translation
dict
id
stringlengths
1
4
{ "en": "People need to know more about the justice, law and order sector.", "lg": "Abantu beetaaga okumanya ebisingawo ku kitongole ekirwanirira amateeka n'obwenkanya." }
1300
{ "en": "Arua and Yumbe are in conflicts over Ewanga sub-county.", "lg": "Arua ne Yumbe bali mu bukuubagano ku ggombolola ya Ewanga." }
1301
{ "en": "These disputes will never end.", "lg": "Obutakkaanya buno tebulikoma." }
1302
{ "en": "The disagreement is politically centred.", "lg": "obutakkaanya businziira ku byabufuzi." }
1303
{ "en": "The sub-county suffered from poor service provision.", "lg": "Eggombolola ekosebwa enfuna y'obuweereza embi." }
1304
{ "en": "The speculation of oil in the sub-county has encouraged the dispute.", "lg": "Okuteeberezebwa kw'amafutta mu ggombolola kuviiriddeko obutakkaanya." }
1305
{ "en": "The leaders should have cooperated for the people to benefit.", "lg": "Abakulembeze bandikwataganye okusobola okuganyula abantu." }
1306
{ "en": "Police increased security after the attacks.", "lg": "Poliisi yayongezza obukuumi oluvannyuma lw'obulumbagano ." }
1307
{ "en": "The conflict has discouraged business activities.", "lg": "Akakuubagano kalemesezza emirimu gy'ebyenfuna." }
1308
{ "en": "The presence of oil has caused conflicts in some districts.", "lg": "Okubaayo kw'amafuta kuleeseewo obutakkaanya mu disitulikiti ezimu." }
1309
{ "en": "People are divided when it comes to oil related discussions.", "lg": "Abantu beeyawulamu bwe kituuka mukukubaganya ebirowoozo ku nsonga z'amafutta." }
1310
{ "en": "Kampala is well positioned.", "lg": "Kampala ali mu kifo ekirungi ." }
1311
{ "en": "The ministry of Local government should determine the boundaries of the sub-county.", "lg": "Minisutule ya gavumenti z'ebituundu eteekeddwa okusalawo ensalo z'amagombolola." }
1312
{ "en": "The chairman wants to be part of the district council.", "lg": "Ssentebe ayagala kubeera kituundu ku kakiiko ka disitulikiti." }
1313
{ "en": "The chairman was disappointed in the committee leaders.", "lg": "Ssentebe yayiibwayo mu kakiiko k'abakulembeze." }
1314
{ "en": "Leaders are fighting endlessly because of the discovered minerals.", "lg": "Abakulembezze balwana bwezizingirire olw'ebyobugagga by'omuttaka ebyazuulidwa." }
1315
{ "en": "They are confident about the court case.", "lg": "Bagumu n'omusaango oguli mu kkooti." }
1316
{ "en": "All minerals belong to Uganda.", "lg": "Ebyobugagga by'omu ttakka byonna bya Uganda." }
1317
{ "en": "The refugees are free to participate in business activities.", "lg": "Abonoonyibobudamu baddembe okwenyigira mu mirimu gy'ebyenfuna." }
1318
{ "en": "The local leaders are waiting for government feedback.", "lg": "Abakulembezze b'ebyalo balindirira kuddibwaamu kwa gavumenti." }
1319
{ "en": "The leaders discussed the origin of the rumours.", "lg": "Abakulembezze baakubaganyizza ebirowoozo ku nsibuko y'engambo." }
1320
{ "en": "Leaders argued about the new district which has been created.", "lg": "Abakulembezze baayogedde ku disitulikiti empya eyali etondeddwawo." }
1321
{ "en": "The petroleum authority confirmed the presence of oil in Uganda.", "lg": "Ekitongole ky'amafuta kyakakasizza okubaawo kw'amafuta mu Uganda." }
1322
{ "en": "The oil exploration company did not find any oil well s in the area.", "lg": "Ekitongole ekivumbuzi ky'amafutta tekyazudde nzizi z'amafuta zonna mu kituundu." }
1323
{ "en": "The presence of oil can only be determined by drilling oil wells.", "lg": "Okubaawo kw'amafuta kuyinza kukakasibwa na nzizi z'amafuta." }
1324
{ "en": "We need to survey in the coming week.", "lg": "Twetaaga okunoonyereza mu wiiki ejja." }
1325
{ "en": "When will they announce the next university intake?", "lg": "Banaalangirira ddi oluyingiza lwa ssettendekero oluddako?" }
1326
