translation
dict | id
stringlengths 1
5
|
---|---|
{
"en": "The youth provide the largest proportion of the active labour force.",
"lg": "Abavubuka be bakola ekitundutundu ekinene eky'abakozi."
} | 2300 |
{
"en": "persuasion",
"lg": "use inf. of v. foreg."
} | 2301 |
{
"en": "The security personnel must distinguish themselves from the people.",
"lg": "Abeebyokwerinda balina okweyawula ku bantu."
} | 2302 |
{
"en": "When transferred to a new school, the teacher could be affected negatively or positively.",
"lg": "Bw'osindikibwa ku ssomero epya, omusomesa asobola okukosebwa mu bulungi oba mu bubi."
} | 2303 |
{
"en": "adversary",
"lg": "omulwanyi."
} | 2304 |
{
"en": "greet",
"lg": "okulamusa"
} | 2305 |
{
"en": "They launched their manifesto yesterday.",
"lg": "Baatongozza manifesito yaabwe eggulo."
} | 2306 |
{
"en": "repudiate",
"lg": "okugaana"
} | 2307 |
{
"en": "He was arrested for drunk driving after the accident.",
"lg": "Yasibiddwa olw'okuvuga nga mutamiivu oluvannyuma lw'akabenje."
} | 2308 |
{
"en": "The church is calling people to partner with it.",
"lg": "Ekkanisa eyita abantu okukwatagana nayo"
} | 2309 |
{
"en": "fume (be vexed)",
"lg": "okuloma; give off fumes"
} | 2310 |
{
"en": "locust",
"lg": "kalusejjera."
} | 2311 |
{
"en": "Who is in charge of issuing road maps?",
"lg": "Ani alina obuvunaanyizibwa bw'okufulumya enteekateeka z'okugoberera?"
} | 2312 |
{
"en": "burst",
"lg": "okutuumuuka."
} | 2313 |
{
"en": "What happens in council meetings?",
"lg": "Ki ekibeera mu nkiiko za kanso?"
} | 2314 |
{
"en": "quarter",
"lg": "erobo"
} | 2315 |
{
"en": "The hand over ceremony shall take place on Sunday.",
"lg": "Omukolo gw'okuwaayo obukulembeze gujja kubaayo ku Sande."
} | 2316 |
{
"en": "The land in the game reserve will be used for farming.",
"lg": "Ettaka mu kkuumiro ly'ebisolo lijja kukozesebwa mu kulima."
} | 2317 |
{
"en": "infuse",
"lg": "okutabulatabula."
} | 2318 |
{
"en": "Laws and procedures must be followed.",
"lg": "Amateeka n'emitendera birina okugobererwa."
} | 2319 |
{
"en": "The cows will improve the livelihoods of the people in the society.",
"lg": "Ente zijja kulongoosa obulamu bw'abantu mu kitundu."
} | 2320 |
{
"en": "defecate",
"lg": "okweyabya"
} | 2321 |
{
"en": "Educated people are more successful than the uneducated.",
"lg": "Abaasoma bali bulungi nnyo okusinga abataasoma."
} | 2322 |
{
"en": "She is always smelling good.",
"lg": "Buli kaseera abeera awunya bulungi."
} | 2323 |
{
"en": "The Christians believe this is a once in a lifetime opportunity.",
"lg": "Abakrisitaayo bakkiriza nti guno omukisa guba gumu mu bulamu."
} | 2324 |
{
"en": "Educate communities about the existing diseases.",
"lg": "Somesa ebitundu ku ndwadde eziriwo."
} | 2325 |
{
"en": "complacent",
"lg": "teefu."
} | 2326 |
{
"en": "The police have a duty of protecting people during the riots.",
"lg": "Poliisi erina omulimu gw'okukuuma abantu mu bwegugungo."
} | 2327 |
{
"en": "People will be displaced from the area.",
"lg": "Abantu bajja kusengulwa okuva mu kitundu."
} | 2328 |
{
"en": "threat",
"lg": "okukanga"
} | 2329 |
{
"en": "gourd",
"lg": "akatundwe. govern"
} | 2330 |
{
"en": "What are some of the environmental problems?",
"lg": "Bizibu ki ebimu ku bintu ebitwetoolodde?"
} | 2331 |
{
"en": "Uganda has the highest school dropout in East Africa.",
"lg": "Uganda yeesinza abaana abangi abawanduka mu masomero mu East Africa"
} | 2332 |
{
"en": "Next year I shall participate in the charity run.",
"lg": "Omwaka ogujja nja kwetaba mu kudduka kw'okusonda ensimbi z'okuyamba abataliinaako mwasirizi"
} | 2333 |
{
"en": "Some returnees in September had COVID-19.",
"lg": "Abantu abamu abaakomawo okuva mu mwezi gwomwenda baalina obulwadde bwa ssenyiga omukambwe."
