translation
dict
id
stringlengths
1
4
{ "en": "The motorcycle was burnt by the youth from the opposition party.", "lg": "Ppikipiki yayokyeddwa abavubuka b'ekibiina ekiri ku ludda oluwakanya." }
4200
{ "en": "Sex offences have increased in our societies.", "lg": "Emisango egyekuusa ku by'okwegadanga gyeyongedde mu bitundu gye tuwangaalira." }
4201
{ "en": "A fifteen year old girl was raped on her way to school.", "lg": "Omuwala ow'emyaka ekkumi n'etaano yatuusibwako ogw'obuliisamaanyi ng'agenda ku ssomero." }
4202
{ "en": "Village leaders should come out to fight illegal acts in the community.", "lg": "Abakulembeze ku kyalo balina okuvaayo okulwanyisa ebikolwa ebimenya amateeka mu kitundu." }
4203
{ "en": "Some youths these days are uncontrollable.", "lg": "Abavubuka abamu ensangi zino tebafugika." }
4204
{ "en": "My neighbor's son is addicted to drugs.", "lg": "Mutabani wa muliraanwa wange akozesa ebiragalalagala." }
4205
{ "en": "Many young girls are engaging in prostitution these days.", "lg": "Abawala abato bangi beenyigira mu bwa malaaya ensangi zino." }
4206
{ "en": "Having multiple partners increases the risk of spreading infectious diseases.", "lg": "Okubeera n'abaagalwa abangi kyongera ku katyabaga k'okusaasaanya endwadde ezisiigibwa." }
4207
{ "en": "Children these days are exposed to pornography.", "lg": "Abaana nnaku zino balaba eby'obuseegu." }
4208
{ "en": "Some teens these days don't follow their parents rules.", "lg": "Abatiini abamu ensangi zino tebagoberera biragiro by'abazadde baabwe." }
4209
{ "en": "Youths are advised to abstain from sex before marriage.", "lg": "Abavubuka bakubirizibwa okwewala eby'okwegatta nga tebannafumbirwa." }
4210
{ "en": "Many teens use drugs and alcohol, but very few realize the risks.", "lg": "Abatiini bangi bakozesa ebiragalalagala n'omwenge, naye batono nnyo abazuula akabi akabirimu." }
4211
{ "en": "We should involve the local faith communities to educate the youth about sex education.", "lg": "Tulina okwetabyamu bannadddiini b'omu kitundu okusomesa abavubuka ku bikwata ku kwegatta." }
4212
{ "en": "How much does it cost to start a fish farm?", "lg": "Kitwala ssente mmeka okutandika okulunda eby'ennyanja." }
4213
{ "en": "New kinds of farming technology are introduced to farmers.", "lg": "Tekinologiya omupya akwata ku byobulimi n'okulunda ayanjuddwa eri abalimi n'abalunzi." }
4214
{ "en": "Farmers were educated how to run a water efficient fish farm.", "lg": "Abalunzi baasomesebwa engeri y'okuddukanyaamu ekidiba ky'ebyenyanja." }
4215
{ "en": "Sometimes the best way to learn is by dividing into a practical project.", "lg": "Ebiseera ebisinga engeri esingayo obulungi okuyiga kwe kugabanyaamu pulojekiti n'ebaako ekitundu ekikolebwako n'emikono." }
4216
{ "en": "The best performing group will be highly rewarded.", "lg": "Ekibinja ekinasinga kijja kuweebwa ekirabo." }
4217
{ "en": "Communities lack funds to invest in fish farming.", "lg": "Ebitundu tebirina nsimbi kusiga mu kulunda byennyanja." }
4218
{ "en": "There will be a training about fish farming in the town hall.", "lg": "Wajja kubaawo okutendekebwa ku kulunda eby'ennyanja mu town hall." }
4219
{ "en": "Fish farming is one of the ways of fighting poverty in our district.", "lg": "Okulunda eby'ennyanja y'emu ku ngeri y'okulwanyisa obwavu mu disitulikiti yaffe." }
4220
{ "en": "There is a risk of bleeding and infections at the site of circumcision.", "lg": "Waliwo obuzibu bw'okuvaamu omusaayi n'obulwadde mu kaseera k'okukomolebwa." }
4221
{ "en": "He is too scared to go through the circumcision pain.", "lg": "Atidde nnyo okuyita mu bulumi bw'okukomolebwa." }
4222
{ "en": "Youths who have undergone circumcision scare others.", "lg": "Abavubuka abaakomolebwa batiisa bannaabwe." }
