translation
dict | id
stringlengths 1
4
|
---|---|
{
"en": "The health centres are inadequate.",
"lg": "Amalwariro tegamala."
} | 1500 |
{
"en": "There is a need to employ more doctors in the village health centre.",
"lg": "Waliwo obwetaavu bw'okuteeka abasawo mu malwaliro g'omu kyalo."
} | 1501 |
{
"en": "The hospital recruited more doctors.",
"lg": "Eddwaliro lyaleese abasawo abalala."
} | 1502 |
{
"en": "The doctors have no staff quarters.",
"lg": "Abasawo tebalina waakusula."
} | 1503 |
{
"en": "Patients were requested to buy food while in the hospital.",
"lg": "Abalwadde baasabiddwa okugula emmere nga bali mu ddwaliro."
} | 1504 |
{
"en": "All the hospital wards were full.",
"lg": "Ebisenge by'eddwaliro byonna byabadde bijjudde."
} | 1505 |
{
"en": "There were no more wards to admit patients to.",
"lg": "Tewaabadde bisenge birala kussaamu balwadde."
} | 1506 |
{
"en": "The officials read the bill yesterday.",
"lg": "Abakungu baasomye ebbago eggulo."
} | 1507 |
{
"en": "The security officials live in a damaged house.",
"lg": "Abakuuumaddembe babeera mu nnyumba eyonoonese"
} | 1508 |
{
"en": "We need more midwives in Uganda.",
"lg": "twetaaga abazaalisa abalala mu Uganda."
} | 1509 |
{
"en": "Bricks were purchased to construct a new clinic.",
"lg": "Bbulooka zaaguliddwa okuzimba akalwaliro akapya."
} | 1510 |
{
"en": "The bricks have not been paid for yet.",
"lg": "Bbulooka tezinnaba kusasulibwa."
} | 1511 |
{
"en": "The community should fundraise for hospital construction.",
"lg": "Ekitundu kiteekeddwa okusondera okuzimba kw'eddwaliro."
} | 1512 |
{
"en": "The damaged house was renovated.",
"lg": "Ennyumba eyayonooneka yadaabiriziddwa."
} | 1513 |
{
"en": "Water is a basic need for everyone.",
"lg": "Amazzi kyetaago mu bulamu obwa bulijjo eri buli omu."
} | 1514 |
{
"en": "Many people have no access to safe water.",
"lg": "Bantu bangi tebalina mazzi mayonjo."
} | 1515 |
{
"en": "People can fetch water from the wells.",
"lg": "Abantu basobola okima amazzi okuva ku nzizi."
} | 1516 |
{
"en": "Not all parts of Uganda receive a lot of rainfall.",
"lg": "Si buli bitundu bya Uganda byonna nti bifuna enkuba nnyingi."
} | 1517 |
{
"en": "well s are not perfectly gazetted.",
"lg": "Enzizi tezirambiddwa bulungi."
} | 1518 |
{
"en": "Water from the springs is very safe.",
"lg": "Amazzi g'emidumu malungi nnyo."
} | 1519 |
{
"en": "Water is used for domestic work.",
"lg": "Amazzi gakozesebwa mu mulimu gy'awaka."
} | 1520 |
{
"en": "Buying water is quite costly.",
"lg": "Okugula amazzi kya bbeeyi mu."
} | 1521 |
{
"en": "They fetch water from the borehole.",
"lg": "Bakima amazzi ku nnayikondo."
} | 1522 |
{
"en": "People were complaining about water shortage in that area.",
"lg": "Abantu baali beemulugunya ku lw'ebbula ly'amazzi mu kitundu ekyo."
} | 1523 |
{
"en": "Some people fall in rivers and die.",
"lg": "Abantu abamu bagwa mu migga ne bafa."
} | 1524 |
{
"en": "Her son drowned in a swimming pool.",
"lg": "Mutabani we yabbidde mu kidiba ekiwugirwamu."
} | 1525 |
{
"en": "There is a need to create more water sources.",
"lg": "Waliwo obwetaavu bw'okutondawo emikutu gy'amazzi emirala."
} | 1526 |
{
"en": "More well s are being constructed for ease of access to safe water.",
"lg": "Enzizi endala zizimbibwa okwanguyiza okufuna amazzi amalungi ."
} | 1527 |
{
"en": "We should boil water before drinking it.",
"lg": "Tuteekeddwa okufumba amazzi nga tegananywebwa."
} | 1528 |
{
"en": "We should wash our hands regularly.",
"lg": "Tulina okunaaba engalo zaffe buli kadde."
} | 1529 |
{
"en": "People complained about the high costs of water.",
"lg": "Abantu beemulugunyizza ku bisale by'amazzi ebya waggulu."
} | 1530 |
{
"en": "The water standard of cleanliness was still lacking.",
"lg": "Omutindo gw'obuyonjo bw'amazzi wali gukyabulamu."
} | 1531 |
{
"en": "People were sensitized about sanitation.",
"lg": "Abantu baabanguddwa ku buyonjo."
