translation
dict | id
stringlengths 1
4
|
---|---|
{
"en": "Cultural leaders hold onto the cultural norms and traditions.",
"lg": "Abakulembeze b'ebyobuwangwa beekwata ku nnono n'obulombolombo."
} | 4400 |
{
"en": "Too much pressure causes anxiety.",
"lg": "Okusindiikirizibwa ennyo kuleeta obweraliikirivu."
} | 4401 |
{
"en": "How does government spend its money?",
"lg": "Gavumenti esaasaanya etya ssente zaayo?"
} | 4402 |
{
"en": "Budgets help us plan well for our finances.",
"lg": "Embalirira etuyamba okuteekerateekera obulungi ensimbi zaffe."
} | 4403 |
{
"en": "Why should I register my land?",
"lg": "Lwaki nteekeddwa okuwandiisa ettaka lyange?"
} | 4404 |
{
"en": "People have been displaced from their homes due to land conflicts.",
"lg": "Abantu basenguddwa mu maka gaabwe olw'obukuubagano mu by'ettaka."
} | 4405 |
{
"en": "What should be done to minimize land conflicts in society?",
"lg": "Ki ekiteekeddwa okukolebwa okukendeza ku bukuubagano bw'ettaka mu kitundu?"
} | 4406 |
{
"en": "Who has more rights over communal land?",
"lg": "Ani alina obuyinza obusinga ku ttaka eryawamu?"
} | 4407 |
{
"en": "Who is responsible for protecting the public?",
"lg": "Ani avunaanyizibwa ku kukuuma abatuuze?"
} | 4408 |
{
"en": "Widows and orphans are vulnerable people in society.",
"lg": "Bannamwandu ne bamulekwa bantu betaavu mu kitundu."
} | 4409 |
{
"en": "What causes well s to dry up?",
"lg": "Ki ekiviirako enzizi okukalira?"
} | 4410 |
{
"en": "What are some of the natural sources of water?",
"lg": "Nsibuko ki ez'obutonde ezivaamu amazzi?"
} | 4411 |
{
"en": "What do surveyors do?",
"lg": "Abapunta bakola ki?"
} | 4412 |
{
"en": "Water is a basic need.",
"lg": "Amazzi kyetaago kikulu."
} | 4413 |
{
"en": "How can one identify a water site?",
"lg": "Omuntu ayinza atya okuzuula awava amazzi?"
} | 4414 |
{
"en": "My friend works with ministry of water and environment.",
"lg": "Mukwano gwange akola n'ekitongole ky'amazzi n'obutonde."
} | 4415 |
{
"en": "Why do some projects fail?",
"lg": "Lwaki pulojekiti ezimu ziremererwa?"
} | 4416 |
{
"en": "Surveyors are needed in water projects.",
"lg": "Abapunta beetagisibwa mu pulojekiti z'amazzi."
} | 4417 |
{
"en": "Water is usually scarce in dry areas.",
"lg": "Amazzi gabeera ga bbula mu biseera by'ekyeya."
} | 4418 |
{
"en": "What are the dangers of looming water?",
"lg": "Bizibu ki obuli mu mazzi g'ensulo."
} | 4419 |
{
"en": "Disappointments are bound to happen.",
"lg": "Okunyizibwa kunaatera okubeerawo."
} | 4420 |
{
"en": "Water is scarce in some areas.",
"lg": "Amazzi ga bbula mu bitundu ebimu."
} | 4421 |
{
"en": "What natural resources are in Uganda?",
"lg": "Byabugagga ki eby'obutonde ebiri mu Uganda?"
} | 4422 |
{
"en": "A negative mindset is a hinderance to growth.",
"lg": "Ebirowozo ebiwakanya bitangira okukulaakulana."
} | 4423 |
{
"en": "People destroy swamps in order to create land for settlement.",
"lg": "Abantu basanyawo entobazi okutondawo ettaka ly'okusenga ko."