{ "en": "They don't have the specified license to do the job.", "lg": "Tebalina layisinsi ekkirizibwa okukola omulimu." }
1327
{ "en": "The discovery of oil in the area may arouse disputes and conflicts.", "lg": "Okuzuula kw'amafuta mu kituundu kuyinza okuvaako obusambattuko n'obukuubagano." }
1328
{ "en": "People are purchasing land around the area with the hope of receiving government compensation.", "lg": "Abantu bagula ettaka ekwetooloola ekitundu n'esuubi ly'okufuna okuliyirirwa okuva mu gavumenti." }
1329
{ "en": "People rejected the proposal to relocate Ewanga to Yumbe district.", "lg": "Bantu bagaanye ekiteeso ky'okukyusa Ewanga edde mu disitulikiti y'e Yumbe." }
1330
{ "en": "The conflict has created hatred between the people and their leaders.", "lg": "Akakuubagano kaleeseewo obukyayi wakati w'abantu n'abakulembeze baabwe." }
1331
{ "en": "The parliamentarian was kidnapped on her way to Ewanga to portray her views.", "lg": "Omukiise mu lukiiko lw'egwanga olukulu yawambiddwa ng'agenda Ewanga okuwaayo ebirowoozo bye." }
1332
{ "en": "Religious leaders have called out for peace and harmony.", "lg": "Abakulembeze b'enzikiriza baasabye eddembe n'obumu." }
1333
{ "en": "The leaders from different districts are greedy and selfish.", "lg": "Abakulembezze okuva ku disitulikiti ez'enjawulo baluvu era beeyagaliza bokka." }
1334
{ "en": "Golfers went out for a retreat in Rwenzori.", "lg": "Abazannyi ba ggoofu baagenze kwewummulirako mu Rwenzori." }
1335
{ "en": "Golfers are usually rich people.", "lg": "Abazannyi ba ggoofu batera kuba bantu bagagga." }
1336
{ "en": "The winners received gifts from the bank.", "lg": "Abawanguzi baafunye ebirabo okuva mu bbanka." }
1337
{ "en": "The categories were organised in age brackets.", "lg": "Emitendera gyategekeddwa okusinziira ku myaka." }
1338
{ "en": "Very few people know how to play golf in Uganda.", "lg": "Abantu batono nnyo mu Uganda abamanyi okuzannya ggoofu." }
1339
{ "en": "The new management mobilized golfers countrywide.", "lg": "Akakiiko akapya kaakunze abazannyi ba ggoofu mu ggwanga lyonna." }
1340
{ "en": "They have called out youths to join the sport.", "lg": "Bakunze abavubuka okwegatta ku muzannyo." }
1341
{ "en": "Golf has no age restrictions.", "lg": "Ggoofu taliiko bukwakkulizo ku myaka." }
1342
{ "en": "The government spokesperson has vowed to fight against the exploitation of workers.", "lg": "Omwogezi wa gavumenti yeeweze okulwanyisa okutyoboola eddembe ly'abakozi." }
1343
{ "en": "Media companies will be required to provide terms and conditions of their employees.", "lg": "kkampuni z'amawulire zijja kusabibwa okuteerawo abakozi baago enkola n'obukwakkulizo." }
1344
{ "en": "Penalties will be given to media organisations which do not meet the required standards.", "lg": "Engassi ejja kuweebwa ebitongole by'amawulire ebitaatuukirize mitendera gyeetaagisa." }
1345
{ "en": "The government should recognize the significance of journalists in the country.", "lg": "Gavumenti eteekeddwa okusiima omugaso gwa bannamawulire mu ggwanga." }
1346
{ "en": "The journalists receive little pay.", "lg": "Bannamawulire bafuna omusaala mutono." }
1347
{ "en": "Licenses for media companies which do not pay their employees should be revoked.", "lg": "Layisinsi za kkampuni z'amawulire ezitasasula bakozi baazo zirina okusazibwamu." }
1348
{ "en": "Security officers who mistreat journalists will be charged.", "lg": "Abakuumaddembe abatulugunya bannamawulire bajja kuvunaanibwa." }
1349
{ "en": "No one has the authority to beat up journalists.", "lg": "Tewali n'omu alina lukusa kukuba bannamawulire." }
1350
{ "en": "The media centre should consider the security of journalists.", "lg": "Essengejero ly'amawulire liteekedwa okufaayo ku bukuumi bwa bannamawulire ." }
1351
