translation
dict
id
stringlengths
1
4
{ "en": "We are encouraged to trust God.", "lg": "Tukubirizibwa okwesiga Katonda." }
3300
{ "en": "I am a living testimony of God's goodness.", "lg": "Ndi bujulizi obulabibwako obw'obulungi bwa Katonda." }
3301
{ "en": "I recovered from a very critical illness.", "lg": "Nassuuka obulwadde obubi ennyo ." }
3302
{ "en": "We should always seek medical assistance when sick.", "lg": "Bulijjo tulina okufuna obujjanjabi nga tuli balwadde." }
3303
{ "en": "The priest gave an interesting homily.", "lg": "Omusumba yawadde ekyawandiikibwa ekinyuvu." }
3304
{ "en": "My father was discharged from hospital.", "lg": "Taata wange yasiibuddwa okuva mu ddwaliro ." }
3305
{ "en": "I am very grateful to everyone who checked on me.", "lg": "Nsiimye nnyo buli muntu eyannambulako." }
3306
{ "en": "I hope to join the army next year.", "lg": "Nsuubira okuyingira amagye omwaka ogujja ." }
3307
{ "en": "All my cattle was shot dead during the war.", "lg": "Ente zange zonna zaakubibwa amasasi ne zifa mu lutalo ." }
3308
{ "en": "I need to be compensated for my lost property.", "lg": "Neetaaga okuliyirirwa olw'ebintu byange ebyabula." }
3309
{ "en": "They recruited more youth into the army.", "lg": "Baayingizza abavubuka abalala mu magye." }
3310
{ "en": "We were compensated for our lost property.", "lg": "Twaliyirirwa olw'ebintu byaffe ebyabula." }
3311
{ "en": "We were advised not to engage in riots.", "lg": "Twaweebwa amagezi obuteenyigira mu bwegugungo." }
3312
{ "en": "We had a meeting to table our problems.", "lg": "Twabadde n'olukiiko okwanja ebizibu byaffe." }
3313
{ "en": "The chairman promised to solve our problems.", "lg": "Ssentebe yasuubizza okugonjoola ebizibu byaffe ." }
3314
{ "en": "The president was very disappointed in his cabinet.", "lg": "Pulezidenti yayiiriddwayo akakiiko ke ." }
3315
{ "en": "All citizens should pay taxes.", "lg": "Bannansi bonna balina okusasula emisolo." }
3316
{ "en": "He acquired a big bank loan.", "lg": "Yeewoze ssente ennyingi mu bbanka." }
3317
{ "en": "He is a heldsman.", "lg": "Mulunzi." }
3318
{ "en": "My daughters were kidnapped this morning.", "lg": "Bawala bange baawambiddwa kumakya." }
3319
{ "en": "Schools have been re-opened today.", "lg": "Amasomero gazzeemu okuggulwawo leero." }
3320
{ "en": "The bridge is still under construction.", "lg": "Olutindo lukyali mu kuzimbibwa." }
3321
{ "en": "They acquired equipment for road construction.", "lg": "Baafuuna ebikozesebwa eby'okuzimba oluguudo." }
3322
{ "en": "Many people have been displaced due to the war.", "lg": "Abantu bangi basenguddwa olw'olutalo ." }
3323
{ "en": "More apartments should be constructed due to the growing population.", "lg": "Kkalina endala zirina okuzimbibwa olw'omuwendo gw'abantu ogweyongera.." }
3324
{ "en": "He constructed a wonderful flat.", "lg": "Yazimbye kkalina ennungi ." }
3325
{ "en": "We do not have enough building material.", "lg": "Tetulina bizimbisibwa bimala ." }
3326
{ "en": "The builders have not yet been paid.", "lg": "Abazimbi tebannasasulwa." }
3327
{ "en": "Many trees have been cut down.", "lg": "Emiti mingi gitemeddwa." }
3328
{ "en": "He has the biggest house in the whole village.", "lg": "Alina ennyumba esinga obunene mu kyalo kyonna." }
3329
{ "en": "They cut down the trees.", "lg": "Batema emiti." }
3330
{ "en": "It is very expensive to build a nice house.", "lg": "Kya buseere nnyo okuzimba ennyumba ennungi ." }
3331
{ "en": "Farmers made great harvests this year.", "lg": "Abalimi baakungudde bulungi omwaka guno." }
3332
{ "en": "They are constructing a new school kitchen.", "lg": "Bazimba ekiyungu ky'essomero ekipya." }
3333
{ "en": "Your father's house looks so unique.", "lg": "Ennyumba ya taata wo ya njawulo nnyo ." }
