translation
dict | id
stringlengths 1
4
|
---|---|
{
"en": "Why should undercover investigations be carried out?",
"lg": "Lwaki okubuuliriza okw'enkukutu kukolebwa."
} | 4500 |
{
"en": "Being one of the suspects, he was detained at the police station.",
"lg": "Yaggalirwa mu kaduukulu ka poliisi olw'okubeera omu ku bateeberezebwa."
} | 4501 |
{
"en": "Citizens of Uganda are encouraged to have Uganda National Identity cards.",
"lg": "Bannansi ba Uganda bakubirizibwa okufuna endagamuntu."
} | 4502 |
{
"en": "Every car has a unique number that identifies it.",
"lg": "Buli mmotoka erina ennamba yaayo egyawula ku ndala."
} | 4503 |
{
"en": "At night I park my car in the garage at home.",
"lg": "Ekiro nsimba mmotoka yange mu galagi ewange."
} | 4504 |
{
"en": "Which laws govern the conservation of wild life?",
"lg": "Mateeka ki agalungamya enkuuma y'ebisolo by'omu nsiko."
} | 4505 |
{
"en": "When does the police do investigations?",
"lg": "Poliisi enoonyereza ddi?"
} | 4506 |
{
"en": "Some matters are best handled by court.",
"lg": "Ensonga ezimu zikwatibwa bulungi mu kkooti z'amateeka."
} | 4507 |
{
"en": "erephants are part of wildlife.",
"lg": "Enjovu kitundu ku bisolo eby'omu nsiko."
} | 4508 |
{
"en": "National parks help conserve wildlife.",
"lg": "Amakuumiro g'ebisolo gayamba okukuuma ebitonde by'omu nsiko."
} | 4509 |
{
"en": "What causes extinction of some animals?",
"lg": "Ki ekireetera ensolo ezimu okuggweerawo ddaala?"
} | 4510 |
{
"en": "Operation wealth creation was a program by Uganda government to eradicate poverty.",
"lg": "Enkola ya bonnabagaggawale yali pulogulaamu ya gavumenti okulwanyisa obwavu."
} | 4511 |
{
"en": "Some goods are perishable.",
"lg": "Ebyamaguzi ebimu byonooneka mangu."
} | 4512 |
{
"en": "What causes shortage in supply of goods?",
"lg": "Ki ekireetera okufiirwa mu kubunyisa ebyamaguzi."
} | 4513 |
{
"en": "We need to support our locally manufactured products.",
"lg": "twetaaga okuwagira ebyamaguzi ebikoleddwa kuno."
} | 4514 |
{
"en": "Agricultural Advisory services are for the benefit of farmers.",
"lg": "Amagezi ku byobulamu gaganyulwa balimi."
} | 4515 |
{
"en": "What should be done to promote local supplies?",
"lg": "Ki ekiteekeddwa okukolebwa okutumbula okubunyisa ebyamaguzi ebikolebwa wano?"
} | 4516 |
{
"en": "The high demand propers supply.",
"lg": "Obwetaavu obungi busindiikiriza okubunyisa kw'ebyamaguzi."
} | 4517 |
{
"en": "Agricultural suppliers need to provide quality products.",
"lg": "Abatunda ebintu ebikozesebwa mu bulimi beetaaga okugaba ebintu eby'omutindo."
} | 4518 |
{
"en": "Government programs are sometimes ineffective and inefficient.",
"lg": "Pulogulaamu za gavumenti ebiseera ebimu tezivaamu biruubiriwa bigendereddwa n'obutamala."
} | 4519 |
{
"en": "Market suppliers should be reriable.",
"lg": "Abasuubuza ebintu mu butale balina okuba nga beesigika."
} | 4520 |
{
"en": "Buy Uganda build Uganda.",
"lg": "Gula ebya Uganda, zimba Uganda."
} | 4521 |
{
"en": "We have a lot of foreign supplies on Ugandan market.",
"lg": "Tulina ebyamaguzi bingi ebiva ebweru w'eggwanga ku katale ka Uganda."
} | 4522 |
{
"en": "Titles are attained in different ways.",
"lg": "Ebitiibwa bifunibwa mu ngeri ez'enjawulo."