{ "en": "Some people frustrate the efforts of journalists despite their contribution to the country.", "lg": "Abantu abamu bayisaamu amaaso amaanyi ga bannamawulire wadde nga bakoledde eggwanga." }
1352
{ "en": "The Uganda media centre should ensure that the rights of journalists are protected.", "lg": "Essengero ly'amawulire lilina okulaba nga eddembe bya bannamawulire likuumibwa." }
1353
{ "en": "The district council has motivated its workers by rewarding them.", "lg": "Akakiiko ka disitulikiti kazzizzaamu abakozi amaanyi nga kabasiima." }
1354
{ "en": "The workers vowed to double their efforts in an attempt to improve service delivery.", "lg": "Abakozi baalayidde okukubisaamu amaanyi gaabwe mu kaweefube w'okugezaako okutumbula obuweereza." }
1355
{ "en": "The senior accounts assistant was greatly rewarded for his efficiency and effectiveness.", "lg": "Omumyuka w'omubalirizi yasiimiddwa nnyo olw'obwangu n'okukola obulungi emirimu." }
1356
{ "en": "The accounts assistant was astonished by the reward.", "lg": "Omumyuka w'omubalirizi w'ebitabo yaweereddwa ekirabo nga takisuubira." }
1357
{ "en": "The accounts office will do its best to pay the salaries on time.", "lg": "Woofiisi y'omubalirizi w'ebitabo ejja kukola ekisoboka okusasula emisaala mu budde." }
1358
{ "en": "The performance of the district depends on the performance of the finance department.", "lg": "Okukola kwa disitulukiti esinziira ku nkola y'ekitongole ky'ebyensimbi." }
1359
{ "en": "The reward boosted his confidence and commitment.", "lg": "Ekirabo kyayongezza obuvumu n'obumalirivu bwe." }
1360
{ "en": "A reward is a motivating factor.", "lg": "Ekirabo kye kintu ekizzaamu amaanyi." }
1361
{ "en": "He was rewarded for his commitment to tax collection.", "lg": "Yaweereddwa ekirabo olw'obumalirivu bwe mu kukungaanya omusolo." }
1362
{ "en": "He increased funding to the community leadership.", "lg": "Yayongezza obuyambi eri obakulembezze bw'ekitundu." }
1363
{ "en": "The leaders explained that the rewards would only be given to the top performers.", "lg": "Abakulembeze bannyonnyodde nti ebirabo byandiweereddwa abo abasinga okukola bokka." }
1364
{ "en": "People are rewarded according to performance in their various categories.", "lg": "Abantu baweebwa ebirabo okusinzira ku nkola mu matuluba gaabwe eg'enjawulo." }
1365
{ "en": "The beneficiaries are divided into groups.", "lg": "Abaganyuzi bagabanyizibwamu mu bibinja." }
1366
{ "en": "People in Arua grow a variety of crops.", "lg": "Abantu mu Arua balima ebimera eby'enjawulo." }
1367
{ "en": "This company will provide crops and market for the farmers produce.", "lg": "kkampuni ejja kuwa ebimera n'akatale eri amakungula g'abalimi." }
1368
{ "en": "The farmers need to plant other crops to ensure continuity in agricultural productivity.", "lg": "Abalimi beetaaga okusimba ebimera ebirala okulaba nga wabeerawo okugenda mu maaso mu makungula ." }
1369
{ "en": "People need to shift from tobacco growing to other crops to benefit more.", "lg": "Abantu beetaaga okukyusa okuva ku kulima taaba badde ku birime ebirala ebigasa ennyo." }
1370
{ "en": "The process will benefit farmers because food crops have got a ready market.", "lg": "Enkola ejja kuganyula abalimi kubanga emmere eriibwa awaka erina akatale." }
1371
{ "en": "The partnership involves ensuring commercial agriculture and agricultural mechanisation.", "lg": "Omukago guzingiramu okulima ebintu ebyensimbi n'okukozesa ebyuma mu kulima." }
1372
{ "en": "The partnership will emphasize agro-processing, market availability and export trade.", "lg": "Omukago gujja kussa essira ku kwongera omutindo ku byamaguzi, okunoonya akatale n'okutunda ebintu ebweru w'eggwanga." }
1373
{ "en": "More people will benefit from this partnership in the next thirty years.", "lg": "Abantu bangi bajja kuganyulwa mu mukago guno mu myaka asatu agaddako." }