3334
{ "en": "People no longer really build huts.", "lg": "Abantu mu butuufu tebakyazimba nsiisira." }
3335
{ "en": "Some people still live in huts.", "lg": "Abantu abamu bakyabeera mu nsiisira" }
3336
{ "en": "He built a big hotel.", "lg": "Yazimba wooteeri ennene." }
3337
{ "en": "The rent of these apartments is affordable.", "lg": "Ssente z'obupangisa eza kalina zino zisoboka." }
3338
{ "en": "Our house looks so ancient.", "lg": "Ennyumba yaffe erabikira nga nkadde nnyo." }
3339
{ "en": "The builders requested for more bricks.", "lg": "Abazimbi baasabye amataffaali amalala." }
3340
{ "en": "There is a shortage of sand so the kitchen construction must come to a standstill.", "lg": "Waliwo ebbula ly'omusenyu era okuzimba effumbiro kulina okuyimirira." }
3341
{ "en": "We are advised to plant more trees.", "lg": "Tukubirizibwa okusimba emiti emirala." }
3342
{ "en": "People have planted some good number of trees this week.", "lg": "Abantu basimbye emiti egiwera wiiki eno ." }
3343
{ "en": "The farmers irrigate their plants almost daily.", "lg": "Abalimi bafukirira ebimera byabwe kumpi buli lunaku ." }
3344
{ "en": "The plants are ready for harvest.", "lg": "Ebimera bituuse okukungulwa." }
3345
{ "en": "The minister condemed tree cutting.", "lg": "Minisita yavumiridde okutema emiti ." }
3346
{ "en": "We are no longer getting high profits.", "lg": "Tetukyafuna magoba mangi." }
3347
{ "en": "The demand for coffee has decreased.", "lg": "Obwetaavu bw'emwaanyi bukendedde." }
3348
{ "en": "Most market vendors did not work today.", "lg": "Abatembeeyi b'omu katale abasinga tebaakoze leero." }
3349
{ "en": "Most market vendors are women.", "lg": "Abatembeeyi b'omu katale abasinga bakazi ." }
3350
{ "en": "The vendors struck yesterday.", "lg": "Abatembeyi beekalakaasizza eggulo ." }
3351
{ "en": "The chairman called off the peaceful demonstration.", "lg": "Ssentebe yasazizzaamu okwekalakaasa okw'emirembe." }
3352
{ "en": "I was paid a lot of money.", "lg": "Nasasulwa ssente nnyingi ." }
3353
{ "en": "The vendors complained about the security of the market.", "lg": "Abatembeeyi beemulugunya ku byokwerinda by'akatale." }
3354
{ "en": "More security guards were deployed at the market.", "lg": "Abeebyokwerinda abalala baayiiriddwa ku katale" }
3355
{ "en": "I was not happy with my salary last month.", "lg": "Saali musanyufu n'omusaala gwange omwezi oguwedde." }
3356
{ "en": "My boss promised to increase my salary.", "lg": "Mukama wange yasuubiza okwongeza omusaala gwange ." }
3357
{ "en": "He was arrested for fighting his mother.", "lg": "Yakwatiddwa lwa kulwana ne maama we." }
3358
{ "en": "I worked for long hours yesterday.", "lg": "Nnakoledde ebbanga ppanvu eggulo." }
3359
{ "en": "People should respect their cultures.", "lg": "Abantu balina okussa ekitiibwa mu buwangwa bwabwe ." }
3360
{ "en": "The refugees said they had very many challenges.", "lg": "Abanoonyiboobubudamu baagambye baalina ebibasoomooza bingi nnyo." }
3361
{ "en": "We have had a longer rainy season this year.", "lg": "Tubadde n'enkuba nnyingi omwaka guno." }
3362
{ "en": "Leaders had a team building session today.", "lg": "Abakulembeze babadde n'olukiiko lw'okwongera ku bungi bw'abantu leero." }
3363
{ "en": "Most tribes in Uganda have kingdoms.", "lg": "Amawanga agasinga mu Uganda galina obwakabaka." }
3364
{ "en": "People should be educated about culture.", "lg": "Abantu balina okusomesebwa ku byobuwangwa ." }
3365
{ "en": "The government should plant more trees.", "lg": "Gavumenti erina okusimba emiti emirala." }
3366
{ "en": "The budget has not been changed for the last four years.", "lg": "Embalirira tekyusiddwa emyaka ena egiyise." }
3367
{ "en": "My grandmother uses firewood to cook.", "lg": "Jjajja wange akozesa nku okufumba." }