} | 4523 |
{
"en": "What are the responsibilities of leaders?",
"lg": "Abakulembeze balina buvunaanyizibwa ki?"
} | 4524 |
{
"en": "After death we are permanently separated from the deceased.",
"lg": "twawukanira ddaala n'omugenzi oluvannyuma lw'okufa."
} | 4525 |
{
"en": "People work hard in order to leave a legacy after death.",
"lg": "Abantu bakola nnyo basobole okulekawo omukululo nga bafudde."
} | 4526 |
{
"en": "How can the education and medical service be improved?",
"lg": "Ebyenjigiza n'ebyobujjanjabi biyinza kutumbulwa bitya?"
} | 4527 |
{
"en": "Do not blame others for your mistakes.",
"lg": "Tonenya balala olw'ensobi zo."
} | 4528 |
{
"en": "In case of need ask for help.",
"lg": "Bw'oba n'obwetaavu saba obuyambi."
} | 4529 |
{
"en": "A person's mentality affects their performance.",
"lg": "Endowooza y'omuntu esinziirako enkola ye ey'ebintu."
} | 4530 |
{
"en": "Transparency is considered a major ethical erement in public work.",
"lg": "Obwerufu butwalibwa ng'empisa y'obugunjufu esingayo mu mirimu gya gavumenti."
} | 4531 |
{
"en": "Most people prefer getting rich to a good legacy.",
"lg": "Abantu abasinga baagala okugaggawala okusinga okuleka omukululo omulungi."
} | 4532 |
{
"en": "To improve public service delivery corruption has to be cubed.",
"lg": "Okutumbula obuweereza bwa gavumenti enguzi erina okumalibwawo."
} | 4533 |
{
"en": "Modern farming methods give better yields.",
"lg": "Ennima z'omulembe evaamu amakungula amalungi."
} | 4534 |
{
"en": "Knowledge facilitates ones skills.",
"lg": "Obumanyi buyamba ku bukugu bw'omuntu."
} | 4535 |
{
"en": "Modern skills consist of improved collective knowledge.",
"lg": "Obukugu bw'omulembe buzingiramu amagezi ag'awamu."
} | 4536 |
{
"en": "Upgrade your skills over time.",
"lg": "Yongera ku bukugu bwo oluvannyuma lw'akaseera."
} | 4537 |
{
"en": "Animals need to be looked after.",
"lg": "Ebisolo byetaaga okulabirirwa."
} | 4538 |
{
"en": "Limitation of one脮s knowledge may result into ignorance.",
"lg": "Okukugirwa amagezi g'omuntu kiyinza okuvaamu obutamanya."
} | 4539 |
{
"en": "I have plans of owning a farm with helds of cattle.",
"lg": "Nina enteekateeka y'okubeera ne ffaama ng'erimu eggana ly'ente."
} | 4540 |
{
"en": "Feed the animals when they are hungry.",
"lg": "Liisa ensolo enjala bw'eba eziruma."
} | 4541 |
{
"en": "I do not think there is anyone that ever wants to be poor.",
"lg": "Sisuubira nti waliyo omuntu ayagadde okuba omwavu."
} | 4542 |
{
"en": "Getting stuck is against progress.",
"lg": "Okulemererwa kiremesa okugenda mu maaso."
} | 4543 |
{
"en": "People usually escape from difficult situation.",
"lg": "Abantu bulijjo bavvuunuka embeera enzibu."
} | 4544 |
{
"en": "People in early ages used huts and caves their sherter.",
"lg": "Mu mirembe egy'edda abantu baasulanga mu nsiisira na mpuku."
} | 4545 |
{
"en": "Failure is associated with bad results.",
"lg": "Okulemererwa kujja n'ebivaamu ebibi."
} | 4546 |
{
"en": "Challenges and problems cause difficulty in life.",
"lg": "Okusoomozebwa n'ebizibu bireeta obuzibu mu bulamu."
} | 4547 |
{
"en": "General body weaknesses can cause one to collapse.",
"lg": "Obunafu mu mubiri buyinza okuvaako omuntu okuzirika."
} | 4548 |
{
"en": "People hand over responsibility to others.",
"lg": "Abantu bawa abalala obuvunaanyizibwa."