} | 4424 |
{
"en": "Some human activities destroy the environment.",
"lg": "Ebikolwa by'abantu ebimu bisaanyawo obutonde."
} | 4425 |
{
"en": "There was a lot of air pollution in Kampala last month.",
"lg": "Waaliwo okwonoona empewo kungi mu Kampala omwezi oguyise."
} | 4426 |
{
"en": "What leads to high population growth?",
"lg": "Ki ekiretera abantu okweyongera ennyo?"
} | 4427 |
{
"en": "People in the village cook food on firewood.",
"lg": "Abantu mu byalo bafumbira emmere ku nku."
} | 4428 |
{
"en": "River banks tend to flood during the rainy season.",
"lg": "Embalama z'amazzi zitera okubooga mu kiseera ky'enkuba."
} | 4429 |
{
"en": "Of what effect is sand mining to the environment?",
"lg": "Bulabe ki obutuuka ku butonde ng'omusenyu gusimiddwa?"
} | 4430 |
{
"en": "The vice of drug abuse is killing the youths.",
"lg": "Omuze gw'okukozesa ebiragala gutta abavubuka."
} | 4431 |
{
"en": "How is hydro electric power generated?",
"lg": "Amasannyalaze g'omumazzi gakolebwa gatya?"
} | 4432 |
{
"en": "Who is the state minister of Energy?",
"lg": "Ani minisita w'amasannyalaze mu ggwanga?"
} | 4433 |
{
"en": "Some government projects take so long to be implemented.",
"lg": "Pulojekiti za gavumenti ezimu zitwala ebbanga panvu nnyo okuteekebwa mu nkola."
} | 4434 |
{
"en": "How does electricity supply influence development ?",
"lg": "Okusaasaanya kw'amasannyalaze kuleeta kutya enkulaakulana?"
} | 4435 |
{
"en": "Most homes in Uganda at least now have electricity.",
"lg": "Amaka agasinga mu Uganda waakiri galina amasannyalaze."
} | 4436 |
{
"en": "Why is power supply still inadequate in Uganda?",
"lg": "Lwaki amasannyalaze gakyali matono mu Uganda?"
} | 4437 |
{
"en": "Generators are used in case of electricity shortage.",
"lg": "Genereeta zikozesebwa mu bbula ly'amasannyalaze."
} | 4438 |
{
"en": "Government also borrows money where need arises.",
"lg": "Gavumenti nayo yeewola ssente nga waliwo obwetaavu."
} | 4439 |
{
"en": "electricity supply has been extended to the rural areas of Uganda.",
"lg": "Okubunyisa amasannyalaze kwongezeddwa mu byalo bya Uganda."
} | 4440 |
{
"en": "We observe with our eyes.",
"lg": "twekkaanya n'amaaso gaffe."
} | 4441 |
{
"en": "Power is extended to places where there is no power.",
"lg": "Amasannyalaze gabunyisiddwa bifo ebitalina masannyalaze."
} | 4442 |
{
"en": "Of what benefit is electricity to businesses?",
"lg": "Mugaso ki ogw'amasannyalaze ku mirimu?"
} | 4443 |
{
"en": "Investments create job opportunities for people.",
"lg": "Okusiga ensimbi kutonderawo abantu emirimu."
} | 4444 |
{
"en": "After having won the elections, he threw a party to celebrate his victory.",
"lg": "Oluvannyuma lw'okuwangula akalulu yategeseewo akabaga okujaguza obuwanguzi."
} | 4445 |
{
"en": "In every competition there is a winner.",
"lg": "Mu buli kuvuganya wabeerawo omuwanguzi."
} | 4446 |
{
"en": "What are the features of a ballot paper?",
"lg": "Biki ebibeera ku kakonge kwe balondera?"
} | 4447 |
{
"en": "How can you terl one's level of maturity?",
"lg": "Oyinza otya okumanya okutegeera kw'omuntu?"
} | 4448 |
{
"en": "Give priority to what is essential.",
"lg": "Ffaayo nnyo ku ekyo ekisinga omugaso."
