translation
dict
id
stringlengths
1
4
{ "en": "The president has ordered closure of all borders.", "lg": "Pulezidenti alagidde okuggala ensalo zonna." }
3800
{ "en": "There is timber movement and trade at the border points.", "lg": "Waliwo okutambuza n'okusuubula embaawo ku nsalo." }
3801
{ "en": "He was arrested for smuggling goods.", "lg": "Yakwatibwa lwa kukukusa byamaguzi." }
3802
{ "en": "The village leader denied all allegations.", "lg": "Omukulembeze w'ekyalo yeegaana ebyoogerebwa byonna." }
3803
{ "en": "The authorities are aware of timber trade at border points.", "lg": "Ab'obuyinza bamanyi ku busuubuzi bw'embaawo ku nsalo." }
3804
{ "en": "Timber trade provides revenue for the country.", "lg": "Okusuubula embaawo kuleetera omusolo mu ggwanga." }
3805
{ "en": "The borders were closed to keep coronavirus out of the country.", "lg": "Ensalo zaggalwa okukuumira akawuka ka kolona ebweru w'eggwanga." }
3806
{ "en": "Only two people were supposed to move in the trucks during the lockdown.", "lg": "Abantu babiri bokka be baali bakkirizibwa okutambulira mu zi loore mu biseera by'omuggalo." }
3807
{ "en": "Many business activities are carried out in that town.", "lg": "Bizinensi nnyingi ezikolebwa mu kibuga ekyo." }
3808
{ "en": "We were abruptly terminated from work.", "lg": "twasalibwako ku mulimu mu bunnambiro." }
3809
{ "en": "The twenty six year old woman was arrested for allegedly defiling a boy.", "lg": "Omukazi ow'emyaka abiri mu omukaaga yakwatiddwa lwa ku mulenzi atanneetuuka." }
3810
{ "en": "She is a permanent resident in our village.", "lg": "Mutuuze wa nkalakkalira ku kyalo kyaffe." }
3811
{ "en": "She was stoned to death by an angry mob.", "lg": "Abatwalira amateeka mu ngalo baamukuba amayinza okutuusa lwe yafa." }
3812
{ "en": "All defilement cases were handled by the central police.", "lg": "Emisango gy'okusobya ku batanneetuuka gyakoleddwako poliisi y'omu masekkati." }
3813
{ "en": "The journalist was killed while covering the protests.", "lg": "Munnamawulire yattiddwa ng'akwata okwekalakaasa." }
3814
{ "en": "She was arrested and held in custody by police.", "lg": "Yakwatiddwa n'aggalirwa mu kaduukulu ka poliisi." }
3815
{ "en": "Defilement cases are increasing these days.", "lg": "Emisango gy'okusobya ku baana abatanneetuuka gyeyongera nnaku zino." }
3816
{ "en": "Can you imagine a father defiling her own daughter?", "lg": "Oyinza okukikkiriza taata okusobya ku muwala we atanneetuuka?" }
3817
{ "en": "The community condemned his bad acts.", "lg": "Abantu baavumiridde ebikolwa bye ebibi." }
3818
{ "en": "After committing the crime, he went into hiding.", "lg": "Olwamala okuzza omusango ne yeekweka." }
3819
{ "en": "Parents are legally required to support their minor children.", "lg": "Abazadde mu mateeka basabibwa okuyamba ku baana baabwe abato." }
3820
{ "en": "People should maintain social distancing in public places.", "lg": "Abantu balina okwewa amabanga nga bali mu bifo ebikungaanirwamu abantu abangi." }
3821
{ "en": "During the lockdown, prices of some food items were high.", "lg": "Mu biseera by'omuggalo, emiwendo gy'ebintu ebimu gyali waggulu." }
3822
{ "en": "Since the lockdown started, market vendors have been sleeping in the market.", "lg": "Okuva omuggalo lwe gwatandika, abatembeeyi b'omu katale babadde basula mu katale." }
3823
{ "en": "You can boost your immune system by eating fruits to fight off coronavirus .", "lg": "Osobola okwongera ku basirikale b'omu mubiri gwo ng'olya ebibala okulwanyisa akawuka ka kolona." }
3824
{ "en": "The coronavirus is spread from person to person.", "lg": "Akawuka ka kolona kasaasaanyizibwa okuva ku muntu omu okudda ku mulala." }
3825
{ "en": "Some markets were closed during the pandemic lockdown.", "lg": "Obutale obumu bwaggalwa mu biseera by'omuggalo gw'ekirwadde bbunansi." }
