translation
dict | id
stringlengths 1
4
|
---|---|
{
"en": "What should be done to eliminate wrong erements in communities?",
"lg": "Ki ekirina okukolebwa okumalawo ebikolwa ebikyamu mu kitundu?"
} | 2800 |
{
"en": "Sick people are encouraged to visit health centers.",
"lg": "Abantu abalwadde bakubirizibwa okugenda mu malwaliro."
} | 2801 |
{
"en": "Pretending to be what your not is not good.",
"lg": "Okwefuula kyotoli si kirungi."
} | 2802 |
{
"en": "How do you intend to spend your first salary?",
"lg": "Osuubira kusaasaanya otya omusaala gwo ogusooka?"
} | 2803 |
{
"en": "What are some of the existing economic opportunities?",
"lg": "Mikisa gya nfuna ki egiriwo?"
} | 2804 |
{
"en": "Most projects are aimed at meeting the needs of the public.",
"lg": "Pulojekiti ezisinga zigendereddwamu kutuukiriza byetaago by'abantu."
} | 2805 |
{
"en": "He spent half of the budget on his personal interests.",
"lg": "Yasaasaanyizza ekitundu ky'embalirira ku byetaago bye nga omuntu."
} | 2806 |
{
"en": "How can we fight against corruption?",
"lg": "Tuyinza kulwanyisa tutya enguzi?"
} | 2807 |
{
"en": "Quality work is impressive.",
"lg": "Omulimu omulungi gusikiriza."
} | 2808 |
{
"en": "Leaders need to work together for the good of their subordinates.",
"lg": "Abakulembeze beetaaga okukolera awamu ku lw'obulungi bwa be bakulembera."
} | 2809 |
{
"en": "Some schools provide accommodation to their staff.",
"lg": "Amasomero agamu gawa abakozi baago aw'okusula."
} | 2810 |
{
"en": "In places with no electricity supply, the rich villagers rery on solar power.",
"lg": "Mu bifo awatali masannyalaze, bannakyalo abagagga beesigamu ku masannyalaze ga maanyi ga njuba."
} | 2811 |
{
"en": "In the classroom we find desks and chairs.",
"lg": "Mu kibiina tusangayo entebe n'emmeeza."
} | 2812 |
{
"en": "Refugees usually get foreign aid.",
"lg": "Abanoonyiboobubudamu batera okufuna obuyambi okuva ebweru w'eggwanga."
} | 2813 |
{
"en": "He borrowed money from a colleague in order to start up his business.",
"lg": "Yeewola ssente ku munne asobole okutandikawo bizinensi ye."
} | 2814 |
{
"en": "In which year did Uganda obtain her independence?",
"lg": "Mu mwaka ki Uganda mwe yafunira ameefuga?"
} | 2815 |
{
"en": "Uganda hosts refugees from neighboring countries.",
"lg": "Uganda ebudamya abanoonyiboobubudamu okuva mu mawanga agagiriraanye."
} | 2816 |
{
"en": "Refugee activities are financially supported.",
"lg": "Emirimu gy'abanoonyiboobubudamu giteekebwamu ensimbi."
} | 2817 |
{
"en": "Hospitable communities usually promote unity.",
"lg": "Ebitundu ebyaniriza abantu bitera okutumbula obumu."
} | 2818 |
{
"en": "Pupils sit and study from classrooms while at school.",
"lg": "Abayizi batuula ne basomera mu bibiina nga bali ku ssomero."
} | 2819 |
{
"en": "Projects require funding for implementation.",
"lg": "Pulojekiti zeetaaga okuvujjirirwa okuteekebwa mu nkola."
} | 2820 |
{
"en": "Health sector projects should be given priority.",
"lg": "Pulojekiti ez'obujjanjabi zeetaaga okuteekebwa ku mwanjo."
} | 2821 |
{
"en": "It is good to fully utilize all the resources at your disposal.",
"lg": "Kirungi okukozesa ebintu byonna by'olina."
} | 2822 |
{
"en": "Recently the number of girls in schools has increased.",
"lg": "Gye buvuddeko omuwendo gw'abawala mu ssomero gweyongedde."