4223
{ "en": "There will be free circumcision for men in the main hospital.", "lg": "Wajja kubaawo okukomolebwa kw'abaami okw'obwereere mu ddwaliro ekkulu.." }
4224
{ "en": "Men aged thirty years and above highly participated in the free circumcision", "lg": "Abasajja abali mu myaka asatu n'okweyongerayo beenyigidde mu kukomolebwa okw'obwereere." }
4225
{ "en": "There are many means of communication.", "lg": "Waliwo engeri z'okuwuliziganyaamu nnyingi." }
4226
{ "en": "Local leaders sensitized the youth about circumcision.", "lg": "Abakulembeze b'ebyalo baamanyisizza abavubuka ku kukomolebwa." }
4227
{ "en": "There is a reduced risk of some sexually transmitted diseases in men.", "lg": "Waliwo okukendeera kw'obulabe bw'endwadde z'ekikaba ezimu mu basajja." }
4228
{ "en": "There was a saying; men who are circumcised can't get viral infections.", "lg": "Waaliwo enjogera egamba; abasajja abakomole tebasobola kukwatibwa ndwadde z'akawuka." }
4229
{ "en": "Some ethnic groups, male circumcision is a must.", "lg": "Amawanga agamu, okukomola abasajja kya tteeka." }
4230
{ "en": "Some cultures don't practice male circumcision.", "lg": "Obuwangwa obumu tebukomola basajja." }
4231
{ "en": "Male circumcision improves sex for women.", "lg": "Okukomola abasajja kyongera essanyu ly'okwegatta eri abakyala." }
4232
{ "en": "Efforts have been made by the government towards gender equality.", "lg": "Gavumenti etaddemu amaanyi mu mwenkanonkano." }
4233
{ "en": "Project officers plan and coordinate project activities.", "lg": "Abakulu ba polojekiti bateekateeka n'okukwataganya emirimu gya pulojekiti." }
4234
{ "en": "Some people think gender equality is just a woman's issue.", "lg": "Abantu abamu balowooza omwenkanonkano nsonga ya bakazi." }
4235
{ "en": "Government should be able to support women in different projects.", "lg": "Gavumenti eteekeddwa okuba n'obusobozi okuyamba abakyala mu pulojekiti ez'enjawulo." }
4236
{ "en": "Through gender equality the government can make better decisions.", "lg": "Ng'eyita mu mwenkanonkano, gavumenti esobola okusalawo okulungi." }
4237
{ "en": "Some women in our society wrongly use gender equality.", "lg": "Abakazi abamu bakozesa bubi omwenkanonkano." }
4238
{ "en": "Women are more likely than husbands to take care of children on a daily basis.", "lg": "Abakyala be basinga abaami okulabirira abaana buli lunaku." }
4239
{ "en": "Mothers who work full time spend less time with their children.", "lg": "Bamaama abakola akaseera konna bamala obudde butono n'abaana baabwe." }
4240
{ "en": "Both men and women benefit from gender equality.", "lg": "Abaami n'abakyala bombi buganyulwa mu mwenkanonkano." }
4241
{ "en": "People should stop child marriages and sexual harassments.", "lg": "Abantu bateekeddwa okukomya okufumbiza abaana n'okukomya okukabasanyizibwa." }
4242
{ "en": "Everyone benefits from gender equality.", "lg": "Buli muntu aganyulwa mu mwenkanonkano." }
4243
{ "en": "He was arrested for attempted murder.", "lg": "Yakwatiddwa olw'okugezaako kutemula." }
4244
{ "en": "A man has been arrested for allegedly stabbing his wife to death.", "lg": "Omusajja asibiddwa lwa kufumita mukyala we paka kumutta." }
4245
{ "en": "On average twenty five children are killed or injured in conflicts every day.", "lg": "Bw'ogeraageranya, abaana amakumi abiri mu bataano battibwa oba bafuna obuvune mu bukuubagano buli lunaku." }
4246
{ "en": "I feel jealous when my husband talks to other women.", "lg": "Mpulira ebbuba ng'omwami wange ayaogera n'abakyala abalala." }
4247
{ "en": "For security purposes ceremonies should take only one day.", "lg": "Olw'ensonga z'ebyokwerinda, emikolo giteekeddwa okumala olunaku lumu lwokka." }