3826
{ "en": "The pandemic outbreak affected businesses in Uganda.", "lg": "Okubalukawo kw'ekirwadde bbunansi kwakosa bizinensi mu Uganda." }
3827
{ "en": "Shops selling general merchandise were allowed to open during the lockdown.", "lg": "Amaduuka agatunda chakalachakala gakkirizibwa okuggulangawo mu biseera by'omuggalo." }
3828
{ "en": "Poor households in rural areas rery more on small grocery stores.", "lg": "Amaka amaavu mu byalo geesigama nnyo ku budduuka obutono." }
3829
{ "en": "During the lockdown, food shops and supermarkets were allowed to operate.", "lg": "Mu biseera by'omuggalo, amaduuka agatunda eby'okulya ne zi ssemaduuka zakkirizibwa okukola." }
3830
{ "en": "Many schools lacked basic hand washing facilities", "lg": "Amasomero mangi gaali tegalina bikozesebwa mu kunaaba mu ngalo." }
3831
{ "en": "Three hands washing facilities should be put on that congested market.", "lg": "Ebikozesebwa okunaaba mu ngalo bisatu birina okuteekebwa mu katale ako akalimu abantu abangi." }
3832
{ "en": "Teachers turned to making coffins for survival since the closure of schools.", "lg": "Abasomesa baatandika okukola ssanduuko z'abafu okusobola okwebeezaawo okuva amasomero lwe gaggalawo." }
3833
{ "en": "Religious leaders can help to stop the spread of coronavirus .", "lg": "Abakulu b'edddiini basobola okuyambako mu kutangira okusaasaana kw'akawuka ka kolona." }
3834
{ "en": "The pandemic is a serious threat, we need to prepare for it.", "lg": "Ekirwadde bbunansi kya ntiisa nnyo, twetaaga okukyetegekera." }
3835
{ "en": "The church wants my son to consider priesthood.", "lg": "Ekkanisa eyagala mutabani wange abeere omusumba." }
3836
{ "en": "Some residents refused the priest's order.", "lg": "Abatuuze abamu baagaana ekiragiro ky'omusumba." }
3837
{ "en": "They laughed and mocked him because they thought he was crazy.", "lg": "Baaseka ne bamukyookooza kubanga baalowooza tategeera." }
3838
{ "en": "The village leaders were surprised by his words and actions.", "lg": "Abakulembeze b'ekyalo beeewuunya ebigambo n'ebikolwa bye." }
3839
{ "en": "coronavirus infections have increased country wide.", "lg": "Okukwatibwa kw'akawuka ka kolona kweyongedde nnyo mu nsi yonna." }
3840
{ "en": "There are new funeral directives due to the pandemic.", "lg": "Waliwo ebiragiro by'okuziika ebipya olw'ekirwadde bbunansi." }
3841
{ "en": "There are a number of companies dealing with funeral services in Uganda.", "lg": "Akkampuni gawerako agakola ku by'okuziika mu Uganda." }
3842
{ "en": "Individuals around the world have lost family members due to coronavirus .", "lg": "Abantu okwetooloola ensi bafiiriddwako ab'enganda zaabwe olw'akawuka ka kolona." }
3843
{ "en": "coronavirus outbreak is not a cause for panic, it is a cause for action.", "lg": "Okubalukawo kw'akawuka ka kolona tekwetaagisa kupapa, kwetaagisa bikolwa." }
3844
{ "en": "At eight months, the baby died of coronavirus .", "lg": "Ku myezi munaana, omwana yafudde akawuka ka kolona." }
3845
{ "en": "Other countries have successfully controlled the coronavirus .", "lg": "Ensi endala zisobodde okutangira akawuka ka kolona." }
3846
{ "en": "There was no legal requirement to pay the councilors.", "lg": "Tewaaliwo kyetaago kya mateeka kusasula bakansala." }
3847
{ "en": "She did it as a favor to take those books.", "lg": "Yakikola ng'ekisa okutwala ebitabo ebyo." }
3848
{ "en": "All the business activities came to a standstill because of their actions.", "lg": "Bizinensi zonna zaayimirira olw'ebikolwa byabwe." }
3849
{ "en": "Local council one chairpersons will not get salaries this month.", "lg": "Bassentebe b'obukiiko bw'ebyalo tebajja kufuna musaala omwezi guno." }
3850
