translation
dict | id
stringlengths 1
4
|
---|---|
{
"en": "Various youth groups received funds in the form of loans under the youth program.",
"lg": "Ebibiina by'abavubuka eby'enjawulo byafuna ensimbi mu ngeri ya looni wansi wa pulogulaamu y'abavubuka."
}
|
100
|
{
"en": "The government has written off millions of money under the youth livelihood program loans.",
"lg": "Gavumenti esonyiye amabanja ga looni mangi agali mu pulogulaamu y'abavubuka eya youth liverihood program."
}
|
101
|
{
"en": "It is good to be consistent in your business.",
"lg": "Kirungi okubeera toddiriza mu bizinensi yo."
}
|
102
|
{
"en": "He educated the youth about better financial management skills.",
"lg": "Yasomesezza abavubuka ku bukodyo bw'okukwatamu obulungi ensimbi."
}
|
103
|
{
"en": "The program is aimed at increasing employment rate and to reduce poverty.",
"lg": "Enteekateeka egendereddwamu kwongera ku mirimu na kukendeeza bwavu."
}
|
104
|
{
"en": "My brother hid after receiving a one million Uganda shilling loan from the bank.",
"lg": "Muganda wange yekweka oluvannyuma lw'okufuna akakadde k'ensimbi ku banjja okuva mu bbanka."
}
|
105
|
{
"en": "Success comes with a lot of failures.",
"lg": "Obuwanguzi bujja n'okulemererwa kungi."
}
|
106
|
{
"en": "Is this a good business idea?",
"lg": "Kino ekirowoozo kya bizinesi kirungi?"
}
|
107
|
{
"en": "There is an increase in youth unemployment these days.",
"lg": "Waliwo okweyongera kw'ebbula ly'emirimu mu bavubuka ennaku zino."
}
|
108
|
{
"en": "The program target was for the poor and unemployed youth.",
"lg": "Ekiruubirirwa ky'enteekateeka kyali ky'abaavu n'abavubuka batalina mirimu."
}
|
109
|
{
"en": "There are various institutions working against corruption in Uganda.",
"lg": "Waliwo ebitongole eby'enjawulo ebikola okumalawo enguzi mu Uganda."
}
|
110
|
{
"en": "There is corruption and nepotism in many government departments.",
"lg": "Waliwo obuli bw'enguzi n'obulyake bingi mu bitongole bya gavumenti."
}
|
111
|
{
"en": "The swearing in ceremony will be held tomorrow in the morning at the district headquarters.",
"lg": "Omukolo gw'okulayira gwakukolebwa enkya kumakya ku kitebe kya disitulikiti."
}
|
112
|
{
"en": "The leader should lead out true equality between men and women.",
"lg": "Omukulembeze alina okulaga obwenkanya wakati w'abaami b'abakyala."
}
|
113
|
{
"en": "You can't lead without followers.",
"lg": "Tosobola ku kulembera nga tolina bagoberezi."
}
|
114
|
{
"en": "There will be a community meeting with the community leaders.",
"lg": "Wajja kubeerawo olukiiko lw'ekitundu n'abakulembeze b'ekitundu."
}
|
115
|
{
"en": "We elected our village leaders on Wednesday, with a lot of expectations.",
"lg": "Twalonze abakulembeze b'ekyalo kyaffe ku lwokusatu n'ebibasuubirwamu bingi."
}
|
116
|
{
"en": "Every visitor is to sign in and out of the building.",
"lg": "Buli mugenyi wa kuwandiika ng'ayingira n'okufuluma ekizimbe."
}
|
117
|
{
"en": "Each village is run by a local leader.",
"lg": "Buli kyalo kiddukanyizibwa omukulembeze."
}
|
118
|
{
"en": "The chairman local council five heads the meeting.",
"lg": "Ssentebe wa L.C eyookutaano y'akulembera olukiiko."
}
|
119
|
{
"en": "The police have tried new methods to stop crime rate.",
"lg": "Poliisi egezezzaako engeri empya ez'okuyimiriza obuzzi bw'emisango."
}
|
120
|
{
"en": "We received training from the experienced industry professionals.",
"lg": "Twafunye okutendekebwa okuva eri abakugu abamanyirivu ab'amakolero."
}
|
121
|
{
"en": "The meeting will be held next week on Friday at the town hall.",
"lg": "Olukiiko lujja kubeerayo wiiki ejja ku lwokutaano mu kisenge ky'ekibuga."
}
|
122
|
{
"en": "Driving is one of the most dangerous jobs in the oil field.",
"lg": "Okuvuga gw'egumu ku mirimu egy'obulabe mu kisaawe ky'amafuta."
}
|
123
|
{
"en": "They discovered oil and gas in the Northern part of the country.",
"lg": "Baazuula amafuta ne gaasi mu kitundu ky'obukiikakkono bw'eggwanga."