} | 2334 |
{
"en": "The government spoke about the increasing number of crime activities",
"lg": "Gavumenti yayogedde ku muwendo gw'emisango ogweyongera"
} | 2335 |
{
"en": "pitcher",
"lg": "omudumu"
} | 2336 |
{
"en": "There is more stability in Uganda than in other countries.",
"lg": "Obutebenkevu bungi mu Uganda okusinga mu nsi endala."
} | 2337 |
{
"en": "The high interest rates charged on loans discourage business activities.",
"lg": "Amagoba amangi agasabibwa ku ssente eziwolebwa galemesezza emirimu gya bizinensi."
} | 2338 |
{
"en": "kindle",
"lg": "okukoleeza; be kindled (anger)"
} | 2339 |
{
"en": "ail",
"lg": "okulwalalwala."
} | 2340 |
{
"en": "Lazy workers should be penalized.",
"lg": "Abakozi abanafu balina okubonerezebwa."
} | 2341 |
{
"en": "coronavirus updates show that the number of cases is rising daily.",
"lg": "Ebipya ku kawuka ka kolona biraga nti omuwendo gw'abalina akawuka gweyongera okulinnya buli lunaku."
} | 2342 |
{
"en": "Farmers will acquire capital and income.",
"lg": "Abalimi bajja kufuna entandikwa n'ensimbi."
} | 2343 |
{
"en": "There are still loopholes in the registration of sim cards.",
"lg": "Wakyaliwo emiwaatwa mu kuwandiisa layini z'amasimu."
} | 2344 |
{
"en": "responsibility",
"lg": "obuvunaanyi."
} | 2345 |
{
"en": "Uganda hosts refugees from neighboring countries.",
"lg": "Uganda ebudamya abanoonyiboobubudamu okuva mu mawanga agagiriraanye."
} | 2346 |
{
"en": "destitute",
"lg": "okudaaga; be come d."
} | 2347 |
{
"en": "unfriendly",
"lg": "si a mukwano."
} | 2348 |
{
"en": "fibre (plantain)",
"lg": "kansambwe"
} | 2349 |
{
"en": "equal",
"lg": "be"
} | 2350 |
{
"en": "The number of ordained priests increased to two hundred.",
"lg": "Omuwendo gw'abasumba abaatikiddwa baabweze ebikumi bibiri."
} | 2351 |
{
"en": "Is equal pay a human right?",
"lg": "Okusasula ekyenkanyi ddembe lya buntu?"
} | 2352 |
{
"en": "Lake Albert border leaders have agreed to jointly handle constant Ebola and cholera outbreaks.",
"lg": "Abakulembeze ku mbalama z'ennyanja Muttanzige bakkiriza okukolera awamu okuziyiza okubalukawo kw'obulwadde bwa Kolera ne Ebola."
} | 2353 |
{
"en": "discreet",
"lg": "be"
} | 2354 |
{
"en": "The winner has not been announced yet.",
"lg": "Omuwanguzi tannaba kulangirirwa."
} | 2355 |
{
"en": "run",
"lg": "okuvuma."
} | 2356 |
{
"en": "The ruling political party is the one in power.",
"lg": "Ekibiina ekifuga kye kiri mu buyinza."
} | 2357 |
{
"en": "hungry",
"lg": "okulumwa enjala; vide kagomba."
} | 2358 |
{
"en": "perverse",
"lg": "a mputtu"
} | 2359 |
{
"en": "He was arrested and taken to prison.",
"lg": "Yakwatibwa n'atwalibwa mu kkomera."
} | 2360 |
{
"en": "The department of Communications and Information management successfully provided E-learning solutions to seven hundred secondary schools",
"lg": "Ekitongole ky'ebyempuliziganya kisobodde okugonjoola okusoomoozebwa kw'okusomera ku mutimbagano kwa masomero ga sekendule lusanvu."
} | 2361 |
{
"en": "precede",
"lg": "okwetanga."
} | 2362 |
{
"en": "flower",
"lg": "akanuunu"
} | 2363 |
{
"en": "Consultations help us make guided decisions.",
"lg": "Okwebuuza kutuyamba okukola okusalawo okulungi."
} | 2364 |
{
"en": "You should have experience on how to investigate those allegations.",
"lg": "Oteekeddwa okuba n'obumanyirivu butya bw'okunoonyereza ku biteeberezebwa ebyo."
} | 2365 |
{
"en": "They will offer free legal information about tax.",
"lg": "Bajja kuwa obubaka obw'obwereere obukwata ku musolo."