} | 2823 |
{
"en": "The more infected people are, the higher the demand for health services.",
"lg": "Abantu gye bakoma okukosebwa, gye bakoma okwetaaga y'obujjanjabi."
} | 2824 |
{
"en": "Learners seat on desks during the learning process in school.",
"lg": "Abayizi batuula ku ntebe nga basoma ku ssomero."
} | 2825 |
{
"en": "Some projects are long term.",
"lg": "Pulojekiti ezimu ziba za bbanga ddene."
} | 2826 |
{
"en": "It is a beautiful thing to help others.",
"lg": "Kintu kirungi okuyamba abalala."
} | 2827 |
{
"en": "Your attitude towards something matters.",
"lg": "Endowooza yo eri ekintu kikulu."
} | 2828 |
{
"en": "Teachers share knowledge of what they have learnt.",
"lg": "Abasomesa bagabana amagezi ku kye bayize."
} | 2829 |
{
"en": "Aim to have a positive attitude towards life.",
"lg": "Luubirira okufuna ekirungi mu bulamu."
} | 2830 |
{
"en": "There are very many boda boda cyclists in Uganda.",
"lg": "Abavuzi ba ppikippiki bangi mu Uganda."
} | 2831 |
{
"en": "Having been drunk while driving, he knocked down a pedestrian.",
"lg": "Oluvannyuma lw'okuvuga ng'atamidde, yatomedde atambuza ebigere."
} | 2832 |
{
"en": "Some patients die even after medical treatments.",
"lg": "Abalwadde abamu bafa ne bwe baba nga bajjanjabiddwa."
} | 2833 |
{
"en": "Murder cases must be investigated.",
"lg": "Emisango gy'obutemu girina okunoonyerezebwako."
} | 2834 |
{
"en": "Some people lose their lives as a result of mob justice.",
"lg": "Abantu abamu bafiirwa obulamu bwabwe oluvannyuma lw'okutwalira amateeka mu ngalo."
} | 2835 |
{
"en": "Murderers should be arrested.",
"lg": "Abatemu balina okukwatibwa."
} | 2836 |
{
"en": "Failure to follow traffic regulations could lead to accidents on the road.",
"lg": "Okulemererwa okugoberera amateeka g'oku nguudo kiyinza okuviirako obubenje ku luguudo."
} | 2837 |
{
"en": "Police helps prevent crime in society.",
"lg": "Poliisi eyamba okutangira obuzzi bw'emisango mu kitundu."
} | 2838 |
{
"en": "Motorcycle riders need to be careful on the road.",
"lg": "Abavuzi ba ppikipiki balina okubeera abeegendereza ku luguudo."
} | 2839 |
{
"en": "It is good to reconcile with those that we have wronged.",
"lg": "Kirungi okutabagana n'abo be tuba tusobezza."
} | 2840 |
{
"en": "How can we stop blood shade among people?",
"lg": "Tuyinza tutya okukomya ekiyiwamusaayi mu bantu?"
} | 2841 |
{
"en": "Why would one kill another?",
"lg": "Lwaki omuntu yandisse munne?"
} | 2842 |
{
"en": "The deceased was in primary seven.",
"lg": "Omugenzi abadde mu kibiina kyamusanvu."
} | 2843 |
{
"en": "What role is played by the town councils?",
"lg": "Obukiiko bw'ebibuga bukola mulimu ki?"
} | 2844 |
{
"en": "Government in most cases funds its activities.",
"lg": "Emirungi egisinga gavumenti evujjirira emirimu gyayo."
} | 2845 |
{
"en": "Taxes are usually increased each financial year.",
"lg": "Emisolo gitera okwongezebwa buli mwaka gw'ebyensimbi."
} | 2846 |
{
"en": "What happens during the hand over?",
"lg": "Ki ekibeerawo mu kuwaayo obuyinza?"
} | 2847 |
{
"en": "I do not want to deal with people with a negative attitude.",
"lg": "Ssaagala kukolagana na bantu balina ndowooza nkyamu."