} | 4449 |
{
"en": "As a leader, it is good to establish a good rerationship with your subordinates.",
"lg": "Nga omukulembeze kirungi okuteekawo enkolagana ennungi ne b'okulembera."
} | 4450 |
{
"en": "Her husband is a drunkard.",
"lg": "Bbaawe mutamivu."
} | 4451 |
{
"en": "Some people are naturally peaceful.",
"lg": "Abantu abamu mu butonde ba ddembe."
} | 4452 |
{
"en": "We hope for a peaceful general election in Uganda come next year.",
"lg": "Tusuubira okulonda okw'awamu okw'emirembe mu Uganda omwaka ogujja."
} | 4453 |
{
"en": "People do not want to associate with failures.",
"lg": "Abantu teebagala kukolagana n'abalemeddwa."
} | 4454 |
{
"en": "Time waits for no man.",
"lg": "Ebiseera tebirinda."
} | 4455 |
{
"en": "In most cases your mindset influences your actions.",
"lg": "Ebiseera ebisinga endowooza yo yeefuga ebikolwa byo."
} | 4456 |
{
"en": "Prayer leads us to victory.",
"lg": "Okusaba ku tukulembera ku buwanguzi."
} | 4457 |
{
"en": "If we deal away with our differences we shall amicably work together.",
"lg": "Singa tuteka ebbali enjawukana zaffe tujja kukolera wamu awatali njawukna."
} | 4458 |
{
"en": "Is heavy security deployment necessary?",
"lg": "Okuyiwa abaserikale abangi mu kitundu kyetaagisa?"
} | 4459 |
{
"en": "Which primary school did you go to?",
"lg": "Wasomera ku ssomero lya pulayimale ki?"
} | 4460 |
{
"en": "We need to live in harmony with others.",
"lg": "twetaaga okubeera mu ddembe n'abalala."
} | 4461 |
{
"en": "The public should be sensitized on the election process.",
"lg": "Abantu balina okusomesesa ku njola y'okulonda."
} | 4462 |
{
"en": "How many polling stations are in Uganda?",
"lg": "Bifo bimeka ebirondebwamu mu Uganda?"
} | 4463 |
{
"en": "Who is the president of Uganda?",
"lg": "Ani mukulembeze wa Uganda?"
} | 4464 |
{
"en": "The electoral commission gives guiderines on election campaigns.",
"lg": "Akiiko k'eby'okulonda kawa ebigobererwa mu kunoonya akalulu."
} | 4465 |
{
"en": "A politician is free to belong to any political party.",
"lg": "Munnabyabufuzi wa ddembe okubeera ow'ekibiina kyonna."
} | 4466 |
{
"en": "Be thankful to God always.",
"lg": "Weebaze nga nnyo Katonda buli kaseera."
} | 4467 |
{
"en": "Most of the political candidates are from the opposition.",
"lg": "Bannabyabufuzi abeesimbyewo abasinga bava ku ludda luvuganya."
} | 4468 |
{
"en": "Political candidates must campaign among their potential voters.",
"lg": "Bannabyabufuzi abeesimbyewo balina okukuyega mu balonzi baabwe."
} | 4469 |
{
"en": "One with the most votes, wins the elections.",
"lg": "Alina obululu obungi, y'awangula akalulu."
} | 4470 |
{
"en": "Who is an erigible voter?",
"lg": "Ani atsaanidde okulonda?"
} | 4471 |
{
"en": "Confidence is as a result of believing in yourself.",
"lg": "Obuvumu kiva mu kwekiririzaamu."
} | 4472 |
{
"en": "Elections are very costly.",
"lg": "Okulonda kwa bbeeyi nnyo."
} | 4473 |
{
"en": "What is the total population of Uganda?",
"lg": "Obungi bw'abantu mu Uganda buli ki?"
} | 4474 |
{
"en": "Under what circumstances can one be laid off at work?",
"lg": "Mbeeraki omuntu mwayinza okugobebwa ku mulimu?"
