translation
dict
id
stringlengths
1
4
{ "en": "Change is not always a bad thing.", "lg": "Enkyukakyuka si bulijjo nti mbi." }
4100
{ "en": "Farmers like to plant disease resistance crops.", "lg": "Abalimi baagala okusimba ebirime ebitakwatibwa bulwadde." }
4101
{ "en": "ItÕs the government's responsibility to preserve all the various kinds of seeds.", "lg": "Mulimu gwa gavumenti okutereka ebika by'ensigo eby'enjawulo." }
4102
{ "en": "The government encourages its people to plant more than one variety of crops.", "lg": "Gavumenti ekubiriza abantu baayo okusimba ebika by'ebirime ebisukka mu kimu." }
4103
{ "en": "Most farmers do not have enough information about the seeds they plant.", "lg": "Abalimi abasinga tebalina kumanya kumala ku nsigo ze basimba." }
4104
{ "en": "Farmers usually buy good seeds from the government sector responsible for agriculture.", "lg": "Abalimi bulijjo bagula ensigo ennungi okuva mu kitongole Kya gavumenti ekivunaanyizibwa ku byobulimi." }
4105
{ "en": "Not all new seeds on market are resistant to pests and diseases.", "lg": "Si buli nsigo empya eziri ku katale nti tezikwatibwa biwuka na ndwadde." }
4106
{ "en": "ItÕs the government's responsibility to educate farmers on what kind of seeds to plant.", "lg": "Mulimu gwa gavumenti okusomesa abalimi ensigo ezirina okusimbibwa." }
4107
{ "en": "Products from plants harvested can be used in various ways.", "lg": "Ebintu ebikolebwa mu birime bisobola okweyambisibwa mu ngeri nnyingi." }
4108
{ "en": "Every farmer has his/her say on which seeds to plant.", "lg": "Buli mulimi alina ye ky'ayogera ku nsigo ki ezirina okusimbibwa." }
4109
{ "en": "Every farmer has his/her ways of storing the harvest.", "lg": "Buli mulimi alina engeri ye gy'aterekamu by'akungudde." }
4110
{ "en": "All crops take different times to reach the stage of harvest.", "lg": "Ebirime byonna bitwala ebbanga lya njawulo okutuuka ku mutendera gw'okukungulwa." }
4111
{ "en": "With the new varieties of crops, people have a lot to select from.", "lg": "Ku birime ebingi ebipya ebiriwo, abantu balina eby'okweroboza." }
4112
{ "en": "Farming is a source of income.", "lg": "Okulima n'okulunda kkubo erivaamu ensimbi." }
4113
{ "en": "The government can also get involved in construction of kingdoms", "lg": "Gavumenti nayo esobola okwenyigira mu kuzimba obwa kabaka." }
4114
{ "en": "There are various celebrations that are held in kingdoms.", "lg": "Waliwo eby'okujaguza bingi ebikolebwa mu bwa kabaka." }
4115
{ "en": "The kingdoms in the country can also get aid from the government.", "lg": "Obw'akabaka mu ggwanga nabwo busobola okufuna obuyambi okuva mu gavumenti." }
4116
{ "en": "Kings and queens reside in palaces.", "lg": "Ba kabaka n'abakyala baabwe basula mu mbiri." }
4117
{ "en": "The kingdom also has a lot of small sectors.", "lg": "Obwa kabaka era bulina ebitongole ebitonotono ebiwerako." }
4118
{ "en": "Also kingdoms in Uganda benefit from the government funds.", "lg": "era obwa kabaka mu Uganda buganyulwa mu nsimbi okuva mu gavumenti." }
4119
{ "en": "Constructing a big building takes a lot of time.", "lg": "Okuzimba ekizimbe ekinene kitwala obudde bungi." }
4120
{ "en": "All organizations in the country can get help from the government.", "lg": "Ebitongole byonna mu ggwanga bisobola okufuna obuyambi okuva mu gavumenti." }
4121
{ "en": "The government can deregate work to the private sector.", "lg": "Gavumenti esobola okusigira emirimu eri ebitongole by'obwannannyini." }
4122
{ "en": "ItÕs a sign of respect to appreciate the work done for you.", "lg": "Kaba kabonero ka kuwa kitiibwa okusiima omulimu ogukukoleddwa." }
4123
{ "en": "Everyone deserves to stay in his/her house.", "lg": "Buli muntu asaana abeere mu nnyumba eyiye." }
4124