{ "en": "Doctors at the main hospital seek twenty million Uganda shillings in unpaid salary arrears.", "lg": "Abasawo ku ddwaliro ekkulu baagala obukadde bw'ensimbi amakumi abiri obwa Uganda ezitannabaweebwa ku musaala gwaabwe ezisooka." }
3851
{ "en": "They have delayed paying last monthÕs salary.", "lg": "Baluddewo okusasula omusaala gw'omwezi oguwedde." }
3852
{ "en": "We won't stop complaining until our salaries are paid.", "lg": "Tetujja kukomya kwemulugunya okutuusa ng'emisaala gyaffe gisasuddwa." }
3853
{ "en": "Council members need to understand the views of people they represent.", "lg": "Bammemba b'akakiiko beetaaga okutegeera ebirowoozo by'abantu be bakiikira" }
3854
{ "en": "The company has not denied the allegations of not paying the employees' salaries.", "lg": "Kkampuni teyeegaanye byogerebwa ku butasasula misaala gya bakozi baayo." }
3855
{ "en": "Patience pains but gains.", "lg": "Obugumiikiriza buluma naye busasula." }
3856
{ "en": "Some leaders share their decisions with the community.", "lg": "Abakulembeze abamu babuulira abantu bye basazeewo." }
3857
{ "en": "Your services are highly needed in our community.", "lg": "Okuweereza bwo bwetaagibwa nnyo mu kitundu kyaffe." }
3858
{ "en": "Leaders need to be paid their salaries for a smooth work flow.", "lg": "Abakulembeze beetaaga okusasulwa amagu emisaala gyabwe okusobola okutambuza obulungi emirimu." }
3859
{ "en": "They will be paid in the next financial year.", "lg": "Bajja kusasulwa mu mwaka gw'ebyensimbi ogujja." }
3860
{ "en": "During the lockdown, weddings and customary ceremonies were banned.", "lg": "Mu biseera by'omuggalo, embaga n'emikolo gy'obuwangwa byawerebwa." }
3861
{ "en": "Brides and grooms are holding small-scale events known as scientific weddings.", "lg": "Abagole abasajja n'abakyala bakolawo emikolo emitono egiyitibwa embaga za ssaayansi." }
3862
{ "en": "I will postpone my traditional wedding until next year due to the pandemic outbreak.", "lg": "Nja kwongezaayo embaga yange ey'obuwangwa okutuusa omwaka ogujja olw'okubalukawo kw'ekirwadde bbunansi." }
3863
{ "en": "Traditional healers demand permits to operate.", "lg": "Abasawo b'ekinnansi beetaaga olukusa okukola." }
3864
{ "en": "People are taking advantage of the president's directives.", "lg": "Abantu bakozesa omukisa gw'ebiragiro bya pulezidenti." }
3865
{ "en": "Traditional leaders have also helped in the fight against coronavirus .", "lg": "Abasawo b'ekinnansi nabo bayambyeko mu kulwanyisa akawuka ka kolona." }
3866
{ "en": "The community is urged to follow the directives to stop the spread of the virus.", "lg": "Abantu bakubirizibwa okugoberera ebiragiro okukomya okusaasaana kw'akawuka." }
3867
{ "en": "Some people don't take the coronavirus serious.", "lg": "Abantu abamu tebatwala kawuka ka kolona ng'ekikulu." }
3868
{ "en": "Stay at home to avoid the spread of the coronavirus .", "lg": "Musigale awaka okuziyiza okusaasaana kw'akawuka ka kolona." }
3869
{ "en": "Sanitize your hands germs are everywhere.", "lg": "Naaba mu ngalo zo n'eddagala eritta obuwuka kubanga obuwuka buli buli wamu." }
3870
{ "en": "The lockdown has resulted in loss of businesses.", "lg": "Omuggalo guviiriddeko okufiirwa bizinensi." }
3871
{ "en": "There was an increase in prices of basic food Staples during the lockdown.", "lg": "Waaliwo okulinnya kw'emiwendo gy'emmere eya bulijjo mu biseera by'omuggalo." }
3872
{ "en": "There is a pandemic outbreak in Uganda.", "lg": "Waliwo okubalukawo kw'ekirwadde bbunansi mu Uganda." }
3873
{ "en": "The hospital contractor was given forty days to complete the construction project.", "lg": "Eyaweebwa ttenda y'eddwaliro yaweebwa nnaku ana okumaliriza pulojekiti y'okuzimba." }
3874