4248
{ "en": "My son was also arrested in connection to the murder.", "lg": "Mutabani wange naye yakwatibwa ku byekuusa ku butemu." }
4249
{ "en": "People who break the law have to be punished.", "lg": "Abantu abamenya amateeka balina okubonerezebwa." }
4250
{ "en": "She was stoned to death for raping a nine year old girl.", "lg": "Yakubibwa amayinja n'afa olw'okusobya ku muwala ow'emyaka omwenda." }
4251
{ "en": "Farmers in Uganda have started growing maize.", "lg": "Abalimi mu Uganda batandise okusimba kasooli." }
4252
{ "en": "Cotton is used in factories.", "lg": "Ppamba akozesebwa mu makolero." }
4253
{ "en": "He has a good house.", "lg": "Alina ennyumba ennungi." }
4254
{ "en": "We need to improve on the quality of milk.", "lg": "Tulina okwongera ku mutindo gw'amata." }
4255
{ "en": "Only interested farmers will get the seedlings.", "lg": "Abalimi abeetaaga okuzirima bokka be bajja okufuna ensigo." }
4256
{ "en": "Farmers should be given good seeds.", "lg": "Abalimi balina okuweebwa ensigo ennungi." }
4257
{ "en": "Farmers in the district are not forced to grow the crops.", "lg": "Abalimi mu disitulikiti tebakakibwa kulima birime." }
4258
{ "en": "We need to look for market of our crops.", "lg": "Tulina okunoonya akatale k'ebirime byaffe." }
4259
{ "en": "The organization is making farming more productive and profitable for Ugandan farmers.", "lg": "Ekitongole kifudde obulimi n'obulunzi eky'omugaso eri abalimi n'abalunzi mu Uganda." }
4260
{ "en": "Some farmers in our village didn't receive the seedlings.", "lg": "Abalimi abamu mu byalo byaffe tebaafuna ndokwa." }
4261
{ "en": "Maize need modorate rain to grow well .", "lg": "Kasooli yeetaaga enkuba ensaamusaamu okukula oulungi." }
4262
{ "en": "Matooke is commonly eaten by ladies.", "lg": "Amatooke galiibwa nnyo abakyala." }
4263
{ "en": "Basketball is one of the games that can be played in a wheelchair.", "lg": "Ensero gw'egumu ku mizannyo egisobola okuzannyibwa mu kagaali k'abalema." }
4264
{ "en": "The disabled children in Uganda are trapped in poverty.", "lg": "Abaana abaliko obulemu mu Uganda bali mu bwavu." }
4265
{ "en": "People with disabilities lack confidence to participate in sports.", "lg": "Abantu abaliko obulemu tebaba na buvumu kwenyigira mu bya mizannyo." }
4266
{ "en": "Most people with disabilities do not participate in sports regularly.", "lg": "Abantu abaliko obulemu abasinga tebatera kwenyigira mu bya mizannyo." }
4267
{ "en": "There will be a disability sports gala next week at the school fierd.", "lg": "Wajja kubaawo empaka z'emizannyo gy'abaliko obulemu wiiki ejja ku kisaawe ky'essomero." }
4268
{ "en": "People with disabilities are taking part in politics.", "lg": "Abantu abaliko obulemu beenyigidde mu byobufuzi." }
4269
{ "en": "The government will fund disability sport next year.", "lg": "Gavumenti ejja kuteeka ensimbi mu mizannyo gy'abaliko obulemu omwaka ogujja." }
4270
{ "en": "International countries praised Uganda for supporting people with disabilities.", "lg": "Amawanga g'ebweru gaatendereza Uganda olw'okuyamba abaliko obulemu." }
4271
{ "en": "A family of three people has perished in a motorcycle accident.", "lg": "Abantu basatu okuva mu nju emu baafiiridde mu kabenje ka ppikipiki." }
4272
{ "en": "The motorcycle driver was driving recklessly.", "lg": "Omuvuzi wa ppikipiki yabadde avugisa kimama." }
4273
{ "en": "While driving on that road be careful about that sharp corner.", "lg": "Bw'oba ovugira ku luguudo olwo, weegendereze nnyo eryo ekkoona eddene." }
4274
{ "en": "All the accident victims were admitted at the main hospital.", "lg": "Abaakoseddwa bonna mu kabenje baatwaliddwa mu ddwaliro ekkulu." }
4275