} | 2848 |
{
"en": "What is the role of the office of prime minister in Uganda?",
"lg": "Woofiisi ya Ssaabaminisita erina mulimu ki mu Uganda?"
} | 2849 |
{
"en": "Who is in charge of giving accountability?",
"lg": "Ani avunaanyizibwa ku kuwa embalirira?"
} | 2850 |
{
"en": "In order to start up a business, you need capital.",
"lg": "Okusobola okutandika bizinensi weetaaga entandikwa."
} | 2851 |
{
"en": "As others retire, new ones shall be recruited.",
"lg": "Nga abalala bwe bawummula, abapya bajja kuyingizibwa."
} | 2852 |
{
"en": "Through the handover people transfer power and authority.",
"lg": "Mu kuwaayo obuyinza abantu bawaanyisiganya amaanyi n'obuyinza."
} | 2853 |
{
"en": "Administrative structures need to be clear.",
"lg": "Ennambika y'obukulembeze erina okubeera ennambulukufu."
} | 2854 |
{
"en": "What causes confusion among staff?",
"lg": "Ki ekireetawo okutabulwatabulwa mu bakozi?"
} | 2855 |
{
"en": "Working together is for the benefit of everyone.",
"lg": "Okukolera awamu kya kuganyula buli omu."
} | 2856 |
{
"en": "We must draw a budget for the upcoming events.",
"lg": "Tulina okukola embalirira y'emikolo ogujja."
} | 2857 |
{
"en": "Some cases should be followed up.",
"lg": "Emisango egimu girina okugobererwa."
} | 2858 |
{
"en": "Who won the local council one elections?",
"lg": "Ani eyawangudde okulonda kwa lokokanso esooka?"
} | 2859 |
{
"en": "What is your home village?",
"lg": "Ova ku kyalo ki?"
} | 2860 |
{
"en": "There guiderines to follow during elections.",
"lg": "Waliwo ebigobererwa eby'okugoberera mu kulonda."
} | 2861 |
{
"en": "What is the use of a voter's register if am a citizen?",
"lg": "Olukalala lw'abalonzi lwa mugaso ki bwe mba nga ndi munnansi?"
} | 2862 |
{
"en": "The final decision was passed and we cannot go back on it.",
"lg": "Okusalawo okusembayo kukoleddwa era tetusobola kukiddako."
} | 2863 |
{
"en": "He sued his opponent in court over cheating the elections.",
"lg": "Yawaabye gw'avuganya mu kkooti olw'okubba obululu."
} | 2864 |
{
"en": "We want to live in a peaceful environment.",
"lg": "Twagala okubeera mu kitundu eky'emirembe."
} | 2865 |
{
"en": "Every political party has its own political influence.",
"lg": "Buli kibiina kya byabufuzi kirina kye kireetawo mu byobufuzi."
} | 2866 |
{
"en": "What kind of services do the ordinary people need?",
"lg": "Mpeereza za kika ki abantu ba wansi ze beetaaga?"
} | 2867 |
{
"en": "When shall the general elections in Uganda take place?",
"lg": "Okulonda kwa bonna mu Uganda kunaabaawo ddi?"
} | 2868 |
{
"en": "You are encouraged to apply for the available positions.",
"lg": "Okubirizibwa okusaba ku bifo ebiriwo."
} | 2869 |
{
"en": "What has led to increase in domestic violence cases?",
"lg": "Ki ekireetedde emisango gy'obutabanguko mu maka okweyongera?"
} | 2870 |
{
"en": "Seek knowledge to avoid ignorance.",
"lg": "Noonya amagezi weewale obutamanya."
} | 2871 |
{
"en": "What should be done to stop domestic violence in homes.",
"lg": "Ki ekirina okukolebwa okukomya obutabanguko mu maka?"
} | 2872 |
{
"en": "Being knowledgeable could save you a lot.",
"lg": "Okubeera omumanyi kyandikutaasa ennyo."
} | 2873 |
{
"en": "From childhood we have been encouraged to save money.",
"lg": "Okuva obuto tubadde tukubirizibwa okutereka ssente."