{ "en": "There is an increase in highway road accidents.", "lg": "Obubenje ku mwasanjala bweyongedde." }
4125
{ "en": "There are little chances of survival if knocked by a speeding car on a highway road.", "lg": "Waliwo emikisa mitono ddaala egy'okuwona singa otomerwa emmotoka edduka obuweewo ku mwasanjala." }
4126
{ "en": "All witness of a car accident usually have different stories to terl about the accident.", "lg": "Abajulizi b'obubenje ku makubo buli kaseera baba n'engero za njawulo ku bibaddewo." }
4127
{ "en": "Poor roads can lead to road accidents.", "lg": "Enguudo embi zisobola okuvaako obubenje." }
4128
{ "en": "ItÕs the traffic officers that provide concrete reports about road accidents.", "lg": "Abasirikale b'okunguudo be balina okuwa alipoota entuufu ku bubenje obubeera ku nguudo." }
4129
{ "en": "ItÕs the government's responsibility to construct roads.", "lg": "Buvunaanyizibwa bwa gavumenti okukola enguudo." }
4130
{ "en": "Heavy rain can also destroy roads.", "lg": "Nnamutikwa w'enkuba asobola okwonoona enguudo." }
4131
{ "en": "Usually car drivers who cause a road accident tend to run away from the police.", "lg": "Ebiseera ebisinga abavuzi b'emmotoka abakola obubenje bagenderera okudduka aba poliisi." }
4132
{ "en": "People who die in car accidents are usually first taken to the government hospital mortuary.", "lg": "Abantu abafiira mu bubenje bw'emmota ebiseera ebisinga batwalibwa mu ggwanika ly'eddwaliro lya gavumenti." }
4133
{ "en": "Over speeding can lead to road accidents.", "lg": "Okuvuga endiima kisobola okuviirako obubenje ku nguudo." }
4134
{ "en": "People celebrate birthdays differently.", "lg": "Abantu bajaguza amazaalibwa mu ngeri ya njawulo." }
4135
{ "en": "ItÕs a good thing to serve your community in whatever way possible.", "lg": "Kintu kirungi nnyo okuweereza ekitundu kyo mu ngeri yonna esobola." }
4136
{ "en": "When you get very old itÕs better you retire from working.", "lg": "Bw'okaddiwa ennyo kiba kirungi n'owummula okukola." }
4137
{ "en": "The priest's responsibility is to spread the good news about God", "lg": "Obuvunaanyizibwa bwa kabona kwe kusaasaanya amawulire amalungi agakwata ku katonda." }
4138
{ "en": "Every work has its challenges involved.", "lg": "Buli mulimi gulina ebisoomoozebwa ebigulimu." }
4139
{ "en": "For children to become great men, they have to be raised the right way.", "lg": "Abaana okuvaamu abasajja ab'amaanyi, balina okukuzibwa mu ngeri entuufu." }
4140
{ "en": "People will appreciate the good work you do for the society.", "lg": "Abantu bajja kusiima omulimu omulungi gw'okolera ekitundu." }
4141
{ "en": "ItÕs a community effort to develop a school.", "lg": "Kaweefube wa kitundu okukulaakulanya essomero." }
4142
{ "en": "For you to succeed you have to look up to someone better than you.", "lg": "Gwe okubeera omuanguzi olina okulabira ku muntu ali obulungi okukusingako." }
4143
{ "en": "Your good works can inspire many.", "lg": "Emirimu gyo emirungi gisobola okusikiriza bangi." }
4144
{ "en": "ItÕs a good thing to have friends who care about you.", "lg": "Kintu kirungi okuba n'emikwano egikufaako." }
4145
{ "en": "A friend in need is a friend indeed.", "lg": "Munno mu kabi ye munno ddaala." }
4146
{ "en": "For the fear of God is the beginning of wisdom.", "lg": "Mu kutya Katonda amagezi mwe gasookera." }
4147
{ "en": "ItÕs very hard to find a clean community market.", "lg": "Kizibu nnyo okusanga akatale k'omukitundu akayonjo." }
4148
{ "en": "ItÕs not healthy to work next to a huge pile of garbage", "lg": "Tekiba kirungi okukolera okumpi n'ekifo awakungaanyizibwa kasasiro." }
4149
{ "en": "A huge pile of garbage can lead to a bad smerl and lots of flies.", "lg": "Kasasiro omungi asobola okuleeta ekivundu n'ensowera empitirivu." }