}
|
124
|
{
"en": "What is the state of oil and gas in Uganda?",
"lg": "Amafuta ne gaasi gali mu mbeera ki mu Uganda?"
}
|
125
|
{
"en": "Transparency is important to stop corruption in resource rich countries.",
"lg": "Obwerufu kikulu mu kukomya enguzi mu nsi engagga."
}
|
126
|
{
"en": "In Uganda, oil was discovered ten years ago.",
"lg": "Mu Uganda amafuta gaazulibwa emyaka kkumi egiyise."
}
|
127
|
{
"en": "Oil pollution harms animals and insects.",
"lg": "Okwonoona amafuta kyabulabe eri ebisolo n'ebiwuka."
}
|
128
|
{
"en": "The revenue will be collected, reported and accounted for.",
"lg": "Omusolo gujja kusoloozebwa, gulangirirwe ate gubalirirwe."
}
|
129
|
{
"en": "The local community in oil rich regions will benefit from oil and gas exploitation.",
"lg": "Ebyalo ebiri mu bitundu omuli amafuta bijja kuganyulwa okuva mu kusima amafuta ne gaasi."
}
|
130
|
{
"en": "The government will get a lot of income from the oil and gas industry.",
"lg": "Gavumenti ejja kufuna ssente nnyingi okuva mu kisaawe ky'amafuta ne gaasi."
}
|
131
|
{
"en": "The minister urged the locals to exploit opportunities in the oil and gas industry.",
"lg": "Minisita yakubirizza bannansi okukozesa emikisa gyonna mu kitongole ky'amafuta be ggaasi."
}
|
132
|
{
"en": "We are also affected by lack of power in our areas.",
"lg": "Naffe tukosebwa olw'obutaba n'amasannyalaze mu bitundu byaffe."
}
|
133
|
{
"en": "The power line extension to the Northern part of Uganda has begun.",
"lg": "Omulimu ogw'okwongeza layini y'amasannyalaze mu bukiikakkono bwa Uganda gutandise."
}
|
134
|
{
"en": "The locals had lost hope of getting electricity in their areas.",
"lg": "Abatuuze baali baggwamu essuubi ly'okufuna amasannyalaze mu bitundu byabwe."
}
|
135
|
{
"en": "Owners of the land where the power lines will pass were compensated.",
"lg": "Bannannyini ttaka waya z'amasannyalaze wezinaayita baaliyirirwa."
}
|
136
|
{
"en": "The people in the community are satisfied with the compensation they got.",
"lg": "Abatuuze mu kitundu bamativu n'okuliririrwa kwe baafunye."
}
|
137
|
{
"en": "He advised the locals to use the money for developing their livelihoods.",
"lg": "Yakubirizza abatuuze okukozesa ssente okwekulaakulanya mu maka gaabwe."
}
|
138
|
{
"en": "Some people received less money compared to the destruction they got.",
"lg": "Abantu abamu baafunye ssente ntono okusinziira ku kwonoonebwa kwe baafuna."
}
|
139
|
{
"en": "Most of the people in these areas are affected by poverty.",
"lg": "Abantu abasinga mu bitundu bino bakoseddwa obwavu."
}
|
140
|
{
"en": "The president directed the pastoralists to leave that region.",
"lg": "Pulezidenti yalagidde abalunzi okuva mu kitundu ekyo."
}
|
141
|
{
"en": "These pastoralists steal the residents' cattle.",
"lg": "Abalunzi bano babba ente z'abatuuze."
}
|
142
|
{
"en": "Some of the pastoralists don't have permits to move cattle.",
"lg": "Abamu ku balunzi tebalina ppamiti kutambuza nte."
}
|
143
|
{
"en": "The residents raised their complaints in the village meeting with their leaders.",
"lg": "Abatuuze baawaddeyo okwemulugunya kwaabwe mu lukiiko lw'ekyalo eri abakulembeze baabwe."
}
|
144
|
{
"en": "In some regions pastoralism is a common activity among the youth.",
"lg": "Mu bitundu ebimu, obulunzi bw'ente mulimu nnyo mu bavubuka."
}
|
145
|
{
"en": "The pastoralists who had been arrested bribed the police officers to release them.",
"lg": "Abalunzi abaabadde bakwatiddwa baawadde abakungu ba Poliisi enguzi okubayimbula."
}
|
146
|
{
"en": "Residents have a right to their land.",
"lg": "Abatuuze balina eddembe ku ttaka lyabwe."
}
|
147
|
{
"en": "Some leaders help the pastoralists in the illegal movement of cattle.",
"lg": "Abakulembeze abamu bayambako abalunzi mu kutambuza ente okumenya amateeka."
}
|
148
|
{
"en": "The committee imposed a ban on livestock movement in the night.",
"lg": "Akakiiko kaatadde envumbo ku kutambuza ebisolo ekiro."
