translation
dict | id
stringlengths 1
4
|
---|---|
{
"en": "Military police shoot people dead during the riot.",
"lg": "Ab'amagye bakuba abantu amasasi ne bafa mu kavuyo."
} | 2500 |
{
"en": "Who is a good Samaritan?",
"lg": "Ani musamaaliya omulungi?"
} | 2501 |
{
"en": "Wild animals are a source of tourist attraction.",
"lg": "Ebisolo byomunsiko nsibuko y'okusikiriza abalambuzi."
} | 2502 |
{
"en": "It is illegal for a civilian to have a gun.",
"lg": "Kya bumenyi bw'amateeka omuntu okuba n'emmundu."
} | 2503 |
{
"en": "Why are you panicking?",
"lg": "Lwaki okankana?"
} | 2504 |
{
"en": "People contributed foodstuff, money to the government during the coronavirus pandemic.",
"lg": "Abantu baawa gavumenti emmere, ensimbi enkalu mu kiseera ky'enjega y'akawuka ka kolona."
} | 2505 |
{
"en": "What is the highest rank in the police?",
"lg": "Kifo ki ekisinga obunene mu poliisi?"
} | 2506 |
{
"en": "What items are sold in the market?",
"lg": "Bintu ki ebitundiibwa mu katale?"
} | 2507 |
{
"en": "What factors influence trading between communities?",
"lg": "Nsonga ki eviirako abantu okutunda n'okweguza ebintu wakati w'ebitundu?"
} | 2508 |
{
"en": "The allegation against him was true.",
"lg": "Ebigambibwa ku ye bituufu."
} | 2509 |
{
"en": "What is the minimum punishment for the smuggling of goods?",
"lg": "Kibonerezo ki ekisinga okuba ekitono ku kukusa ebyamaguzi?"
} | 2510 |
{
"en": "Some businessmen avoid paying taxes.",
"lg": "Abasuubuzi abamu beewala okusasula emisolo."
} | 2511 |
{
"en": "If the civilian is found with firearms, he is charged in the military court.",
"lg": "Ssinga omuntu owa bulijjo asangibwa n'ekyokulwanyisa, avunaanibwa mu kkooti y'amagye."
} | 2512 |
{
"en": "Kasenyi is the biggest landing site in Uganda.",
"lg": "Kasenyi ky'ekizinga ekikyasinze obunene mu Uganda."
} | 2513 |
{
"en": "Anyone arrested by the police must be presented to the courts within forty-eight hours.",
"lg": "Omuntu yenna akwatiddwa poliisi alina okwanjulibwa mu kkooti mu ssaawa ana mu munaana."
} | 2514 |
{
"en": "What should you do if you are arrested?",
"lg": "Olina kukola ki ng'okwatiddwa?"
} | 2515 |
{
"en": "I am reading a book about interrogations.",
"lg": "Nsoma kitabo ku mbuuza y'ebibuuzo."
} | 2516 |
{
"en": "Soldiers are given some time to visit their families.",
"lg": "Abajaasi baweebwayo akadde ne balambula ab'enganda zaabwe."
} | 2517 |
{
"en": "Soldiers desert the army for many reasons.",
"lg": "Abaserikale bava mu magye lwa nsonga nnyingi."
} | 2518 |
{
"en": "The suspect was found dead.",
"lg": "Eyabadde ateeberezebwa yasangiddwa nga mufu."
} | 2519 |
{
"en": "Security forces have firearms.",
"lg": "abakuumaddembe balina ebyokulwanisa."
} | 2520 |
{
"en": "The police headquarters are located in Naguru.",
"lg": "Ebitebe bya poliisi bisangibwa Naguru."
} | 2521 |
{
"en": "Many government officials have been shot dead in broad daylight.",
"lg": "Abakungu ba gavumenti bakubiddwa amasasi misana ttukuttuku ne bafa."
} | 2522 |
{
"en": "I have reached my business monthly target.",
"lg": "Ntuuse ku kiruubirirwa eky'omwezi eky'omulimu gwange."