} | 2874 |
{
"en": "On men and women, who has loves money most.",
"lg": "Ku basajja n'abakazi ani ayagala ennyo ssente?"
} | 2875 |
{
"en": "Men must work hard in order to support their families.",
"lg": "Abasajja balina okukola ennyo okuyimirizaawo amaka gaabwe."
} | 2876 |
{
"en": "Loans could be of financial benefit to the borrower.",
"lg": "Looni eyinza okuba ey'omuganyulo mu byensimbi eri eyeewola."
} | 2877 |
{
"en": "Society berieves that men are the providers in a home.",
"lg": "Abantu balowooza nti abaami be bagabirira amaka."
} | 2878 |
{
"en": "How can a loan result into domestic violence?",
"lg": "Looni eyinza etya okuvaamu obutabanguko mu maka?"
} | 2879 |
{
"en": "My grandmother fetches water from the borehole.",
"lg": "Jjajja wange omukyala amazzi agakima ku nnayikondo."
} | 2880 |
{
"en": "On my way back home, I lost the keys to my apartment.",
"lg": "Ebisumuluzo by'enju yange byagudde nga nzirayo ewaka."
} | 2881 |
{
"en": "What is the age bracket for youths?",
"lg": "Abavubuka bagwa mu kigero kya myaka emeka?"
} | 2882 |
{
"en": "Why should water consumption be charged?",
"lg": "Lwaki okufuna amazzi kuba kwa kusasula?"
} | 2883 |
{
"en": "Humiliation is a sign of disrespect.",
"lg": "Okutyoboola kabonero ka butawa kitiibwa."
} | 2884 |
{
"en": "Resolutions can be made in a very friendly way.",
"lg": "Okusalawo kusobola okukolebwa mu ngeri ey'omukwano."
} | 2885 |
{
"en": "Water serves a lot of purposes.",
"lg": "Amazzi gakola emirimu mingi."
} | 2886 |
{
"en": "The community needs access to clean and safe water.",
"lg": "Ekyalo kyetaaga amazzi amayonjo era amateefu."
} | 2887 |
{
"en": "Mistakes are common so let脮s learn to forgive others.",
"lg": "Ensobi zibaawo kale tuyige okusonyiwa abalala."
} | 2888 |
{
"en": "How best can problems be resolved?",
"lg": "Ebizibu biyinza kugonjoolwa bitya obulungi?"
} | 2889 |
{
"en": "Your life is very important.",
"lg": "Obulamu bwo bwa mugaso nnyo."
} | 2890 |
{
"en": "The second edition of the book is to be rereased next year.",
"lg": "Olufulumya lw'ekitabo olwokubiri lwa kufulumizibwa omwaka ogujja."
} | 2891 |
{
"en": "How can we promote tourism?",
"lg": "Tuyinza kutumbula tutya ebyobulambuzi?"
} | 2892 |
{
"en": "The winner of the beauty contest was crowned yesterday.",
"lg": "Omuwanguzi w'empaka z'obwannalulungi yatikkiddwa ggulo."
} | 2893 |
{
"en": "Terl me, what excites people?",
"lg": "Mbuulira, ki ekikyamula abantu?"
} | 2894 |
{
"en": "Positive change leads to development .",
"lg": "Enkyukakyuka ennungi ereeta enkulaakulana."
} | 2895 |
{
"en": "Stop gender based violence please.",
"lg": "Mukomye obutanguko obwesigamiziddwa ku kikula bambi."
} | 2896 |
{
"en": "Parents ought to believe in the girl child.",
"lg": "Abazadde bateekeddwa okukkiririza mu mwana omuwala."
} | 2897 |
{
"en": "Given the modern day world, people are adopting to the western culture.",
"lg": "Mu nsi ya leero ekulaakulanye, abantu bakoppa obuwangwa bw'abazungu."
} | 2898 |
{
"en": "We donated sanitary pads to keep girls in school.",
"lg": "twagabye bu tawero bw'obuyonjo okukuumira abawala mu ssomero."
} | 2899 |