}
|
149
|
{
"en": "There are different pastoral groups in Uganda.",
"lg": "Waliwo ebibinja by'abalunzi eby'enjawulo mu Uganda."
}
|
150
|
{
"en": "It is important to keep peace and security in the community.",
"lg": "Kirungi okukuuma emirembe n'obutebenkevu mu kitundu."
}
|
151
|
{
"en": "We need more support to fight environmental degradation.",
"lg": "twetaaga obuwagizi obulala okulwanyisa okwonoona obutonde."
}
|
152
|
{
"en": "Refugees are causing a wide environmental damage.",
"lg": "Abanoonyiboobubudamu bakosa nnyo obutonde bw'ensi."
}
|
153
|
{
"en": "Projects are helping with the planting of trees in the Northern part of Uganda.",
"lg": "Pulojekiti ziyamba mu kusimba emiti mu bukiikakkono bwa Uganda."
}
|
154
|
{
"en": "Refugees cut down trees for timber and charcoal trade.",
"lg": "Abanoonyiboobubudamu batema emiti okufunamu embaawo n'amanda eby'okutunda."
}
|
155
|
{
"en": "There is an increase in the cutting down of trees in Uganda.",
"lg": "Waliwo okweyongera mu kutema emiti mu Uganda."
}
|
156
|
{
"en": "Security forces in the district are fighting the cutting down of trees in those areas.",
"lg": "Ebitongole ebikuumaddembe mu disitulikiti birwanyisa okutema emiti mu bitundu ebyo."
}
|
157
|
{
"en": "The residents in the community also take part in the charcoal trade.",
"lg": "Abatuuze mu kitundu nabo beenyigira mu kutunda amanda."
}
|
158
|
{
"en": "The government has put up strict rules to prohibit cutting down of trees.",
"lg": "Gavumenti ettaddewo amateeka amakakali agakugira okutema emiti."
}
|
159
|
{
"en": "Local leaders have urged the community to conserve the environment.",
"lg": "Abakulembeze b'ebyalo bakubirizza abatuuze okukuuma obutonde."
}
|
160
|
{
"en": "We get fruits from some species of trees.",
"lg": "Tufuna ebibala okuva ku bika by'emiti ebimu."
}
|
161
|
{
"en": "There is an increase in the number of refugees coming into Uganda.",
"lg": "Waliwo okweyongera mu muwendo gw'abanoonyiboobubudamu abajja mu Uganda."
}
|
162
|
{
"en": "The government increased the funds allocated to the health sector.",
"lg": "Gavumenti yayongedde ku mutemwa oguweebwa ebyobulamu."
}
|
163
|
{
"en": "The president was the guest of honor at the opening of the midwifery school.",
"lg": "Pulezidenti ye yali omugenyi omukulu mu kuggulawo essomero ly'abazaalisa."
}
|
164
|
{
"en": "Students are advised to take on science subjects.",
"lg": "Abayizi baweebwa amagezi okutwala amasomo ga ssaayansi."
}
|
165
|
{
"en": "The woman leader established the midwifery school.",
"lg": "Omukulembeze w'abakyala yazimbye essomero ly'abazaalisa."
}
|
166
|
{
"en": "It is important for a doctor to develop a connection to his patients.",
"lg": "Kya mugaso omusawo okussaawo enkolagana n'abalwadde be."
}
|
167
|
{
"en": "The community is happy for completion of the midwifery school.",
"lg": "Ekitundu kisanyufu olw'okumalirizibwa kw'essomero ly'abazaalisa."
}
|
168
|
{
"en": "The government should reduce the number of members of parliament and increase their salaries.",
"lg": "Gavumenti esaanye ekendeeze ku muwendo gw'abakiise mu paalamenti eyongeze emisaala gyabwe."
}
|
169
|
{
"en": "The president refused the increase in salary of some government officials.",
"lg": "Pulezidenti yagaanye okwongezebwa kw'emisaala gy'abakozi ba gavumenti abamu."
}
|
170
|
{
"en": "I gave my learners an exam of Friday",
"lg": "Nnawa abayizi bange ekigezo ku lwokutaano."
}
|
171
|
{
"en": "Our country registered a decline in infant and maternal rates.",
"lg": "Eggwanga lyaffe lyafunye okukendeera mu baana abafa nga bato n'abakyala abafiira mu ssanya."
}
|
172
|
{
"en": "The government has given bursaries to the best performing students.",
"lg": "Gavumenti ewadde abaana abasinga okusoma obulungi okusomera obwereere."
}
|
173
|
{
"en": "The political party is focusing on improving employment opportunities among the youth.",
"lg": "Ekibiina ky'ebyobufuzi kiruubirira kutumbula mirimu mu bavubuka."
