translation
dict
id
stringlengths
1
4
{ "en": "My fifteen year old niece is pregnant, can you imagine?", "lg": "Kizibwe wange ow'emyaka ekkumi n'etaano ali lubuto, oyinza okukiteebereza?" }
3900
{ "en": "He married off her thirteen year old girl to an old man.", "lg": "Yafumbiza muwala we ow'emyaka ekkumi n'essatu ku musajja omukadde." }
3901
{ "en": "A teenage girl was chased away from home when she got pregnant.", "lg": "Omuwala mu myaka gy'ekittiini yagobwa ewaka bwe yafuna olubuto." }
3902
{ "en": "We should teach children to abstain from sex before marriage.", "lg": "Tuteekeddwa okusomesa abaana okwewala okwegadanga nga tebannaba kufumbirwa." }
3903
{ "en": "There is a rise of teenage pregnancies in that district.", "lg": "Omuwendo gw'abattiini abali embuto mu disitulikiti eyo gweyongedde." }
3904
{ "en": "Traditional kingdoms have provided scholarships to schools to assist children.", "lg": "Obwakabaka buwaddeyo sikaali mu masomero ziyambe ku baana." }
3905
{ "en": "The cultural kingdom will build more vocational Institutes.", "lg": "Obwakabaka bujja kuzimba amasomero g'emikono amalala." }
3906
{ "en": "Abuse of drugs is a threat to human life.", "lg": "Okweyambisa ebiragalagala kya bulabe ku bulamu bw'omuntu." }
3907
{ "en": "The child of a teenage mother faces complications like low birth weight.", "lg": "Omwana azaaliddwa omuwala atanneetuuka asanga obuzibu nga okuzaalibwa n'obuzito obutono." }
3908
{ "en": "Political leaders have vowed to fight and end teenage pregnancy.", "lg": "Abakulembeze b'ebyobufuzi balayidde okulwanyisa okukomya embuto mu baaana abatanneetuuka." }
3909
{ "en": "Today, there is an increase in teenage deliveries at the main hospital.", "lg": "Ebiro bino waliwo okweyongera mu kuzaala kw'abaana abatanneetuuka ku ddwaaliro ekkulu." }
3910
{ "en": "The old taxi park is under renovation.", "lg": "Paaka ya takisi enkadde eri mu kuddaabirizibwa." }
3911
{ "en": "Taxis load and off load passengers in the middle of the road.", "lg": "Takisi zitikka era ne zitikkula abasaabaze wakati mu luguudo." }
3912
{ "en": "Taxi drivers have rejected the proposal to share the park with trucks.", "lg": "Abavuzi ba takisi bagaanye ekiteeso ky'okugabana paaka ne zi lukululana." }
3913
{ "en": "I boarded a taxi, but the traffic jam was a lot.", "lg": "Nalinnye kamunye naye akalippagano k'ebidduka kaabadde kangi." }
3914
{ "en": "The raising traffic congestion has led to passengers preferring to use boda bodas.", "lg": "Akalippagano k'ebidduka akeyongedde kaleetedde abasaabaze okweyambisa boodabooda mu kifo kya takisi." }
3915
{ "en": "Parking of motor vehicles on that fuel filling station is prohibited.", "lg": "Okusimba emmotoka ku ssundiro ly'amafuta eryo tekikkirizibwa." }
3916
{ "en": "When the fire started, it took the fire fighters, three hours to reach.", "lg": "Omuliro bwe gwatandise, kyatwalidde abagulwanyisa essaawa ssatu okutuuka." }
3917
{ "en": "Yesterday a truck lost control and injured three people", "lg": "Eggulo lukululana yawabye n'erumya abantu basatu." }
3918
{ "en": "The district has developed new parking yard for truck drivers.", "lg": "Disitulikiti etaddewo paaka empya ey'abavuzi b'ebimmotoka bi lukululana." }
3919
{ "en": "I wrote a letter to the village leader, but I didn't get a reply.", "lg": "Nawandiikira omukulembeze w'ekyalo ebbaluwa naye ssaafuna kuddibwamu." }
3920
{ "en": "A new toilet is under construction at the old taxi park.", "lg": "Kaabuyonjo empya eri mu kuzimbibwa ku paaka enkadde." }
3921
{ "en": "Taxi drivers operating in the new taxi park are demonstrating over their savings.", "lg": "Abavuzi b'emmotoka ezisaabaza abantu abakolera mu paaka empya bali mu kwekalakaasa olw'ensimbi zaabwe eziterekebwa." }
3922
{ "en": "Doctors in Uganda are demanding for salary increment.", "lg": "Abasawo mu Uganda basaba kwongezebwa omusaala." }