} | 2523 |
{
"en": "A border checkpoint is a place, generally between two countries, where traverers or goods are inspected.",
"lg": "Checkpoint kye kifo ku nsalo amawanga abiri abatambuze n'ebyamaguzi we bikeberebwa."
} | 2524 |
{
"en": "How to become an adult literacy teacher?",
"lg": "Ofuuka otya omusomesa w'okusoma n'okuwandiika mu bantu abakulu?"
} | 2525 |
{
"en": "I am studying information technology at the university.",
"lg": "Nsoma tekinologiya w'ebyempuliziganya ku ssettendekero."
} | 2526 |
{
"en": "The training equipped people with knowledge and skills to thrive in life.",
"lg": "Okutendekebwa kwawadde abantu amagezi n'obukugu okutambuza obulamu."
} | 2527 |
{
"en": "Are you a full-time or part-time volunteer?",
"lg": "Oli muyambi wa kiseera kyonna oba lumu na lumu?"
} | 2528 |
{
"en": "Strategies for managing poor performance at work.",
"lg": "Emitendera egiyamba okumalawo enkola embi ku mulimu."
} | 2529 |
{
"en": "Teachers want a pay raise.",
"lg": "Abasomesa baagala emisaala girinnye."
} | 2530 |
{
"en": "Parents should plan for their children.",
"lg": "Abazadde balina okuteekerateekera abaana baabwe."
} | 2531 |
{
"en": "I need volunteers on my team.",
"lg": "Neetaaga abayambi ku tiimu yange."
} | 2532 |
{
"en": "With the new curriculum, students can internet for learning.",
"lg": "Ku ndagamasomo empya, abayizi basobola okweyambisa omutimbagano okusoma."
} | 2533 |
{
"en": "How do water plants work?",
"lg": "Ebimera by'omu mazzi bikola bitya?"
} | 2534 |
{
"en": "How do I submit a petition?",
"lg": "Mpaayo ntya okwemulugunya kwange?"
} | 2535 |
{
"en": "I am collecting signatures for the petition.",
"lg": "Nkungaanya mikono gigenda ku bbago ly'okwemulugunya."
} | 2536 |
{
"en": "What are your plans for tomorrow?",
"lg": "Enkya olina nteekateeka ki?"
} | 2537 |
{
"en": "We need more for the project.",
"lg": "Twetaaga ebirala ku pulojekiti."
} | 2538 |
{
"en": "What treatment is given to the coronavirus patients.",
"lg": "Bujjanjabi ki obuweebwa abalwadde b'akawuka ka kolona?"
} | 2539 |
{
"en": "I work at Red cross Uganda.",
"lg": "Nkolera mu kitongole kya Red cross Uganda."
} | 2540 |
{
"en": "As a doctor, I have the obligation to save people's lives.",
"lg": "Ng'omusawo, kinkakatako okutaasa obulamu bw'abantu."
} | 2541 |
{
"en": "We fetch water from the well .",
"lg": "Tukima amazzi okuva ku luzzi."
} | 2542 |
{
"en": "Christians celebrate Christmas in December.",
"lg": "Abakrisito bajaguza amazaalibwa ga Yesu mu Ntenvu."
} | 2543 |
{
"en": "The Bishop is dedicated to preaching the gospel of Jesus Christ.",
"lg": "Omwepiskoopi yeewaayo okubuulira enjiri ya Yesu Krisitu."
} | 2544 |
{
"en": "Who were the first missionaries in Uganda?",
"lg": "Baminsani ki abasooka mu Uganda?"
} | 2545 |
{
"en": "When is your wedding anniversary?",
"lg": "Muweza ddi omwaka mu bufumbo?"
} | 2546 |
{
"en": "As Christians, we believe in one God.",
"lg": "Ffe nga Abakrisito, tukkiririza mu Katonda omu."
} | 2547 |
{
"en": "Am waiting for blood culture test results from the laboratory.",
"lg": "Nindirira bivudde mu musaayi okuva mu kisenge mwe kabakerera omusaayi."
} | 2548 |
{
"en": "Where did you complete your primary education from.",
"lg": "Wamalira wa okusoma kwo okw'ekibiina eky'omusanvu?"
