "The government has delayed bridge reconstruction.", "lg": "Gavumenti erwisizzaawo okuddamu okuzimba olutindo." }
3270
{ "en": "People should work together to improve service delivery.", "lg": "Abantu balina okukolera awamu okutumbula obuweereza." }
3271
{ "en": "The president held a meeting to discuss security lapses on the Ugandan borders.", "lg": "Pulezidenti yatuuzizza olukiiko okukubaganya ebirowoozo ku miwaatwa mu byokwerinda ku nsalo za Uganda." }
3272
{ "en": "The security officers have failed to recover the stolen animals.", "lg": "Abakuumaddembe balemereddwa okununula ebisolo ebyabbibwa." }
3273
{ "en": "The chief of defense forces assured people of security for their lives and property.", "lg": "Omuduumizi w'amagye yakakasizza abantu ku bukuumi bw'obulamu bwabwe n'ebintu byabwe." }
3274
{ "en": "There is instability at the Ugandan border.", "lg": "Waliwo obutali butebenkevu ku nsalo za Uganda." }
3275
{ "en": "The government has not provided support to the people of Moyo.", "lg": "Gavumenti tewadde bantu b'e Moyo buyambi." }
3276
{ "en": "People of Moyo are living in fear.", "lg": "Abantu b'e Moyo babeera mu kutya." }
3277
{ "en": "Criminals have been arrested by security officers.", "lg": "Abazzi b'emisango bakwatiddwa ab'ebyokwerinda." }
3278
{ "en": "The government has delayed to reinforce the security at the border.", "lg": "Gavumenti eruddewo okunyweza ebyokwerinda ku nsalo." }
3279
{ "en": "Several roads will be constructed in Moyo district.", "lg": "Enguudo ez'enjawulo zijja kuzimbibwa mu disitulikiti y'e Moyo." }
3280
{ "en": "People have provided the security forces with inteligence information.", "lg": "Abantu bawadde ab'ebyokwerinda obubaka ku by'obukessi." }
3281
{ "en": "The government will build a market for the people of Moyo.", "lg": "Gavumenti ejja kuzimbira abantu b'e Moyo akatale." }
3282
{ "en": "There is an outbreak of African swine fever.", "lg": "Waliwo okubalukawo kw'obulwadde bw'omusujja gw'embizzi." }
3283
{ "en": "The district banned the movement of pigs in the district.", "lg": "Disitulikiti yawera okutambuza z'embizi mu disitulikiti." }
3284
{ "en": "Most of the pigs in the district died because of African swine fever.", "lg": "Embizzi ezisinga mu disitulikiti zaafa olw'omusujja." }
3285
{ "en": "The district has banned the slaughter of pigs.", "lg": "Disitulikiti eweze okusala embizzi." }
3286
{ "en": "The ministry of agriculture has provided farmers with medicine and spraying machines.", "lg": "Minisitule y'ebyobulimi ewadde abalimi eddagala n'ebyuma ebifuuyira." }
3287
{ "en": "Farmers should avoid feeding pigs on leftover food from hotels.", "lg": "Abalimi balina okwewala okuwa embizi amawolu okuva mu zi wooteeri." }
3288
{ "en": "The nearby districts are ready to combat African swine fever.", "lg": "Disitulikiti eziriraanyewo neetegefu okumalawo omusujja gw'embizzi." }
3289
{ "en": "People who are selling pork have gone out of business.", "lg": "Abatunda embizzi tebakyalina mirimu." }
3290
{ "en": "People selling pork will start selling goat meat.", "lg": "Abatunda embizzi bajja kutandika okutunda ennyama y'embuzi." }
3291
{ "en": "People who invested in piggery have been greatly affected.", "lg": "Abantu abaateeka ssente mu kulunda embizzi bakoseddwa nnyo." }
3292
{ "en": "The district officials will arrest farmers who disobey the imposed quarantine.", "lg": "Abakungu ba disitulikiti bajja kukwata abalimi abanaajemera kkalantiini eteekeddwawo." }
3293
{ "en": "The minister for primary health care was poisoned.", "lg": "Minisita w'ebyobulamu ebisookerwako y'aweereddwa obutwa." }
3294
{ "en": "The minister forgave all the people against her.", "lg": "Minisita yasonyiye abantu bonna abatamwagala." }
3295
{ "en": "The minister asserted that she survived by the grace of God.", "lg": "Minisita yakinogaanyizza nti yawonye lwa kisa kya Katonda." }
3296
{ "en": "The minister advised Christians to have faith in God.", "lg": "Minisita yawadde abakrisitaayo amagezi okuba n'okukkiriza Katonda." }
3297
{ "en": "The minister is living a healthy life.", "lg": "Minisita mulamu bulungi." }
3298
{ "en": "The building may collapse.", "lg": "Ekizimbe kiyinza okugwa ." }
3299