3923
{ "en": "I work too hard, but am paid so little.", "lg": "Nkola nnyo naye nsasulwa kitono." }
3924
{ "en": "I haven't had a pay raise in three years.", "lg": "Sifunanga kwongezebwa ku musaala mu myaka esatu." }
3925
{ "en": "The district leaders have not responded to our demands.", "lg": "Abakulembeze ba disitulikiti tebannaba kutuddamu ku byetaago byaffe." }
3926
{ "en": "Top politicians are paid more money compared to the other civil servants.", "lg": "Bannabyabufuzi aba waggulu basasulwa ssente nnyingi bw'ogeraageranya ku bakozi ba gavumenti abalala." }
3927
{ "en": "There is a delay in salary payment for this month.", "lg": "Waliwo okulwa mu kusasula omusaala gw'omwezi guno." }
3928
{ "en": "We sometimes go as far as five months without getting a salary.", "lg": "Ebiseera ebimu tugendera ddaala mu myezi etaano nga tetunnafuna musaala." }
3929
{ "en": "Getting less paid hinders the execution of our duties.", "lg": "Okufuna omusaala omutono kitulemesa okutuukiriza obulungi emirimu gyaffe." }
3930
{ "en": "There is a percentage of money councilors are to receive every month.", "lg": "Waliwo omutemwa gwa ssente ba kansala gwe balina okufuna buli mwezi." }
3931
{ "en": "Political leaders are a voice to the voiceress.", "lg": "Abakulembeze b'ebyobufuzi b'eddoboozi ly'abo abatasobola kwe yogerera." }
3932
{ "en": "Is equal pay a human right?", "lg": "Okusasula ekyenkanyi ddembe lya buntu?" }
3933
{ "en": "Culture increases over all well being of both individuals and communities.", "lg": "Ebyobuwangwa bye yongera ku lw'abantu wamu n'ebitundu okubeera obulungi." }
3934
{ "en": "Uganda has many tribes that speak different languages.", "lg": "Uganda erina amawanga mangi agoogera ennimi ez'enjawulo." }
3935
{ "en": "Culture is an important shaper in our personality.", "lg": "Ebyobuwangwa bya mugaso mu kuzimba obw'omuntu" }
3936
{ "en": "One culture may not work in another culture.", "lg": "Eky'obuwangwa kiyinza obutakola mu byobuwangwa ebirala." }
3937
{ "en": "The leader was speaking at the cultural gala held every year.", "lg": "Omukulembeze yabadde ayogerera ku kivvulu ky'ebyobuwangwa ekikolebwa buli mwaka." }
3938
{ "en": "All cultural leaders around the district attended the cultural gala.", "lg": "Abakulembeze b'ennono okwetoloola disitulikiti beetabye mu kivvulu ky'ebyobuwangwa." }
3939
{ "en": "The minister targeted schools as entry points for cultural interventions.", "lg": "Minisita yaluubirira masomero nga ebifo eby'okwogera ku byobuwangwa." }
3940
{ "en": "The Queen mother is committed to ending early marriages.", "lg": "Nnaabakyala yeewaaddeyo okumalawo okufumbirwa kw'abaana abatanneetuuka." }
3941
{ "en": "All kingdoms in Uganda should be united as one.", "lg": "Obwakabaka bwonna mu Uganda bulina okwegatta okuba obumu." }
3942
{ "en": "Some young people don't know some cultural beriefs.", "lg": "Abantu abato abamu tebamanyi bya buwangwa ebimu." }
3943
{ "en": "Various subjects in schools promote and enhance the learning culture.", "lg": "Amasomo mangi mu masomero gatumbula n'okulinyisa ebyobuwangwa." }
3944
{ "en": "At the party, the youths got excited when they tuned in to Western music.", "lg": "Abavubuka baakyamuukiridde bwe baataddeeko ennyimba z'ebweru ku party." }
3945
{ "en": "Through culture we get an insight on where we come from.", "lg": "Mu byobuwangwa, tufuna okutangaazibwa ku wa gye tuva." }
3946
{ "en": "The king urged the community to preserve their culture.", "lg": "Kabaka yakubirizza abantu bakuume ebyobuwangwa byabwe." }
3947
{ "en": "The best way of preserving our culture is to keep it alive.", "lg": "Engeri ennungi ey'okukuumamu ebyobuwangwa kwe kubikuuma nga biramu." }
3948
{ "en": "What should the government do to preserve our culture?", "lg": "Gavumenti eteekeddwa kola ki okukuuma ebyobuwangwa byaffe?" }