} | 4475 |
{
"en": "What purpose does letter of approval serve?",
"lg": "Ebbaluwa ekukakasa ya mugaso ki?"
} | 4476 |
{
"en": "What should be included in a report?",
"lg": "Ki ekirina okubeera mu alipoota?"
} | 4477 |
{
"en": "What kind of actions violate the law?",
"lg": "Bikolwa kika ki ebityobola etteeka?"
} | 4478 |
{
"en": "How does a company benefit from an employee study leave?",
"lg": "Ekitongole kiganyulwa kitya mu luwummula lw'omukozi agenze okusoma?"
} | 4479 |
{
"en": "Once you cease to be an employee, your name is taken off the payroll.",
"lg": "Bw'olekera awo okubeera omukozi erinnya lyo ligibwako ku basasulwa."
} | 4480 |
{
"en": "Taxes are paid to government.",
"lg": "Emisolo giweebwa gavumenti."
} | 4481 |
{
"en": "What is the function of the human resource department?",
"lg": "Akakiiko akagaba emirimu kalina mugaso ki?"
} | 4482 |
{
"en": "Workers are free to go back to school for further studies.",
"lg": "Abakozi ba ddembe okuddayo ku ssomero okweyongerayo okusoma."
} | 4483 |
{
"en": "Only employees on the payroll shall receive a salary this month.",
"lg": "Abakozi bokka abali ku lukalala lw'abasasulwa be bajja okufuna omusaala omwezi guno."
} | 4484 |
{
"en": "Civil servants are employed and paidby the government..",
"lg": "Abakozi ba gavumenti bakozesebwa era basasulwa gavumenti."
} | 4485 |
{
"en": "Some people find it easier to borrow money from savings and credit cooperatives.",
"lg": "Abantu abamu bakisanga nga kyangu okwewola ensimbi okuva mu bibiina ebitereka ensimbi."
} | 4486 |
{
"en": "What is required in starting up a Savings and Credit Cooperative?",
"lg": "Biki ebyetagisa mu kutandikawo ebibiina by'okutereka n'okwewola ensimbi?"
} | 4487 |
{
"en": "Have a vision in life.",
"lg": "Beera n'ekiruubirirwa mu bulamu."
} | 4488 |
{
"en": "Women issues are often given priority in society.",
"lg": "Ensonga z'abakyala zitera okuteekebwa ku mwanjo mu kitundu."
} | 4489 |
{
"en": "Practicing commercial activities helps overcome poverty in society.",
"lg": "Okukola emirimu egivaamu ensimbi kiyamba okuvunuka obwavu mu kitundu."
} | 4490 |
{
"en": "How do cooperative businesses operate?",
"lg": "Emirimu gy'obwegasi gikola gitya?"
} | 4491 |
{
"en": "You need a friend you can trust.",
"lg": "Weetaaga omukwano gw'osobola okwesiga."
} | 4492 |
{
"en": "How do kingdoms operate?",
"lg": "Obwakabaka bukola butya?"
} | 4493 |
{
"en": "We save for the future.",
"lg": "Tuterekera biseera bya mu maaso."
} | 4494 |
{
"en": "I have a loan debt to pay for a period of over five years.",
"lg": "Nnlina ebbanja erya looni ery'okusasula mu bbanga lya myaka etaano."
} | 4495 |
{
"en": "What should be done to improve people's standards of living?",
"lg": "Ki ekirina okukolebwa okutumbula ku mutindo gw'obulamu bw'abantu?"
} | 4496 |
{
"en": "Poverty is so bad.",
"lg": "Obwavu bubi nnyo."
} | 4497 |
{
"en": "Pastors are spiritual mentors.",
"lg": "Abasumba balyoyi ba myoyo."
} | 4498 |
{
"en": "People kill elephants for their ivory.",
"lg": "Abantu batta enjovu olw'amasanga gaazo."
} | 4499 |