} | 4549 |
{
"en": "Temporary situations should not last long.",
"lg": "Embeera etali ya lubeerera terina kulwawo."
} | 4550 |
{
"en": "Being a professional shows ones level of expertise in a specific fierd",
"lg": "Okubeera omutendeke kiraga eddalya ly'obukugu bw'omuntu mu kisaawe ekimu."
} | 4551 |
{
"en": "Try to be good to others.",
"lg": "Gezaako okweyisa obulungi eri abalala."
} | 4552 |
{
"en": "The practice of abduction is against human rights",
"lg": "Ekikolwa ky'okuwamba omuntu kityoboola eddembe ly'obuntu."
} | 4553 |
{
"en": "Children are persons below the age of eighteen.",
"lg": "Abaana be bantu abali wansi w'emyaka ekkumi n'omunaana."
} | 4554 |
{
"en": "All newly born babies require immunization",
"lg": "Abaana bonna abaakazaalibwa bagemebwa."
} | 4555 |
{
"en": "Ebola is a contagious disease.",
"lg": "Ebola bulwadde obusaasaana amangu."
} | 4556 |
{
"en": "How can one become a stakeholder in a company?",
"lg": "Muntu afuna atya emigabo mu Kkampuni?"
} | 4557 |
{
"en": "Investors take risks by investing in businesses and projects.",
"lg": "Bamusigansimbi batunda emitima nga basiga ssente mu bizinensi ne pulojekiti."
} | 4558 |
{
"en": "I saw the goodness of God in that year.",
"lg": "Nalaba obulungi bwa Katonda mu mwaka ogwo"
} | 4559 |
{
"en": "Which areas in Uganda were most affected by the Ebola outbreak?",
"lg": "Bitundu ki mu Uganda ebyasinga okukosebwa okubalukawo kwa Ebola?"
} | 4560 |
{
"en": "What protective gears can we use to safe guard ourselves against Ebola disease?",
"lg": "Bintu ki bye tuyinza okukozesa okwetangira obulwadde bwa Ebola?"
} | 4561 |
{
"en": "What are the signs and symptoms of Ebola virus?",
"lg": "Akawuka ka Ebola kalina bubonero ki?"
} | 4562 |
{
"en": "Some diseases spread from one person to another.",
"lg": "Endwadde ezimu zisaasaana okuva ku omuntu omu okudda ku mulala."
} | 4563 |
{
"en": "Young children must be immunized.",
"lg": "Abaana abato balina okugemebwa."
} | 4564 |
{
"en": "Some protective gears protect us from diseases.",
"lg": "Ebyambalo ebitangira ebimu bitutangira obulwadde."
} | 4565 |
{
"en": "Who is in charge of issuing road maps?",
"lg": "Ani alina obuvunaanyizibwa bw'okufulumya enteekateeka z'okugoberera?"
} | 4566 |
{
"en": "Of what importance is the lower local government?",
"lg": "Gavumenti z'ebitundu za mugaso ki?"
} | 4567 |
{
"en": "Are you a registered voter?",
"lg": "Oli mulonzi eyeewandiisa?"
} | 4568 |
{
"en": "On what date shall the general elections take place?",
"lg": "Okulonda kunaabaayo ku nnnaku za mwezi ki?"
} | 4569 |
{
"en": "Who is the current chairperson for the electoral commission of Uganda?",
"lg": "Ani ssentebe w'akakiiko k'ebyokulanda aliko mu Uganda?"
} | 4570 |
{
"en": "elections are supposed to be free and fair.",
"lg": "Okulonda kuteekeddwa kuba kwa mazima na bwenkanya."
} | 4571 |
{
"en": "The electoral commission of Uganda is organizing for the upcoming general elections.",
"lg": "Akakiiko k'ebyokulonda mu Uganda kateekerateekera kulonda kwa bonna okujja."
} | 4572 |
{
"en": "The lease contract between them is null and void.",
"lg": "Endagaano y'okweyazika wakati waabwe nfu."
} | 4573 |
{
"en": "It is assumed that politics is a dirty game.",
"lg": "Kirowoozebwa nti ebyobufuzi kazannyo kagyama."