3949
{ "en": "This year the cultural gala competitions will be held at our University.", "lg": "Omwaka guno ekivvulu ky'ebyobuwangwa kijja kubeera ku ssentendekero waffe." }
3950
{ "en": "Through culture, I can prepare my children for a successful future.", "lg": "Nsobola okutegeka abaana bange okufuna ebiseera by'omu maaso ebitangaavu okuyita mu byobuwangwa." }
3951
{ "en": "Culture is a necessity for all human development .", "lg": "Ebyobuwangwa byetaagisibwa mu kulaakulana kw'omuntu." }
3952
{ "en": "We celebrate cultural, traditional holidays and festivals every year.", "lg": "Tujjaguza ebyobuwangwa, nnaku z'obuwangwa n'ebikujjuko buli mwaka." }
3953
{ "en": "In Uganda, kingdoms have helped in improving health care and building schools.", "lg": "Obwakabaka buyambye mu kulongoosa ebyobulamu n'okuzimba amasomero mu Uganda." }
3954
{ "en": "The people in community loved and respected their culture.", "lg": "Abantu mu kitundu baayagala era ne bawa obuwangwa bwabwe ekitiibwa." }
3955
{ "en": "Kingdoms are fighting to reduce poverty in liverihoods these days.", "lg": "Obwakabaka bulwana okukendeeza obwavu mu bantu nnaku zino." }
3956
{ "en": "Local leaders have encouraged people to make healthier food choices.", "lg": "Abakulembeze b'ebyalo bakubirizza abantu okulya emmere egasa omubiri." }
3957
{ "en": "He sensitized communities to the problem of poor hygiene.", "lg": "Yasomesezza abantu ku buzibu bw'obuteyonja." }
3958
{ "en": "The doctor said; Your son is stunned he may never regain the height lost.", "lg": "Omusawo yagamba; mutabani wo yawuniikirira ayinza obutaddamu kufuna buwanvu bwe yafiirwa." }
3959
{ "en": "Malnutrition puts children's lives and future at risk.", "lg": "Endya embi eteeka obulamu n'ebiseera by'abaana eby'omu maaso mu matigga." }
3960
{ "en": "The doctor encouraged us to eat fruits and vegetables.", "lg": "Omusawo yatukubiriza okulya ebibala n'enva endiirwa." }
3961
{ "en": "The government is working hand in hand with organizations to fight malnutrition.", "lg": "Gavumenti ekolera wamu n'ebitongole okulwanyisa endya embi." }
3962
{ "en": "The project has currently begun in Northern Uganda.", "lg": "Pulojekiti etandise mu bukiikakkono bwa Uganda." }
3963
{ "en": "Irrigation systems help farmers to water their crops during dry season.", "lg": "Omuyungiro ogufukirira amazzi guyamba abalimi n'abalunzi okufukirira ebimera byabwe mu kaseera k'ekyeya." }
3964
{ "en": "The youths are encouraged to make vegetable gardens.", "lg": "Abavubuka bakubiriziddwa okukola ennimiro z'enva endiirwa." }
3965
{ "en": "The community is able to get the food cheaply since it is grown locally.", "lg": "Ekitundu kisobola okufuna emmere ku layisi olw'okuba erimibwa ku kyalo." }
3966
{ "en": "The rates of malnutrition among children have decreased.", "lg": "Omuwendo gw'abaana abakosebwa endya embi gukendedde." }
3967
{ "en": "The organization encourages people to eat healthy food.", "lg": "Ekitongole kikubiriza abantu okulya emmere egasa omubiri." }
3968
{ "en": "What is the benefit of antenatal care to both mother and the baby?", "lg": "Mugaso ki oguli mu kukyalira eddwaliro eri omukyala ali olubuto n'omwana ali mu lubuto?" }
3969
{ "en": "Local leaders are sensitizing pregnant mothers to always go for antenatal care.", "lg": "Abakulembeze b'ebyalo basomesa abakyala abali embuto okugendanga okwekebeza mu ddwaliro." }
3970
{ "en": "The reconstruction of Kasubi tombs begins today.", "lg": "Okuddamu okuzimba amasiro g'e Kasubi kutandika leero." }
3971
{ "en": "It is always good to monitor and evaluate a project.", "lg": "Kirungi okulondoolanga n'okwekaliriza pulojekiti." }
3972
{ "en": "All cultural sites in Uganda belong to specific kingdoms.", "lg": "Ebifo byobuwangwa byonna mu Uganda bigwa mu bwakaba obw'enjawulo." }