} | 2549 |
{
"en": "Why do Catholics confess their sins to the priest?",
"lg": "Lwaki abakatoliki beenenyeza Kabona ebibi byabwe?"
} | 2550 |
{
"en": "The engineer advised me to put hardcore stones in the foundation of my house.",
"lg": "Yinginiya yampadde amagezi okuteeka amayinja amagumu ku musingi gw'ennyumba yange."
} | 2551 |
{
"en": "The training center equips youth with vocational skills.",
"lg": "Ekifo we batendekera kiwadde abavubuka obukugu mu by'emikono."
} | 2552 |
{
"en": "Describe the nature of your work.",
"lg": "Nnyonyola ekikula ky'omulimu gwo."
} | 2553 |
{
"en": "I have a touch screen laptop.",
"lg": "Nnina laputopu ya kunyigira ku ndabirwamu."
} | 2554 |
{
"en": "There are different cultures in Uganda.",
"lg": "Tulina amawanga ag'enjawulo mu Uganda."
} | 2555 |
{
"en": "What are the effects of drug abuse?",
"lg": "Buzibu ki obuva mu ku kozesa ebiragalalagala?"
} | 2556 |
{
"en": "He died of a stroke in the hospital.",
"lg": "Yafa bulwadde bwa kusannyalala mu ddwaliro."
} | 2557 |
{
"en": "The police said that civilians have no right to block the road.",
"lg": "Poliisi yagambye nti abantu abaabulijjo tebalina lukusa kuziba luguudo."
} | 2558 |
{
"en": "Why are you ignorant?",
"lg": "Lwaki tokirinaako kumanya?"
} | 2559 |
{
"en": "There is an increase in the refugee population in Uganda.",
"lg": "Waliyo okweyongera kw'omuwendo gw'Abanoonyiboobubudamu mu Uganda."
} | 2560 |
{
"en": "What are water-borne diseases?",
"lg": "Ndwadde ki ezikwatira mu mazzi?"
} | 2561 |
{
"en": "It is very expensive to maintain the ferry.",
"lg": "Kya buwanana okuyimirizaawo ekidyeri."
} | 2562 |
{
"en": "Who is responsible for maintaining roads?",
"lg": "Ani avunaanyizibwa ku kulabirira enguudo?"
} | 2563 |
{
"en": "I am engaged to my boyfriend.",
"lg": "Ngenda kufumbirwa mukwano gwange omulenzi."
} | 2564 |
{
"en": "How did you survive the accident?",
"lg": "Wawona otya akabenje?"
} | 2565 |
{
"en": "Poor hygiene leads to diseases and infections.",
"lg": "Obuteeyonja kireeta endwadde."
} | 2566 |
{
"en": "How to harvest rainwater.",
"lg": "Engeri gy'oyinza okulembeka amazzi g'enkuba."
} | 2567 |
{
"en": "Do you have access to organizations files?",
"lg": "Osobola okutuuka ku fayiro z'ekitongole?"
} | 2568 |
{
"en": "Who are the beneficiaries of operation wealth creation?",
"lg": "Baani abaganyulwa mu bonna bagaggawale?"
} | 2569 |
{
"en": "When are schools reopening?",
"lg": "Amasomero gaddamu ddi okuggulawo?"
} | 2570 |
{
"en": "Every child has the right to education.",
"lg": "Buli mwana alina eddembe okusoma."
} | 2571 |
{
"en": "What roles do parents play in their children's lives?",
"lg": "Mugaso ki abazadde gwe bakola mu bulamu bw'abaana baabwe?"
} | 2572 |
{
"en": "Private schools have different school fees structure.",
"lg": "Amasomero g'obwannannyini galina ebisale by'essomero bya njawulo."
} | 2573 |
{
"en": "Wish you success in your exams.",
"lg": "Nkwagaliza buwanguzi mu bibuuzo byo."
} | 2574 |
{
"en": "People fought for food while at the burial ceremony.",
"lg": "Abantu baalwanidde emmere nga bali ku mukolo gw'okuziika."