} | 4574 |
{
"en": "It life rerieving to forgive those that wronged us.",
"lg": "Kyanguya obulamu bw'osanyiwa abo abaakusobya."
} | 4575 |
{
"en": "Very few causalities successfully survive car accidents.",
"lg": "Aabantu abaasimattuse akabenje k'emmotoka batono nnyo."
} | 4576 |
{
"en": "What is the hinderance to infrastructural development ?",
"lg": "Biki ebiremesa enkulaakulana mu bintu ebigasiriza abantu awamu?"
} | 4577 |
{
"en": "Leaders should professionally execute their duties.",
"lg": "Abakulembeze balina okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe mu ngeri y'ekikugu."
} | 4578 |
{
"en": "Disunity is a great hinderance to development .",
"lg": "Okweyawulayawula muziziko munene nnyo eri enkulaakulana."
} | 4579 |
{
"en": "Muslims are very rerigious.",
"lg": "Abasiraamu balina nnyo eddiini"
} | 4580 |
{
"en": "What are some of the causes of disunity?",
"lg": "Biki ku bimu ebiviirako okweyawulayawula?"
} | 4581 |
{
"en": "Leaders should work hard to promote unity among people.",
"lg": "Abakulembeze balina okukola ennyo okutumbula obumu mu bantu."
} | 4582 |
{
"en": "Hatred and division can be contagious.",
"lg": "Obukyayi n'okweyawulayawula bisobola okuva ku muntu omu okudda ku mulala."
} | 4583 |
{
"en": "What makes people fail to work together?",
"lg": "Ki ekiremesa abantu okukolera awamu?"
} | 4584 |
{
"en": "In fights are great indicators of a disunited environment.",
"lg": "Entalo z'omunda ziraga obutali bumu mu kitundu."
} | 4585 |
{
"en": "Mosques are places of worship for Muslims.",
"lg": "Emizikiti bifo abasiraamu mwe basinziza."
} | 4586 |
{
"en": "Who are some of leaders of the Islam religion?",
"lg": "B'ani abamu ku abakulembeze b'edddiini y'obusiraamu?"
} | 4587 |
{
"en": "Do what you脮re supposed to do at the right time.",
"lg": "Kola ky'okola okukola mu budde obutuufu."
} | 4588 |
{
"en": "As a student, how can I attain an academic scholarship?",
"lg": "Ng'omuyizi ninza ntya okufuna sikaala y'okusoma?"
} | 4589 |
{
"en": "Sheikhs are religious leaders in the Islam religion.",
"lg": "Baseeka bakulembeze b'enzikiriza mu dddiini y'obusiraamu."
} | 4590 |
{
"en": "Boda-bodas motorcyclists are encouraged to wear hermets while on the road.",
"lg": "Abavuzi ba boodabooda bakubiribwa okwambala erementi nga bali ku luguudo."
} | 4591 |
{
"en": "Acts of terrorism are illegal.",
"lg": "Ebikolwa eby'obutujju bimenya amateeka."
} | 4592 |
{
"en": "What type of car do you drive?",
"lg": "Ovuga mmotoka kika ki?"
} | 4593 |
{
"en": "Patients in a critical state should be given priority in the hospital.",
"lg": "Abalwadde abali mu mbeera embi balina okufiibwako ennyo mu ddwaliro."
} | 4594 |
{
"en": "Be extra careful while dealing with strangers.",
"lg": "Beera mwegendereza nnyo ng'okolagana n'abantu bootomanyi."
} | 4595 |
{
"en": "Why do people want to take away what does not belong to them?",
"lg": "Lwaki abantu baagala okutwala ebitali byabwe?"
} | 4596 |
{
"en": "He became lame as a result of a bodaboda accident.",
"lg": "Yalemala oluvannyuma lw'akabenje ka boodabooda."
} | 4597 |
{
"en": "How much does a bodaboda cost?",
"lg": "Ppikipiki egula ssente mmeka?"
} | 4598 |
{
"en": "The police are investigating the mismanagement of tea project money and disappearance of project files.",
"lg": "Poliisi enoonyereza ku kukozesa obubi ssente za pulojekiti y'amajaani n'okubula kwa ffayiro za pulojekiti."
} | 4599 |