4150
{ "en": "You need to have a clean workspace for you to attract customers.", "lg": "Weetaaga okuba n'ekifo ky'okoleramu ekiyonjo osobole okusikiriza abaguzi." }
4151
{ "en": "ItÕs the government's responsibility to collect garbage from business centers.", "lg": "Buvunaanyizibwa bwa gavumenti okukungaanya kasasiro okuva mu bitundu ebikolebwamu bizinesi." }
4152
{ "en": "The government takes a while to handle all issues raised by people.", "lg": "Gavumenti etwala akaseera okukola ku nsonga z'abantu." }
4153
{ "en": "There are no garbage trucks to collect the garbage from the business centers.", "lg": "Tewali bimmotoka bya kasasiro kukungaanya kasasiro okuva mu bitndu ebikolebwamu bizinesi." }
4154
{ "en": "The poor roads can also lead to damaging of the vehicles that use those roads.", "lg": "Enguudo embi zisobola okuviirako okwonooneka kw'ebidduka ebikozesa enguudo ezo." }
4155
{ "en": "More garbage trucks are needed to collect garbage in areas where there are many people.", "lg": "Ebimmotoka ebikungaanya kasasiro by'etaagibwa okukungaanya kasasiro mu bitundu ebirimu abantu abangi." }
4156
{ "en": "You need to have money to solve some problems.", "lg": "Weetaaga okuba n'ensimbi okugonjoola ebizibu ebimu." }
4157
{ "en": "We all need to leave in a clean society.", "lg": "Ffenna twetaaga okubeera mu kitundu ekiyonjo." }
4158
{ "en": "For you to attract customers, keep a good hygiene.", "lg": "Okusikiriza abaguzi, kuuma obuyonjo." }
4159
{ "en": "Not everyone likes family planning.", "lg": "Si buli omu nti ayagala enteekateeka y'ezzadde." }
4160
{ "en": "Family planning reduces on the population in the country.", "lg": "Enkola ya kizaala ggumba ekendeeza ku bungi bw'abantu mu ggwanga." }
4161
{ "en": "There are also benefits with a large population.", "lg": "Abantu abangi nabo balina ebirungi ebibavaamu." }
4162
{ "en": "People have different opinions about family planning.", "lg": "Abantu balina endowooza ez'enjawulo ku nkola ya kizaala ggumba." }
4163
{ "en": "Because of freedom of speech, people can say whatever they want.", "lg": "Abantu basobola okwogera byonna bye baagala olw'okuba balina eddembe ly'okwogera." }
4164
{ "en": "There are somethings that are not supposed to be talked about in public.", "lg": "Waliwo ebintu ebimu ebitalina kwogerwa mu lujjudde lw'abantu." }
4165
{ "en": "There is an increase in unemployment among the youth.", "lg": "Ebbula ly'emirimu lyeyongedde nnyo mu bavubuka." }
4166
{ "en": "Give birth to children that you can take care of.", "lg": "Zzaala abaana b'osobola okulabirira." }
4167
{ "en": "If your husband is irresponsible then use family planning.", "lg": "Omwami wo bw'ataba na buvunaanyizibwa, kozesa enkola ya kizaala ggumba." }
4168
{ "en": "ItÕs the parents' responsibility to raise their children.", "lg": "Buvunaanyizibwa bw'abazadde okukuza abaana baabwe." }
4169
{ "en": "People can strike for any reason.", "lg": "Abantu basobola okwekalakaasa olw'ensonga yonna." }
4170
{ "en": "There are various ways to show your dislike to an issue.", "lg": "Waliwo engeri nnyingi z'osobola okuyitamu okulaga obutali bumativu ku nsonga." }
4171
{ "en": "Not everyone will be involved in a strike.", "lg": "Si buli omu nti anneenyigira mu kwekalakaasa." }
4172
{ "en": "Government teachers can be transferred from one school to another.", "lg": "Abasomesa ba gavumenti basobola okukyusibwa okuva ku ssomero erimu okudda ku ddaala." }
4173
{ "en": "If transferred to a different location, you need to first handover your previous office.", "lg": "Bw'okyusibwa okudda mu kitundu ekirala, weetaaga okusooka okuwaayo woofiisi gy'obaddemu." }
4174
{ "en": "If a strike happens, some work may not be completed.", "lg": "Okwekalakaasa bwe kubalukawo, emirimu egimu giyinza obutamalibwa." }