} | 1532 |
{
"en": "The are many water-borne diseases.",
"lg": "Waliwo endwadde eziva ku mazzi nnyingi."
} | 1533 |
{
"en": "Several families now have access to clean water.",
"lg": "Amaka mangi kati galina we gaggya amazzi amayonjo."
} | 1534 |
{
"en": "We are advised to boil water before drinking it.",
"lg": "Tukubirizibwa okufumba amazzi nga tegananywebwa."
} | 1535 |
{
"en": "They constructed a borehole for the village settlers.",
"lg": "Abatuuze b'oku kyalo baabazimbidde nnayikondo."
} | 1536 |
{
"en": "We should maintain water sanitation.",
"lg": "Tuteekeddwa okukuuma obuyonjo bw'amazzi."
} | 1537 |
{
"en": "Many Ugandans have no access to clean water.",
"lg": "Bannayuganda bangi tebalina mazzi mayonjo."
} | 1538 |
{
"en": "More people can now access clean water.",
"lg": "Abantu abalala kati basobola okufuna amazzi amayonjo."
} | 1539 |
{
"en": "All the candidates belonged to a political party.",
"lg": "Abeesimbyewo bonna balina ekibiina ky'ebyobufuzi."
} | 1540 |
{
"en": "He has posted about the situation.",
"lg": "Awandiise ku mbeera."
} | 1541 |
{
"en": "Many people are joining social media these days.",
"lg": "Abantu bangi beegatta ku mikutu emigattabantu nnaku zino."
} | 1542 |
{
"en": "All the presidential candidates picked nomination forms today.",
"lg": "Abeesimbyewo ku bwa pulezidenti bonna banonye empapula z'okwesimbawo leero."
} | 1543 |
{
"en": "We were advised to reference our work.",
"lg": "Tukubirizibwa okujuliza omulimu gwaffe."
} | 1544 |
{
"en": "The company called for job applications.",
"lg": "Kkampuni yayise abasaba omulimu."
} | 1545 |
{
"en": "The campaign season has started.",
"lg": "Sizoni y'okunoonya abululu kutandise."
} | 1546 |
{
"en": "The leaders attended a team-building workshop.",
"lg": "Abakulembeze beetabye mu musomo gw'okuzimba ekolagana."
} | 1547 |
{
"en": "The sub-county residents voted their leader.",
"lg": "Abatuuze b'omuluka baalonze omukulembeze waabwe."
} | 1548 |
{
"en": "They complained about corrupt leaders.",
"lg": "Beemulugunyizza ku bakulembeze abalya enguzi."
} | 1549 |
{
"en": "Leaders are accountable to their voters.",
"lg": "Abakulembezze bavunaanyizibwa ku balonzi baabwe."
} | 1550 |
{
"en": "There is a land wrangle in our village.",
"lg": "Waliwo enkaayana z'ettaka mu kyalo kyaffe."
} | 1551 |
{
"en": "There are family disputes everywhere.",
"lg": "Obutakkaanya mu maka buli buli wamu."
} | 1552 |
{
"en": "The news anchors arrived at the scene late.",
"lg": "Omusasi w'amawulire yatuuse kikeerezi ewaagudde obuzibu."
} | 1553 |
{
"en": "Religious leaders should be respected.",
"lg": "Abakulembeze b'enzikiriza balina okuweebwa ekitiibwa."
} | 1554 |
{
"en": "They organized a memorial service for the late priest.",
"lg": "Baategese okusaba kw'okujjukira omusumba eyafa."
} | 1555 |
{
"en": "A priest should guide and counser the community.",
"lg": "Omusumba alina okulambika n'okubudaabuda abantu."
} | 1556 |
{
"en": "That family owns a lot of property.",
"lg": "Amaka ago galina ebintu bingi nnyo."
} | 1557 |
{
"en": "They have started up a new orphanage.",
"lg": "Batandiseewo ekifo ewakuumirwa bamulekwa ekipya."
} | 1558 |
{
"en": "People should be sensitized about land ownership.",
"lg": "Abantu balina okusomesebwa ku bwannannyini ku ttaka."
} | 1559 |
{
"en": "They told us to register all our property.",
"lg": "Baatugambye okuwandiisa ebintu byaffe byonna."
} | 1560 |
{
"en": "People should avoid grabbing property that doe not belong to them.",
"lg": "Abantu balina okwewala okunyaga ebintu ebitali byabwe."
} | 1561 |
{
"en": "He was advised to go and repent.",
"lg": "Yaweereddwa amagezi okugenda yeenenye."
} | 1562 |
{
"en": "They were told to mind their business.",
"lg": "Baagambiddwa okufa ku bibakwatako."
} | 1563 |
{
"en": "They were arrested for theft.",
"lg": "Baakwatiddwa lwa bubbi."
} | 1564 |
{
"en": "I want to buy a car this year.",
"lg": "Njagala kugula emmotoka omwaka guno."
} | 1565 |
{
"en": "The community was sensitized about land ownership.",
"lg": "Abantu baasomeseddwa ku bwannannyini ku ttaka."