3368
{ "en": "The chairman advised us to read newspapers.", "lg": "Ssentebe yatukubirizza okusoma amawulire ." }
3369
{ "en": "The rate of deforestation is high.", "lg": "Emisinde okutemerwa ebibira giri waggulu ." }
3370
{ "en": "People should stop cutting down trees.", "lg": "Abantu balina okukomya okutema emiti." }
3371
{ "en": "People have started sowing their seeds.", "lg": "Abantu batandise okusiga ensigo zaabwe ." }
3372
{ "en": "Traditional leaders should also be respected.", "lg": "Abakulembeze b'ennono nabo balina okuweebwa ekitiibwa." }
3373
{ "en": "The veterans demanded for food relief.", "lg": "Abaazirwanako baasabye obuyambi bw'emmere ." }
3374
{ "en": "The veterans were given some little money.", "lg": "Abaazirwanako baweebwayo ssente etonotono." }
3375
{ "en": "All government workers have not been paid yet.", "lg": "Abakozi ba gavumenti bonna tebannasasulwa." }
3376
{ "en": "We have started up income generating projects.", "lg": "Tutandiseewo pulojekiti ezivaamu ssente ." }
3377
{ "en": "The savings group was started last year.", "lg": "Ekibiina ekitereka ssente kyatandikibwawo omwaka oguwedde ." }
3378
{ "en": "It is good to save money before one needs it.", "lg": "Kirungi okutereka ssente ng'omuntu tannazeetaaga." }
3379
{ "en": "The savings group welcomed the new members.", "lg": "Ekibiina ekitereka ssente kyayanirizza bammemba abaggya." }
3380
{ "en": "Everyone was requested to introduce themselves briefly.", "lg": "Buli omu yasabiddwa okweyanjula mu bufunze ." }
3381
{ "en": "She explained the terms and conditions of the savings group,", "lg": "Yannyonnyodde enkola n'obukwakkulizo bw'ekibiina ekitereka ssente." }
3382
{ "en": "The savings group has started up multiple businesses.", "lg": "Ekibiina ekitereka ssente kitandiseewo bizinensi ez'enjawulo." }
3383
{ "en": "Veterans also decided to form a savings group.", "lg": "Abaazirwanako nabo baasazeewo okukola ekibiina ekitereka ssente." }
3384
{ "en": "Different companies support refugees.", "lg": "Kkampuni ez'enjawulo ziyamba abanoonyiboobubudamu." }
3385
{ "en": "The kingdom has celebrated its golden jubilee.", "lg": "Obwakabaka bujaguzza jjubireewo zaabu yaabwo." }
3386
{ "en": "Many people gave the king gifts.", "lg": "Abantu bangi baawadde kabaka ebirabo." }
3387
{ "en": "The kingdom contributed towards the road construction.", "lg": "Obwakabaka budduukiridde okuzimba oluguudo." }
3388
{ "en": "We have been working together on the project.", "lg": "Tubadde tukola ffenna ku pulojekiti." }
3389
{ "en": "We have signed several agreements with different organizations.", "lg": "Tutadde emikono ku ndagaano ez'enjawulo n'ebitongole eby'enjawulo." }
3390
{ "en": "The king was very excited during the event.", "lg": "Kabaka yabadde mukyamufu nnyo ng'omukolo gugenda mu maaso ." }
3391
{ "en": "People should not be discriminated irrespective of their age.", "lg": "Abantu tebalina kusosolebwa ng'osinziira ku myaka gyabwe ." }
3392
{ "en": "Many people have died of malaria.", "lg": "Abantu bangi bafudde omusujja gw'ensiri." }
3393
{ "en": "There are several kingdoms in Uganda.", "lg": "Obwakabaka bungi mu Uganda." }
3394
{ "en": "Many ministers attended the celebrations.", "lg": "Baminisita bangi beetabye ku bikujjuko." }
3395
{ "en": "Every tribe has its own cultural beliefs.", "lg": "Buli ggwanga lirina enzikiriza zaalyo z'obuwangwa." }
3396
{ "en": "The minister was invited to lead the opening prayer.", "lg": "Minisita yayitiddwa okukulemberamu essaala eggulawo." }
3397
{ "en": "Many women are denied access to opportunities.", "lg": "Abakyala bangi abammibwa emikisa." }
3398
{ "en": "We should treat both men and women equally.", "lg": "Tulina okuyisa abaami n'abakyala kyenkanyi ." }
3399