1374
{ "en": "People are optimistic about the union.", "lg": "Abantu balowooreza bubi ekibiina." }
1375
{ "en": "The quality of agricultural products needs to improve.", "lg": "Omutindo gw'ebirime gweetaaga okwongeramu." }
1376
{ "en": "My business operates in many countries, including Uganda.", "lg": "Bizinensi yange okolera mu mawanga mangi omuli ne Uganda." }
1377
{ "en": "The farmers need machines and other equipment to boost agricultural productivity.", "lg": "Abalimi beetaaga ebyuma n'ebikozesebwa ebirala okwongera ku makungula." }
1378
{ "en": "The government aims at improving the lives of the people of West Nile.", "lg": "Gavumenti erubirira kutumbula bulamu bw'abantu mu West Nile." }
1379
{ "en": "The president advised people to divert from cash crops to food crops.", "lg": "Pulezidenti yawadde abantu amagezi okukyusa okuva mu kulima emmere y'okutunda badde mu kulima emmere y'okuliibwa ewaka." }
1380
{ "en": "People will not only rery on tobacco but also other crops.", "lg": "Abantu tebajja kwesigama ku taaba yekka wabula ne ku birime ebirala." }
1381
{ "en": "The union was established in nineteen sixty-nine.", "lg": "Obwegassi bwatandikibwawo mu lukumi mu lwenda nkaaga mu mwenda." }
1382
{ "en": "People want jobs that are associated with high income.", "lg": "Abantu baagala mirimu egirimu ennyingiza eya wagulu ." }
1383
{ "en": "Women should work with their husbands to secure a bright future.", "lg": "Abakyala bateekeddwa okukola ne ba bbaabwe okufuna ebiseere byo'mu maaso ebitangaavu." }
1384
{ "en": "The doctor wants to employ someone with financial management skills.", "lg": "Omusawo ayagala okukozesa omuntu ng'alina obukugu mu bya ssente." }
1385
{ "en": "People should change their mindset and be able to start up their own businesses.", "lg": "Abantu balina okukyusa endowooza zaabwe basobole okutandikawo bizinensi zaabwe." }
1386
{ "en": "People embrace white-collar jobs.", "lg": "Abantu baaniriza emirimu gy'omu woofiisi." }
1387
{ "en": "The doctor established a formidable business in Arua town.", "lg": "Omusawo yataddewo bizinensi enzibu y'okuvuganya mu kibuga kya Arua." }
1388
{ "en": "The business has a lot of customers.", "lg": "Bizinensi erina abaguzi bangi nnyo." }
1389
{ "en": "The doctor motivated young men, and he became their role moder.", "lg": "Omusawo yazzaamu abavubuka bato esuubi era n'afuuka eky'okulabirako gye bali." }
1390
{ "en": "He applied for jobs in different areas.", "lg": "Yasabye emirimu mu bitundu eby'enjawulo." }
1391
{ "en": "The doctor tests the quality of the meat.", "lg": "Omusawo akebera omutindo gw'ennyama." }
1392
{ "en": "The doctor works for the government and is an entrepreneur.", "lg": "Omusawo akolera gavumenti era munnabizinensi." }
1393
{ "en": "The doctor has sensitized people to become entrepreneurs because you become your own boss.", "lg": "Omusawo ayigiriza abantu okwetandikirawo bizinensi kubanga obeera weekozesa wekka." }
1394
{ "en": "The business helps the doctor to acquire more skills and knowledge.", "lg": "Bizinensi eyamba omusawo okufuna obukugu obulala n'amagezi." }
1395
{ "en": "The wife can train and equip children with knowledge and skills.", "lg": "Omukyala asobola okutendeka n'okuwa baana n'amagezi n'obukugu." }
1396
{ "en": "The zion outlet deals in a wide range of products.", "lg": "Ettabi lya Zion litunda ebintu eby'enjawulo." }
1397
{ "en": "The business has exposed the doctor and improved his living standards.", "lg": "Bizinensi eyigirizza omusawo ebintu eby'enjawulo n'okwongera ku mutindo gw'embeera ye ." }
1398
{ "en": "The doctor explains that he incurs a lot of costs in rent and purchasing items.", "lg": "Omusawo annyonnyola nti ateekamu ssente nnyingi mu kupangisa n'okugula ebintu." }
1399