4175
{ "en": "Your good works will be appreciated by most people.", "lg": "Emirimu gyo emirungi gijja kusiimibwa abantu abasinga obungi." }
4176
{ "en": "Not everything happens at the right time.", "lg": "Si buli kintu nti kituukawo mu kiseera ekituufu." }
4177
{ "en": "As an employee you have to follow rules given to you by your employer.", "lg": "Ng'omukozi, olina okugoberera amateeka agakuweereddwa mukamaawo." }
4178
{ "en": "Office handover involves the person leaving office and the predecessor.", "lg": "Okuwaayo woofiisi kutwaliramu omuntu ava mu woofiisi n'agiyingira." }
4179
{ "en": "Even government schools get loans from the bank.", "lg": "Amasomero ga gavumenti nago geewola mu bbanka." }
4180
{ "en": "Transferring a person to a different office has to happen at the right time.", "lg": "Okukyusa omuntu okutwalibwa mu woofiisi ey'enjawulo kirina okubaawo mu kiseera ekituufu." }
4181
{ "en": "There are various ways to stop a demonstration.", "lg": "Waliwo engeri ez'enjawulo ez'okukomya okwekalakaasa." }
4182
{ "en": "Transferring government teachers needs to happen after third term.", "lg": "Okukyusa abasomesa ba gavumenti kyetaaga kibeewo mu lusoma olusembayo." }
4183
{ "en": "If you want your issue to be handled quickly by the government try demonstrating.", "lg": "bw'oba oyagala ensongayo ekolweko mangu gavumenti gezaako okwekalakaasa." }
4184
{ "en": "The government tries to educate the people about the dangers involved in striking.", "lg": "Gavumenti egezaako okusomesa abantu ku kabi akali mu kwekalakaasa." }
4185
{ "en": "All issues raised have to first be discussed and then solved.", "lg": "Ensonga zonna ezanjuddwa zirina okusooka okukubaganyizibwako ebirowoozo oluvannyuma zigonjoolwe." }
4186
{ "en": "When the strike starts, the police comes in to stabilize the situation.", "lg": "Okwekalakaasa bwe kubalukawo, poliisi evaayo okukkakanya embeera." }
4187
{ "en": "Anyone in Uganda can own land.", "lg": "Omuntu yenna mu Uganda asobola okuba n'obwannannyini ku ttaka." }
4188
{ "en": "Most people fear the army forces.", "lg": "Abantu abasinga batya amagye." }
4189
{ "en": "The country's army force can occupy any place that they want.", "lg": "Amagye g'eggwanga gasobola okukuba enkambi wonna wegaagala." }
4190
{ "en": "You have to pay tax if you are carrying out business on a piece of land.", "lg": "Olina okusasula omusolo bw'oba oddukanya bizinensi ku ttaka." }
4191
{ "en": "The government can do whatever it wants on the land it owns.", "lg": "Gavumenti esobola okukola kyonna ky'eyagala ku ttaka ly'erinako obwa nnannyini." }
4192
{ "en": "For every decision you make, you have to first consult your elders.", "lg": "Okusalawo kwonna kw'okola, olina okusooka okwebuuza ku bakulu." }
4193
{ "en": "No one has the right to evict the army forces if they occupy a given place.", "lg": "Teri alina buyinza kugoba magye singa gakuba enkambi mu kifo kyonna." }
4194
{ "en": "The role of the army forces is to protect the people of the country from external enemies.", "lg": "Omulimu gw'amagye kwe kukuuma abantu b'eggwanga ku balabe okuva ebweru." }
4195
{ "en": "Protocol has to be followed in government issues.", "lg": "Emitendera girina okugobererwa mu nsonga za gavumenti." }
4196
{ "en": "Its the police's role to protect the people in the society not the army.", "lg": "Mulimu gwa poliisi okukuuma abantu mu kitundu si magye." }
4197
{ "en": "The government has the right to use land if it has been dormant for a long time.", "lg": "Gavumenti erina obuyinza okukozesa ettaka singa liba teririiko kikolebwako okumala ebbanga eddene." }
4198
{ "en": "First talk to your supervisor before judging him.", "lg": "Sooka oyogere n'omulungamya wo nga tonnamusalira musango." }
4199