{ "en": "The contractor didn't finish the project because the company had got short of funds.", "lg": "Eyaweebwa ttenda teyamaliriza pulojekiti kubanga Kkampuni yali eggwereddwako ssente." }
3875
{ "en": "Construction of secondary schools in our village is at a standstill.", "lg": "Omulimu gw'okuzimba essomero lya ssekendule mu kyalo kyaffe kuyimiridde." }
3876
{ "en": "The district leader set conditions which the company agreed to adhere .", "lg": "Omukulembeze wa disitulikiti yateekawo obukwakkulizo Kkampuni bwe yakkiriza okutuukiriza." }
3877
{ "en": "They constructed the school at a low pace.", "lg": "Essomero baalizimba mpola mpola." }
3878
{ "en": "It is his job to monitor and supervise the ongoing project.", "lg": "Mulimu gwe okulondoola pulojekiti ezigenda mu maaso." }
3879
{ "en": "Those contractors didn't have the work skills and experience.", "lg": "Abaaweebwa ttenda abo tebaalina bukugu na bumanyirivu." }
3880
{ "en": "Many children have lost their lives in the intensive care unit.", "lg": "Abaana bangi bafiiriddwa obulamu bwabwe mu kasenge awajjanjabirwa abayi." }
3881
{ "en": "The organization has donated laboratory equipments to our main hospital.", "lg": "Ekitongole kiwaddeyo ebikozesebwa mu kkebejjerero mu ddwaliro lyaffe ekkulu." }
3882
{ "en": "Her son was born at six months and he was put in an incubator.", "lg": "Mutabani we yazaalibwa ku myezi mukaaga n'abikkibwa mu kyuma." }
3883
{ "en": "The hospital has only two incubators, yet the number of premature babies is high.", "lg": "Eddwaliro lirina ebyuma ebibikka abaana abaazaalibwa tebannatuuka babiri kyokka omuwendo gw'abaana abazaalibwa nga tebannatuuka guli waggulu." }
3884
{ "en": "Infections during pregnancy can lead to fetal death.", "lg": "Okulwala ng'oli lubuto kisobola okuviirako omwana ali mu lubuto okufa." }
3885
{ "en": "New born babies need intensive medical care.", "lg": "Abaana abaakazaalibwa beetaaga obujjanjabi obulungi ennyo." }
3886
{ "en": "That hospital lacks intensive care unit specialists.", "lg": "Eddwaliro teririna bakugu mu bakola mu kasenge k'abayi." }
3887
{ "en": "Babies born too early have higher rates of death and disability.", "lg": "Abaana abazalibwa nga tebannatuusa bafa nnyo n'okufuna obulemu." }
3888
{ "en": "Yesterday night, a set of twins were born prematurery.", "lg": "Ekiro ky'eggulo, abalongo baazaaliddwa nga tebanneetuuka." }
3889
{ "en": "I am too happy that the babies survived death.", "lg": "Ndi musanyufu nnyo nti abaana baasobodde okuwona okufa." }
3890
{ "en": "The teachers in that district are unhappy over delayed salary payments.", "lg": "Abasomesa mu disitulikiti eyo si basanyufu olw'omusaala oguluddewo." }
3891
{ "en": "The Uganda museum has exhibits of traditional culture.", "lg": "Ekkaddiyizo lya Uganda lirina ebyobuwangwa." }
3892
{ "en": "Uganda is truly abundantly blessed by nature.", "lg": "Mu butuufu Uganda yatondwa n'obutonde obulungi." }
3893
{ "en": "When we destroy cultural sites it's an attack on humanity's past.", "lg": "Bwe tusaanyawo ebifo byobuwangwa kuba kusaanyaawo ebintu eby'edda." }
3894
{ "en": "Tourists came to Uganda to visit Sezibwa falls.", "lg": "Abalambuzi bajja mu Uganda okulaba ebiyiriro bya Sezibwa." }
3895
{ "en": "Cultural sites are a must visit for tourists every year.", "lg": "Ebifo byobuwangwa abalambuzi balina okubikyalira buli mwaka." }
3896
{ "en": "We have the maps showing traditional kingdoms of Uganda.", "lg": "Tulina mmaapu eraga obwakabaka obuli mu Uganda." }
3897
{ "en": "Proper documentation is to effective protection of sites.", "lg": "Obuwandiike obulungi ngeri ennyangu ey'okukuumamu ebifo." }
3898
{ "en": "The Queen of Buganda has expressed concern over the rising number of teenage pregnancies.", "lg": "Nnaabakyala wa Buganda alaze okufaayo ku muwendo gw'abattiini abafuna embuto ogulinnya." }
3899