} | 2366 |
{
"en": "What is your country of origin?",
"lg": "Ova mu nsi ki?"
} | 2367 |
{
"en": "linen",
"lg": "kitaani."
} | 2368 |
{
"en": "scorch",
"lg": "okuconcona"
} | 2369 |
{
"en": "Why should farmers carry out fish farming?",
"lg": "Lwaki abalimi balina okulunda ebyennyanja?"
} | 2370 |
{
"en": "describe",
"lg": "okutegeeza"
} | 2371 |
{
"en": "There is a rising number of coronavirus cases in Uganda prisons and inmates health is becoming a public concern",
"lg": "Waliwo okulinnya kw'omuwendo gw'abalwadde ba ssenyiga omukambwe mu makomera ga Uganda era obulamu bw'abasibe bukwata ku buli muntu."
} | 2372 |
{
"en": "interpreter",
"lg": "omuvvuunuzi"
} | 2373 |
{
"en": "check",
"lg": "okukomako."
} | 2374 |
{
"en": "corpse",
"lg": "omutulumbi; (headless) ekiwuduwudu."
} | 2375 |
{
"en": "We traveled a very long distance.",
"lg": "Twatambula olugendo luwanvu."
} | 2376 |
{
"en": "A new headteacher was appointed.",
"lg": "Omukulu w'abasomesa omupya yalondeddwa."
} | 2377 |
{
"en": "sanction",
"lg": "okuganya."
} | 2378 |
{
"en": "folly",
"lg": "katwewungu"
} | 2379 |
{
"en": "elders are part of the negotiation process between the two families.",
"lg": "Abakulu nabo mwebali mu nteeseganya wakati w'ebika ebibiri."
} | 2380 |
{
"en": "defeat",
"lg": "okugoba"
} | 2381 |
{
"en": "Mothers ought to be exemplary to their children.",
"lg": "Bamaama basuubirwa okuba eky'okulabirako eri abaana baabwe."
} | 2382 |
{
"en": "Why is self-confidence important in leadership?",
"lg": "Lwaki okwekkiririzamu kya mugaso mu bukulembeze?"
} | 2383 |
{
"en": "Of what importance is a swimming pool at a school?",
"lg": "Ekidiba ekiwugirwamu kya mugaso ki ku ssomero?"
} | 2384 |
{
"en": "The cost of a driving permit is so high.",
"lg": "Omuwendo gwa kaadi ekkukirizisa okuvuga ebidduka guli waggulu nnyo."
} | 2385 |
{
"en": "throw",
"lg": "okukasuka"
} | 2386 |
{
"en": "amend",
"lg": "okwesanyiriza."
} | 2387 |
{
"en": "Drugs can cause one to be mentally unstable.",
"lg": "Ebiragalalagala biyinza okuviirako omuntu okutabuka omutwe."
} | 2388 |
{
"en": "profoundly",
"lg": "nnyo nnyini."
} | 2389 |
{
"en": "office",
"lg": "ekitongole."
} | 2390 |
{
"en": "Uganda police have many ways of catching stubborn criminals.",
"lg": "Poliisi ya Uganda erina engeri nnyingi ez'okukwatamu bakaliddalu abazzi b'emisango."
} | 2391 |
{
"en": "The chairman registered all regional ambulance drivers.",
"lg": "Ssentebe yawandiika abavuzi ba emmotoka atambuza abalwadde ab'ebitundu."
} | 2392 |
{
"en": "The refugees have been treated very well without discrimination.",
"lg": "Abanoonyiboobubudamu bayisiddwa bulungi awatali kusosolebwa."
} | 2393 |
{
"en": "Service centres were created to extend services to the people.",
"lg": "Ebifo ebiweeweza byatondebwawo okusembereza abantu obuweereza."
} | 2394 |
{
"en": "My neighbour succumbed to coronavirus yesterday.",
"lg": "Muliraanwa wange yafudde akawuka ka kkolona eggulo."
} | 2395 |
{
"en": "One of the members died during the riot.",
"lg": "Omu ku bammemba yafiifudde mu keegugungo."
} | 2396 |
{
"en": "This year, the education budget is higher than the one for health.",
"lg": "Omwaka guno, embalirira y'ebyenjigiriza esinga ku y'ebyobulamu."
} | 2397 |
{
"en": "Lack of dialogue between landowners and the church results in friction.",
"lg": "Obutabaawo kwogerezeganya wakati wa nnannyini ttaka n'ekkanisa kuleetawo obukuubagano."
} | 2398 |
{
"en": "deflated",
"lg": "okufootoka."
} | 2399 |