3973
{ "en": "The government has allocated funds to the restoration of historical sites.", "lg": "Gavumenti etaddewo ensimbi mu kuzzaawo ebifo by'ebyafaayo." }
3974
{ "en": "The organization is specialized in conservation and restoration of cultural heritage", "lg": "Ekitongole kikugu mu kutereka n'okuzzaawo obulombolombo bw'obuwangwa." }
3975
{ "en": "There are a variety of cultural sites in Uganda.", "lg": "Waliwo ebifo by'ebyobuwangwa eby'enjawulo mu Uganda." }
3976
{ "en": "The leaders are promoting gender equality to prevent violence against women.", "lg": "Abakulembeze bali mu kutumbula omwenkanonkano mu kikula ky'abantu okusobola okwewala okutulugunyizibwa mu bakazi." }
3977
{ "en": "Men and women are not treated as equals.", "lg": "Abasajja n'abakazi tebayisibwa kye nkanyi." }
3978
{ "en": "Some wives think they are superior to their husbands.", "lg": "Abakyala abamu baalowooza bali waggulu ku baami baabwe." }
3979
{ "en": "Nowadays the number of single mothers in the country has risen.", "lg": "Ebiro bino omuwendo gwa bamaama abataymbibwa b taata b'abaana gwe yongedde mu ggwanga." }
3980
{ "en": "Men should take care of their homes.", "lg": "Abasajja bateekeddwa okulabirira amaka gaabwe." }
3981
{ "en": "We sit around the fireplace with our mother and discuss a lot of issues.", "lg": "Tutuula ku kyoto ne maama waffe ne tukubaganya ebirowoozo ku nsonga nnyingi." }
3982
{ "en": "Leaders have gained a lot of money from the women's projects.", "lg": "Abakulembeze bafunye ssente nnyingi okuva mu pulojekiti z'abakyala." }
3983
{ "en": "Both men and women have their own roles to play in a home.", "lg": "Abasajja n'abakazi bombi balina obuvunaanyizibwa bwabwe mu maka." }
3984
{ "en": "Women can do the same work as men.", "lg": "Abakazi basobola okukola emirimu gy'egimu nga abasajja." }
3985
{ "en": "Girls are taught how to take care of a home once they are married.", "lg": "Abawala batendekebwa engeri y'okulabiriramu amaka nga bafumbiddwa." }
3986
{ "en": "Traditional culture is not taught it is caught.", "lg": "Ebyobuwangwa tebisomesebwa wabula bikwatibwa." }
3987
{ "en": "It is important to focus your efforts on working to earn a living.", "lg": "Kya mugaso okuteeka obusobozi bwo mu kukola okusobola okwebezaawo." }
3988
{ "en": "The leader used the money for his own benefit.", "lg": "Omukulembeze yeeyambisizza ensimbi mu bintu ebiyamba ye ng'omuntu." }
3989
{ "en": "There is a specific amount of money we are supposed to pay every month.", "lg": "Waliwo omuwendo gw'ensimbi gwe tulina okusasula buli mwezi." }
3990
{ "en": "There is misappropriation of funds among leaders today.", "lg": "Waliwo enneeyambisa y'ensimbi etali ntuufu mu bakulembeze ba leero." }
3991
{ "en": "We need to know if our money is being well used.", "lg": "twetaaga okumanya oba ssente zaffe zikozesebwa bulungi." }
3992
{ "en": "The market leader denied the allegations.", "lg": "Omukulembeze w'akatale yeegaanye ebimujwetekebwako." }
3993
{ "en": "He used the money to add capital in his business.", "lg": "Yakozesa ssente okwongera entandikwa mu bizinesi ye." }
3994
{ "en": "He was found guilty and arrested for misusing the market funds.", "lg": "Yasingiddwa omusango era n'akwatibwa lwa kukozesa bubi ssente z'akatale." }
3995
{ "en": "Some leaders are Selfish and money minded.", "lg": "Abakulembeze abamu beefaako bokka ate bakulembeza ssente." }
3996
{ "en": "We should work as a team for the development of our market.", "lg": "Tuteekeddwa okukolera awamu kulw'okukulaakulana kw'akatale kaffe." }
3997
{ "en": "The district leader has employed a new watchman in the market.", "lg": "Omukulembeze wa disitulikiti awadde omukuumi omupya omulimu mu katale." }
3998
{ "en": "The traders were united by the government.", "lg": "Abasuubuzi baagatibwa gavumenti." }
3999