}
|
174
|
{
"en": "The village leader offered land for the construction of the school.",
"lg": "Omukulembeze w'ekyalo yawaddeyo ettaka kuzimbibweko essomero."
}
|
175
|
{
"en": "Construction of the bridge will ease the movement of goods in the district.",
"lg": "Okuzimba olutindo kwakugonza entambula y'ebyamaguzi mu disitulikiti."
}
|
176
|
{
"en": "The bridge will link people and trade activities from different areas.",
"lg": "Olutindo lujja kugatta abantu ku byobusuubuzi okuva mu bitundu ebirala."
}
|
177
|
{
"en": "The bridge will also help in the economic development of the area.",
"lg": "Olutindo lujja kuyamba mu kutumbula ebyenfuna by'ekitundu."
}
|
178
|
{
"en": "There will be improvement of trade in the neighboring countries.",
"lg": "Wajja kubeerawo okutumbula eby'ensuubulagana mu mawanga agaliraanye."
}
|
179
|
{
"en": "The district leaders had a meeting about the construction of infrastructures in the district.",
"lg": "Abakulembeze ba disitulikiti baabadde n'olukiiko ku kuzimba ebintu ebigasiza awamu abantu mu disitulikiti."
}
|
180
|
{
"en": "The government has approved the construction of the bridge.",
"lg": "Gavumenti eyisizza okuzimbibwa kw'olutindo."
}
|
181
|
{
"en": "It is very expensive to repair a broken down ferry.",
"lg": "Kya bbeeyi nnyo okuddaabiriza ekidyeri ekyonoonese."
}
|
182
|
{
"en": "The ferry has limited time of movement.",
"lg": "Ekidyeri kirina obudde butono obw'okutambula."
}
|
183
|
{
"en": "The bridge construction offered job opportunities for some people in the community.",
"lg": "Okuzimba olutindo kwawadde abantu abamu emirimu mu kitundu emirimu."
}
|
184
|
{
"en": "The leaders are yearning for the government to help in the construction of the bridge.",
"lg": "Abakulembeze bayaayaanira gavumenti okuyamba mu kuzimba kw'olutindo."
}
|
185
|
{
"en": "The leaders are making plans in finding ways to end poverty in all forms everywhere.",
"lg": "Abakulembeze batema mpenda okuzuula engeri zonna ez'okukomya obwavu buli mu ngeri zonna."
}
|
186
|
{
"en": "There are people who lost their lives due to wars and political conflict.",
"lg": "Waliwo abantu abaafiirwa obulamu bwabwe olw'entalo n'obukuubagano mu byobufuzi."
}
|
187
|
{
"en": "I thank you all for coming to celebrate God's grace that saved my life.",
"lg": "Mbeebaza mwenna olw'okujja okujaguza ekisa kya Katonda ekyataasizza obulamu bwange."
}
|
188
|
{
"en": "We have always lived in peace and harmony in our community.",
"lg": "Bulijjo tubaddenga mu ddembe n'obumu mu kitundu kyaffe."
}
|
189
|
{
"en": "Disputes should be settled peacefully among residents.",
"lg": "Obutakkaanya mu batuuze bulina okugonjoolwa mu mirembe."
}
|
190
|
{
"en": "She accused her neighbor of bewitching her.",
"lg": "Yavunaanye muliraanwa we okumuloga."
}
|
191
|
{
"en": "The opposition leader was manhandled during the arrest.",
"lg": "Omukulembeze w'oludda oluvuganya gavumenti yakwatiddwa mu ngeri embi."
}
|
192
|
{
"en": "Everyone thought he was dead.",
"lg": "Buli omu yalowooza nti afudde."
}
|
193
|
{
"en": "It is by God's grace that he is still alive.",
"lg": "Olw'ekisa kya Katonda akyali mulamu."
}
|
194
|
{
"en": "There is tight security at the country's border points.",
"lg": "Ebyokwerinda binywevu ku nsalo z'eggwanga."
}
|
195
|
{
"en": "Early marriages hinder the education of the girl child in the community.",
"lg": "Okufumbirwa amagu kizingamya okusoma kw'omwana omuwala mu kitundu."
}
|
196
|
{
"en": "There are cattle rustlers in the Northern part of Uganda.",
"lg": "Waliyo obabbi b'ente mu kitundu ky'obukiikakkono ga Uganda."
}
|
197
|
{
"en": "The President has fulfilled his pledge towards the construction of new markets in the country.",
"lg": "Pulezidenti atuukirizza obweyamo bwe obw'okuzimba obutale obupya mu ggwanga."
}
|
198
|
{
"en": "The two women leaders narrowly survived death.",
"lg": "Abakulembeze b'abakyala babiri baawonedde watono okufa."
}
|
199
|
Subsets and Splits
No community queries yet
The top public SQL queries from the community will appear here once available.