{ "en": "Do not drink and drive.", "lg": "Tonywa n'ovuga." }
4276
{ "en": "So far, this week three accidents have occurred in that same spot.", "lg": "Wetwogerera, obubenje busatu bugudde mu kifo ky'ekimu mu ssabbiiti eno." }
4277
{ "en": "Some drivers don't have driving skills and experience.", "lg": "Abagoba b'ebidduka abamu tebalina bukugu na bumanyirivu kuvuga mmotoka." }
4278
{ "en": "Most cyclists have little knowledge of road safety laws.", "lg": "Abavuzi ba ppikipiki abasinga tebalina kumanya kumala ku mateeka ga ku nguudo." }
4279
{ "en": "Motorcyclists cause a lot of accidents these days.", "lg": "Abavuzi ba ppikipiki bakola obubenje bungi ensangi zino." }
4280
{ "en": "Holistic learning allows children to learn naturally and creativery.", "lg": "Okusoma kw'ebintu byonna kukkiriza okuyiga mu butonde n'okuba abayiiya." }
4281
{ "en": "Early childhood in the community helps children to learn about themselves.", "lg": "Okuyiga kw'abaana abato mu kitundu kuyamba abaana okusoma ku bo bennyininnyini." }
4282
{ "en": "Children are the future leaders of tomorrow.", "lg": "Abaana be bakulembeze b'enkya." }
4283
{ "en": "Partnering with parents helps children to see important people in their lives working together.", "lg": "Okukwatagana n'abazadde kiyamba abaana okulaba abantu ab'omugaso mu bulamu bwabwe nga bakolera wamu." }
4284
{ "en": "Government will invest in early childhood education in the next financial year.", "lg": "Gavumenti ejja kuteeka ensimbi mu kusoma kw'abaana nga bakyali bato mu mwako gw'ebyensimbi ogujja." }
4285
{ "en": "Children aged three to five years are expected to be in nursery school.", "lg": "Abaana ab'emyaka esatu okutuuka ku etaano basuubirwa okubeera mu ssomero lya nassale." }
4286
{ "en": "With the early education it gives the child's brain time to develop.", "lg": "Okukeera ebyenjigiriza kiwa obwongo bw'omwana akaseera okukula." }
4287
{ "en": "Every morning I take my one year old son to the day care center.", "lg": "Buli ku makya ntwala mutabani wange ow'omwaka ogumu mu day care center." }
4288
{ "en": "What do you think is the right way to approach poverty in our community?", "lg": "Olowooza ngeri ki entuufu ey'okwengaanga obwavu mu kitundu?" }
4289
{ "en": "Leaders should empower citizens.", "lg": "Abakulembeze balina okuzzamu bannansi amaanyi." }
4290
{ "en": "We as citizens have a right to information.", "lg": "Ffe nga bannansi tulina eddembe okumanya ebigenda mu maaso." }
4291
{ "en": "Community engagement helps government to improve efficiency.", "lg": "Okwenyigiramu kw'abantu kuyamba gavumenti okulongoosa enkola." }
4292
{ "en": "We have the freedom to access information.", "lg": "Tulina eddembe okufuna amawulire." }
4293
{ "en": "Every Ugandan has a right to participate in the affairs of the government.", "lg": "Buli munnayuganda alina eddembe okwetaba mu nsonga za gavumenti." }
4294
{ "en": "We vote for officials and they represent our concerns and ideas in the government.", "lg": "Tulonda abakungu ne bakiikirira ebituluma n'ebirowoozo byaffe mu gavumenti." }
4295
{ "en": "Infrastructure development plays an important role in Uganda's economic growth.", "lg": "Okutumbula emizimbo kya mugaso nnyo mu kulaakulana kw'ebyenfuna bya Uganda." }
4296
{ "en": "Yesterday, youth leaders received awards for good governance.", "lg": "Eggulo, abakulembeze b'abavubuka baasiimiddwa lwa kukulembera bulungi." }
4297
{ "en": "There are people who clean the streets of the main city every morning.", "lg": "Waliwo abantu abalongoosa enguudo z'ekibuga ekikulu buli ku makya." }
4298
{ "en": "During the riots, a boy shot accidentally and he died instantly.", "lg": "Mu kwekalakaasa omulenzi yakubwa mu butanwa n'afiirawo." }
4299