} | 1566 |
{
"en": "Everyone should register their land with the local council.",
"lg": "Buli omu alina okuwandiisa ettaka lye eri akakiiko k'ekyalo."
} | 1567 |
{
"en": "Many people are offering moral support to children.",
"lg": "Abantu bangi bayigiriza abaana empisa."
} | 1568 |
{
"en": "His son inherited all his property.",
"lg": "Mutabani we yasikidde ebintu bye byonna."
} | 1569 |
{
"en": "The judge asked for my opinion about the land.",
"lg": "Omulamuzi yasabye ondowooza yange ku ttaka."
} | 1570 |
{
"en": "His family warmly welcomed him back from abroad.",
"lg": "Famire ye yamwaniriza mu ssanyu okuva ebweru w'eggwanga."
} | 1571 |
{
"en": "He was happy to see his sister.",
"lg": "Yabadde musanyufu okulaba muganda we omuwala."
} | 1572 |
{
"en": "People walked long distances during the lockdown.",
"lg": "Abantu baatambula engendo empanvu mu biseera by'omuggalo."
} | 1573 |
{
"en": "People should avoid cutting down trees.",
"lg": "Abantu balina okwewala okutema emiti."
} | 1574 |
{
"en": "They advised me to use herbal medicine.",
"lg": "Bampadde amagezi okukozesa eddagala ly'obutonde."
} | 1575 |
{
"en": "Deforestation should be avoided.",
"lg": "Okutema ebibira kulina okwewalibwa."
} | 1576 |
{
"en": "Everyone should engage in planting trees.",
"lg": "Buli omu alina okwenyigira mu kusimba emiti."
} | 1577 |
{
"en": "The shoes were too big for her.",
"lg": "Engatto zaabadde nnene nnyo ku ye."
} | 1578 |
{
"en": "She hit her toe while walking to the garden.",
"lg": "Yeekoonye akagere ng'agenda mu nnimiro."
} | 1579 |
{
"en": "People were surprised about my good grades.",
"lg": "Abantu beewuunyizza obubonero bwange obulungi."
} | 1580 |
{
"en": "The chairman advised us to plant more trees.",
"lg": "Ssentebe yatukubirizza okusimba emiti emirala."
} | 1581 |
{
"en": "People sell tree seedlings.",
"lg": "Abantu batunda endokwa z'emiti."
} | 1582 |
{
"en": "Everyone was so tired when we arrived.",
"lg": "Buli omu yabadde akooye nnyo we twatuukidde."
} | 1583 |
{
"en": "It rained the whole day.",
"lg": "Yatonnye olunaku lwonna."
} | 1584 |
{
"en": "We suffered to find accommodation.",
"lg": "twatawaanye okufuna ew'okubeera."
} | 1585 |
{
"en": "There were very many people at the political rally.",
"lg": "Abantu baabadde bangi nnyo mu lukungaana lw'ebyobufuzi."
} | 1586 |
{
"en": "The president pledged to sponsor the planting of more trees.",
"lg": "Pulezidenti yeeyamye okuteka ssente mu kusimba emiti emirala."
} | 1587 |
{
"en": "The village chairman died last week.",
"lg": "Ssentebe w'ekyalo yafa wiiki ewedde."
} | 1588 |
{
"en": "He was shot dead.",
"lg": "Yakubiddwa amasasi n'afa."
} | 1589 |
{
"en": "No one knows why he was shot.",
"lg": "Tewali n'omu amanyi lwaki yakubiddwa amasasi."
} | 1590 |
{
"en": "Investigations about the cause of his death are being done.",
"lg": "Okunoonyereza ku kyamuviiriddeko okufa kukolebwa."
} | 1591 |
{
"en": "Many people have bank loans.",
"lg": "Abantu bangi balina looni za bbanka."
} | 1592 |
{
"en": "The chairman said they needed some financial support as a village.",
"lg": "Ssentebe yagambye baali beetaagayo obuyambi bwa ssente ng'ekyalo."
} | 1593 |
{
"en": "People have started up saving groups.",
"lg": "Abantu batandiseewo ebibiina by'okutereka ssente."
} | 1594 |
{
"en": "Many people joined our saving group last month.",
"lg": "Abantu bangi beegatta ku kibiina kyaffe ekitereka ssente omwezi oguwedde."
} | 1595 |
{
"en": "The saving group will be officially launched tomorrow.",
"lg": "Ekibiina ky'okutereka ssente kijja kutongozebwa mu butongole enkya."
} | 1596 |
{
"en": "The president attended the saving group launch.",
"lg": "Pulezidenti yabaddewo mu kutongoza ekibiina ky'okutereka ssente."
} | 1597 |
{
"en": "Many women are single mothers.",
"lg": "Abakyala bangi bannakyeyombekedde."
} | 1598 |
{
"en": "She was imprisoned for failing to pay the loan.",
"lg": "Yasibiddwa olw'okulemererwa kusasula looni."
} | 1599 |