} | 2575 |
{
"en": "Our school doesn't have enough equipment in the chemistry laboratory.",
"lg": "Essomero lyaffe teririna bikozesebwa bimala mu laabu ya kemisitule."
} | 2576 |
{
"en": "Uganda's motto is For God and my country.",
"lg": "Engombo ya Uganda eri ku lwa Katonda n'ensi yange."
} | 2577 |
{
"en": "Students should be suspended for indiscipline actions.",
"lg": "Abayizi balina okuwummuzibwa olw'enneeyisa yabwe embi."
} | 2578 |
{
"en": "Our school is celebrating its fiftieth anniversary.",
"lg": "Essomero lyaffe lijaguza okuweza emyaka etaano."
} | 2579 |
{
"en": "How poverty has affects our economy?",
"lg": "Owavu bukosezza butya enfuna yaffe?"
} | 2580 |
{
"en": "Many people in rural areas are poor.",
"lg": "Abantu bangi mu byalo baavu."
} | 2581 |
{
"en": "What is the importance of a political campaign?",
"lg": "Kakuyege w'ebyobufuzi alina mugaso ki?"
} | 2582 |
{
"en": "What time are you going to town?",
"lg": "Ogenda budde ki mu kibuga?"
} | 2583 |
{
"en": "We have a fundraising campaign.",
"lg": "Tulina kakuyege w'okunoonya obuyambi."
} | 2584 |
{
"en": "The rotary team has organized an awareness program on breast cancer to educate the community on how to best prevent it.",
"lg": "Tiimu ya lotale etegese pulogulaamu y'omusomo ku kkookolo w'amabeere n'okusomesa abantu engeri y'okumwewalamu."
} | 2585 |
{
"en": "development is good for the community.",
"lg": "Enkulaakulana nnungi ku kitundu."
} | 2586 |
{
"en": "The reber group in Northern Uganda were a threat to the people in Northern Uganda.",
"lg": "Akabinja k'abayeekera mu bukiikakkono bwa Uganda kateeka abantu ku bunkenke mu bukiikakkono bwa Uganda."
} | 2587 |
{
"en": "What are the government revenue sources?",
"lg": "Gavumenti ejjawa wa omusolo?"
} | 2588 |
{
"en": "What items should be included in the wedding budget?",
"lg": "Bintu ki ebirina okubeera mu mbalirira y'embaga?"
} | 2589 |
{
"en": "How do we solve misunderstandings in marriages?",
"lg": "Tugonjoola tutya obutakkaanya mu bufumbo?"
} | 2590 |
{
"en": "Which problems are you facing in your family?",
"lg": "Bizibu ki by'osanga mu makaago?"
} | 2591 |
{
"en": "New districts provide opportunities to the surrounding people.",
"lg": "Disitulikiti empya ziwa omukisa eri abantu abazeetoolodde."
} | 2592 |
{
"en": "What are some of the issues affecting the people who reside in your community?",
"lg": "Nsonga ki ezimu ku ezo eziruma abantu ababeera mu kitundu kyo?"
} | 2593 |
{
"en": "You need to invest in treasury bills and bonds.",
"lg": "Weetaaga okusiga ensimbi mu migabo egy'ebbanga ettono n'eddene."
} | 2594 |
{
"en": "Some refugees don't know the local languages spoken in Uganda.",
"lg": "Abanoonyiboobubudamu abamu tebamanyi nnimi nnansi zoogerebwa mu Uganda."
} | 2595 |
{
"en": "I am starting a pig farm in my village.",
"lg": "Ntandika okulunda embizzi mu kyalo kyange."
} | 2596 |
{
"en": "Explain the causes of climate change in Uganda.",
"lg": "Nnyonnyola ebireetera embeera y'obudde okukyuka mu Uganda."
} | 2597 |
{
"en": "I am rerocating my business to another town.",
"lg": "Ndi mu kukyusa kifo kya mulimu gwange okudda mu kibuga ekirala."
} | 2598 |
{
"en": "The refugees requested for better settlement.",
"lg": "Abanoonyiboobubudamu baasabye ekifo ekirungi aw'okubeera."
} | 2599 |